Tenywa Bonseu
Tenywa "T-Bone" Bonseu (yazaalibwa 28,Ogwekkumi 1976, mu Kampala) Munnayuganda, musambi wa mupiira eyawummula, era yazannya omupiira ogw'ekikugu okumala emyaka mwenda ng'omuzibizi mu Amerika .
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Amateur ne college
[kyusa | kolera mu edit source]Bonseu yatandika emirimu gye mu 1994 ng’azannyira mu Horizon FC mu Uganda gy’azaalwa, nga tannagenda mu Amerika mu 1997 okugenda n’okuzannya omupiira gw’amatendekero mu ttendekero lya Martin Methodist College mu byalo bye Tennessee oluvannyuma lw’omuzannyo gw'okwegezaamu ne kiraabu emu mu Japanese J-League.[1]
Obukugu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Bonseu yeegatta ku Pittsburgh Riverhounds eya liigi ekika kya A-League mu 1999 n’azannyirayo sizoni bbiri, nga tannakola ndagaano na Major League Soccer eya Chicago Fire.[2] Bonseu yagenda mu maaso n'amala sizoni eziwera mu MLS, nga yazannya ne ttiimu eziwera omuli Columbus Crew mu 2001, Dallas Burn mu 2002 ne 2003, ne MetroStars, eyagula Tenywa okuva mu Dallas ku Steve Jolley nga sizoni ya 2004 tennatandika.[3] Mu sizoni ttaano mu MLS, Bonseu yazannya emipiira 87 egya sizoni eya bulijjo ne 11 egya ‘playoff’ (ng’atandika gyonna okuggyako esatu).
Oluvannyuma lw’okuva mu MetroStars, Bonseu yazannya sizoni nnya mu Rochester Rhinos mu USL First Division okuva mu 2005 okutuuka mu 2008, nga tannaba kukola ndagaano n'aba Pittsburgh Riverhounds mu 2009.
Emipiira gy'azannye
[kyusa | kolera mu edit source]Bonseu y’omu ku bazannyi abato abaalondebwa okuzannya mu Ttiimu ya Uganda ey'abasambi b'omupiira. Alabikidde mu mipiira gya Uganda 21.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Tenywa Bonseu at National-Football-Teams.com
- ↑ Interview with Tenywa Bonseu Template:Webarchive socceramerica.com
- ↑ Ziehm, Len (2000-08-31). "'A' team gives lift to Fire". Chicago Sun-Times. Archived from the original on 2012-10-25. Retrieved 2009-05-11.
- ↑ "Bonseu traded to MetroStars for Jolley". AP. 2003-12-04. Archived from the original on 2012-10-25. Retrieved 2009-05-11.