Tekinologiya w'Abaganda Abedda(Technology used by the ancient Baganda)
Okusinziira ku munoonyereza ,Charles Muwanga , abanganda ab'edda ng'abaddugavu abalala ku Semazinga wa Afirika baalinawo ekyekuusiza ku tekinologiya , engeri ebintu gye bikolebwamu oba entondeka y'ebintu okugonza obulamu bwabwe.
Entondeka (Tekinologiya) kitegeeza engeri ebintu gye bitondekebwawo . Buli lwe twogera ku ntondeka y’ekintu tulina okwogera ne ku nkozesa yakyo.
Abazungu we bajjira wano waaliwo entondeka (engeri z’okukola ebintu) nga:
(i) Entondeka y’ebyentambula ku mazzi (water transport technology) (ii) Entondeka y’ebikozesebwa (Tools making technology)
Baabajjanga amaato, ebivuga, n’eng’oma, amadinda, entogooli, endingidi, endere, n’ebirala. Ebigambo eby’emiramwa ebyetaagisa okunnyonnyola engeri amaato gye gatondekebwa.
• Enda y’eryato
• Obukenda
• Ebibango
• Ensanda
• Essanda
• Embiru
• Entuli
• Ekisibiro
• Amabati
• Empano
• Empajjo
• Empero
• Omutunsa
• Enjuziso (wedges)
• Okukondera
• Engattiro
• Eggalwa
• Amasika
• Obwamba
• Enkondo
"Okuweesa"
Kino kirimu okuweesa amafumu, obwambe, obusaale, enkumbi, ebiso, n’ebirala ebyakozesebwanga omuddugavu ow’ebiseera ebyo ng’abaweesa beyambisa ekiyitibwa entondeka y’ebyuma (metal technology).
Entondeka y’ebyuma kitegeeza engeri ebyuma gye bisaanuusibwamu ne bikukuluta okubyawula mu masengere okusobola okuweesebwamu ebikozesebwa eby’enjawulo.
Emiramwa egyetaagisa okunnyonnyoka entondeka y’ebyuma engeri ebyuma gye byakolebwanga n’okukozesebwamu mu bantu ab’edda wano mu Buganda girimu emiramwa gino:
• Okufukuta ebyuma
• Okuweesa.
• Amaada (iron ore)*
• Ekyuma (Metal)
• Kkalwe (Iron)
• Okufukuta n’okusaanuusa
• Okukulukusa ekyuma
• Amasengere (amayinja agamaze okujjibwamu ekyuma)
• Omuliro – baagujjanga mu kiti ekikulu ekisebbuka ng’ejjinkiti ne baasimanga akatuli ne bakalungawo n’ammanyi nga bakozesa akati akagumu akakulu.
Ekikumbagano (friction) kivaamu okubugumirira okweyongera olwo empumbu y’ekiti ekikalu ekisebbuka n’efuuka ensasi zino bwe zigira ku busubi obukulu ng’omuliro gukoleera
• Ekyoto ekinene
• Amanda kwe bassanga amatuke ne bafukuta, amatale ne gayonda ekiddirira kusanuuka n’okukulukuta okuvaamu ebyuma.
• Akabiga ak’ebbumba ak’efaaninyiriza n’ekiswa. Wansi w’akabiga ng’ebaayo emidumu ekyima mwe kikulukutira nga kisaanuuse.
• Emisinga. Ekyuma ekimaze okukulukusibwa ne kiwola kiyitibwa misinga. Emisinga mwe baweesa buli kyuma ekyettagibwa.
"Essasa" (Ekifo we baweesezanga)
Essasa libaamu:
(i) Ekyoto.
(ii) Enkero (omizindaalo) gw’ebbumba oguyingira mu Kyoto.
(iii) Emivubo. Gino gibaako amaliba naddala ag’endiga n’emirundi. Emirundi buba buti obukwasibwako omufukusi
(iv) Oluyijja. Lino liba jjinja eggumu ennyo eriyitibwa entaago
(v) Entabiro. Kino kiba kinnya kya mazzi.
(vi) Ekikimeemeeto kino kiba kyeyo kya byayi
(vii) Ebiti omuwangibwa obwambe.
(viii) Ekiti eky’enduli ekikomererwako obwambe nga babuwanga.
(ix) Emisinga. Ebyuma ebiwedde okusaanuusibwa n’okukulusibwa mu misinga mwe baweesa ebintu
(x) Ennyondo empuulo. Eno eba nene ate nga nguumu, ekolebwa mu kyuma ekya sitiiru (Steal).
(xi) Ennyondo kimutwalo. Eno y’esingayo obunene era ebaako amatama n’akawompo nga nayo ekolebwa mu kkalwe olugumu (sitiiru).
(xii) Obuyondao obutono obusengejja. Buno bujja ebinuga mu biweesebwa. Buyitibwa “engulubi”, “ezinaga” (ennazi) oba “emigolozo”.
Okuweesa kukolebwa kutya?
Ekyoto kitekebwamu obusubi n’obuku wansi wakyo okukolerezaako omuliro. Waggulu wassibwako Amanda.
Mu Kyoto muba muyingizaddwamu enkero n’envubo. Omuliro nga gumaze okufukutibwa ne gutaba mungi, omuwweesi assako ekyuma ky’aweesa ng’eno omuntu omulala bw’afukuta.
Omuweesi aweesa obwambe, enkumbi, amafumu, obusale, obumwenu, ennyondo n’ebintu ebirala. Emirundi egimu annyika ekimeemeeto mu ntabiro n’avubiriza byaweesa oba n’avubiriza Amanda.
Abazungu we bajjira ki ekyali kibula mu kuweesa kwaffe?
Abazungu we bajjira wano tetwalina miramwa gya sayansi mirambulukufu gyekuusiza ku ssomabuzimbe(Physics):
(a) Okuva (motion)
(b) Empalirizo (force)
(c) Amasoboza (energy)
Kubanga sayansi ne tekinologiya birina olulimi olwabyo olwetaagisa mu kulaakulanya okunoonyereza ku ntondeka y’ebikole, kylai kyetaagisa okuba n’emiramwa egyo okusobola okumanya engeri ebintu gye bivaamu mu kifo, ensibuko y’okuva n’ensibuko y’empalirizo.
Eyo eyinza okuba nga y’ensonga lwaki twali tetunnavumbula “nnyanguyirizi zisookerwako” nga:
(i) Namuziga ez’ebikono (wheel and axle). Okuvumbula namuziga n’ekikono kyayamba nnyo omuzungu okutondeka ebikozesebwa eby’enjawulo nga obukolero n’entambula. Awatali tekinologiya wa namuziga n’ekikonmo waali tewasobola kubaawo kiyitibwa biwanganagano oba ebiwanga (gears) ate nga bino byetaagisa nnyomu tekinologiya yenna.
(ii) Ensikiso (pulley). Ennyanguyirizi ez’emitendera egiddako gyonna era gyataagisa nnyuo ensikiso (pulley) nga bw’oziraba bwe zikozesebwa mu bitondekamaanyi (engines) eby’enjawulo.
Omuganda omuweesa ow’omulembe guno ky’alina okumanya nti tekinoplogiya (entondeka) owa buli kika ava mu nnyanguyirizi ezisookerwako omukaaga nga ze zino:
(a) Enjuziso oba ensaziso (wedge).
Eno y’ennyanguyirizi (machine) esookerwako eyasookera ddala mu lubu lw’omuntu nga omuntu agikozesa okusala ennyama, okutema emiti, okwelwanako, n’okulima, okusooka ng’akozesa mayinja n’azzaako ebyuma nga kkalwe. Ku mulundi guno ensaziso zikozesebwa mu ngeri nnyingi okugonza emirimu n’okuzimba ennyanguyirizi ez’enjawulo ez’emitendera egiddako.
(b) Ensuubo (lever).
Ensuubo eba “ennyanguyirizi ey’esuuba”(swinging machine).Muno mulimu olusuubo(lever) n’ ekyesuubo ky’abaana kwe bewuubira mu kuzannya. Ojja kukyewuunya okumanya nti ennyondo nga ebadde ekozesebwa okusika omusumaali mu muti eba nsuubo, ensoaanukuzo y’ekkyupa ya bbiya nayo eba nsuubo era n’ennyanguyirizi nnyingi endala z’ojja okusanga nga zirimu ensuubo.
(c) Ensikiso (Pulley).
Ensikiso ebaako namuziga n’olugwa oba olukoba omuntu kwa’asiba akizito ate ku luuyi olulala n’asika okusobola okukiwanika waggulu. Ensikiso nayo nnaynguyirizi eyetaagisa ennyo mu kuzimba ennyanguyirizi ez’emitendera egya waggulu.
(d) Ekitendero ekyewunzifu (inclined plane).
Eno nayo nnyanguyirizi esookerwako eyeyambisibwa naddala okuwalula ebinizito okubyambusa waggulu oba okubissa wansi. Eddaala oba amadaala kya kulabirako kya nnyanguyirizi esookerwako.Ennyonyi bw’aba esitula oba ng’ekka egoberera kitendero eky’ewunzifu mu kifo ky’okukikola mu busimba.
(e) Namuziga n’ekikono (Wheel and axle). Abazungu wa bajjira wano tetwalina nnyanguyirizi eno so ng’ate eno gwe musingi gw’ennyanguyirizi zonna.
Tewaaliwo kumanya kwa buzimbe bwa kintu okutuuka mu buziba(at atomic level).
Okuteekawo endowooza y’ebuziba n’obuziizi gwe musingi ogusoose okuteekawo endowooza y’obubuzimbe bw’ekimette (matter). Mu luganda bwe twogera ku obuziba bw’ekintu tuba tutegeeza ekitundu ekiri munda mwakyo mu makkati eyo ewala okuva ku ngulu kwakyo ate obuziizi ky’ekitundu ky’ebuziba ekisembayo munda.
Mu sayansi ow’essomabuzimbe, obuziba (atomu) bwe butoffaali obuzimba ekimette. Bwe kaba akamu tukayita kaziba (atomu emu). Lwaki tukitwala nti obuziba bwe butaffaali obuzimba ekimette kwe kuba nti akaziba tosobola kukalaba na liiso liri bukunya.
Obuziizi (nnyukiriyaasi) ky’ekitundu ky’ebuziba ekisembayo munda. Akataffaali akazimba ekimette (the building block of matter) kayitibwa
Endagakintu ez'Ekikyusabuziba (Chemical elements)
Mu luganda olwa sayansi olw’omulembe guno tufunye endowooza n’enjogera ey’ekuusiza ku:
• Essomabuziba (Chemistry as a field of study)
• Obuzimbe (structure)
• Nabuzimbe (matter)
• Ekibazabuzimbe (the chemistry of …)
• Embazabuzimbe (the chemistry of …)
• Endagabuzimbe(chemicals)
• Eddagabuzimbe(chemicals)
Obuzimbe bw’akaziba ka ayidologyeni
Akaziba (atomu) kaba n’obuzimbe bwe buti:
(a) Ekire omusangibwa akasannyalazo
(b) Obuziizi omusangibwa obutonniinya obubiori, akakonta ne nampa
Ng’abazungu tebannaba kujja wano buli kintu kyatunuulirwanga nga kungulu nga amaaso bwe gakitulaga. Tewaaliwo ndowooza nti ekintu kikolebwa mu kimette era tewaliwo ndowooza nti waliwo obutoffaali obusirikitu obuzimba buli kintu.
Waaliwo ebigambo ebyali biraga nti waliwo obutoffaali oba obutaffaali, emiramwa gino nga gyalimu:
• Akasirikitu
• Akatono
• Akatini
Kyokka tekimanyiddwa ddala oba akasirikitu, akatini, n’akatono byatwalibwanga okuba ebintu ebitayinza kulabibwa na liiso liri bukunya.
Ka kibe nga bwe kyali oba n’edda, amakulu g’ebigambo gano oluvannyuma gaagaziwa ne gazingiramu okuba nti akasirikitu, akatono, n’akatini era bitegeeza ekyo ekiriwo naye nga tekisobola kulabibwa na liiso liri bukunya.
Ekituufu kiri nti tewaaliwo kumanya “buzimbe bwa kimette” (structure of matter) era okujjako okumanya nti kino kimera, ttaka, omusenyu, kimera, mazzi oba mpewo, tewaaliwo kumanya kutuuka mu buzimbe bw’obuziba (atomic structure) bwa kintu kyonna. Kino kitegeeza nti tewaaliwo sayansi wa matiiriyo (material science)
Tewaaliwo ndowooza nambulukufu ku masoboza na mpalirizo
Abaganda ab’edda okutuuka ejjo ly’abalamu kaweefube ono ow’okuzimba emiramwa gya sayansi lw’atandiseewo, baali tebalina ndowooza ya mpalirizo na amasoboza (energy), ensonga lwaki buli kintu eky’ekuusibza ku mbavu (effort) bakinnyonnyozanga mulamwa gwa “maanyi” (power).
Eky’okulabirako baakolanga ebintu okunsinzira ku ngerekera z’obuntu (human instincts), awatali kulowooza ku kuba nti buli ekikolebwa kiva mu “masoboza” (energy) era awatali masoboza tewayinza kubaawo mpalirizo (force) yadde amaanyi.
Basaatulanga ebintu ng’amayinja nga basindika oba okujja ensolo ng’embuzi mu kifo nga basika omugwa awamu n’okunyoola ebintu ebimu nga tebamanyi nti kino kiyitibwa mpalirizo (forces) evaako okuva (motion).
Kati no ffe abaganda abakati tumanyi nti ekintu kyonna “okuva” mukifo kyetaagisa empalirizo. Empalirizo yonna ebaamu okusika, okusindika n’okunyooleza.
Abaganda abedda baali bamanyi nti amaanyi gava mu kulya naye nga tebamanyi nti amaanyi gano gaba masoboza (energy). Baakuma nga omuliro ne bafumba emmere oba okusaanuusa kkalwe naye nga tebamanyi nti gano masoboza ga bwoki (heat energy).
Ekiro baakoleezanga omuliro okufuna ekitangala ate enjuba bw’egolooba nga bukedde nga bafuna ekitangala ky/enjuba kyoka nga tebamanyi nti gano “masoboza ga kitangala” (light energy) era agayamba ebimera okukola emere yabyo ate nga ffee ebimera bye tulya ne tufuna amaasoboza ag’emmere “food energy”.
Bakolanga emirimu (work) naye nga tebafuddeyo nti okukola kuba kuteeka mpalirizo ku kintu okukijja mu kiffo. Mu ngeri endala okukola kuba kuteeka masoboza ku kintu ne kiviirako empalirizo ekijja mu kifo.
Bw’oba olima n’enkumbi ogitekamu amasoboza okuva mu mubiri gwo, amasoboza ago ne galetawo empalirizo ewaliriza enkumbi okutema muttaka ne lisatuka okuligonza oba okulijjamu omuddo.