Jump to content

The AIDS Support Organization

Bisangiddwa ku Wikipedia

The AIDS Support Organization (TASO) kitongole ekyatandikibwaawo mu ggwanga okuyamba ku mu kuweereza n'okudukirira abalwadde ba siriimu n'abalina akawuka akaleeta mukenenya, ekyawandiisibwa mu Uganda wabula nga si kitongole kya gavumenti. Kyekyatandikawo wabula nga si kyamubantu mu kudukirira abalwadde b'Akawuka akaleeta mukeneya n'Obulwadde bwa Siriimu mu Uganda. TASO kibiina kya bamemba abasoba mu 4,000 nga bawaandiise. [1]

Enkola y'emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

TASO yatandikibwaawo mu 1987 ekibinja ky’abasawo abaali balabye engeri abalwadde abalaga obubonero bw’obulwadde bwa Siriimu gyebaali bajjanjabirwaamu obubi mu waadi z’eddwaliro ly’e Mulago mu Kampala. Mu kusooka, kyali kibinja kitono eky'abantu abaali basisinkana mu butongole okwogera ku siriimu n'akawuka akaleeta mukenenya [2]: olupapula 33 era n’okukula okufuuka ekitongole. Kyafuuka ekimu ku bitongole ebikulu ebirabirira abalwadde ba siriimu n'abalina akawuka ka mukenenya mu Uganda. [3] [4] TASO bwe yatandika, Uganda yali edda engulu okuva mu lutalo olwaleeta gavumenti eriwo mu buyinza kati. [5]

TASO yatandikibwawo okubudaabuda abalwadde abaali basosolwa ab'oluganda lwabwe, noluusi ne basuulibwa okufiira mu kibangirizi ky’eddwaliro. [6] :  olupapula ii [2] : empapula 32–33  Omuwendo gw’abantu abajja okubudaabudibwa mu kibinja kino ekitono bwe gweyongera, okubudaabudibwa kw'agenda kuwera okubudabudibwa kwafuuka kwa bwetaaze okukuuma abo abanoonya okubudaabudibwa. [6] : omuko ii  Mu 2008, TASO yali ekuze n’efuuka ekimu ku bitongole ebisinga obunene ekyatandikibwaawo mu Uganda, nga kiyamba n'okulabirira abalwadde ba siriimu n'abalinwa akawuka akaleeta mukenenya. [7]

Oluvannyuma lwa Christopher Kaleeba, omukugu mu by’okukuba ebifaananyi by'omubiri munda, okukeberebwa n’azuulibwa ng’alina akawuka akaleeta siriimu yayita nga mu kuswaluka n’okusosolwa bakozi banne mu Ddwaaliro ly'e Mulago, yawa mukyala we ( Noerine Kaleeba ) ne mikwano gye amagezi okutekawo ekibiina ekiwagira abantu abalina akawuka ka siriimu n’abakoseddwa nga bali mu ddwaaliro munda. [2]

Akabinja k;abantu akatono nga kalimu abakozi b’eby'obulamu n’abalwadde abamu, baweebwa ekisenge ekimu gyebajanjabira obulwadde bwa Poliyo mu ddwaaliro ly'e Mulago gye baatandikira okuwa obujjanjabi eri abalwadde abaali tebasula mu ddwaliro wabula nga bava bweru nga kidukanyizibwa Elly Katabira ng’eddwaliro erijanjaba obulwadde bwa mukenenya. [8] : olupapula 122 

Mu 1989, TASO yakyaza Philly Lutaaya, omuyimbi omumanyifu, omulwanirizi w'eddembe ly'abalwadde abalina mukenenya, era nga ye muntu eyasooka okuvaayo mulwaatu n'alangirira nga bweyali alina obulwadde bwa Siriimu mu Uganda. Oluyimba lwe 'Alone' lwatwalibwa ng’oluyimba lw'ekitongole kya TASO nga kw’otadde n’ebibiina ebirala bingi ebiyamba mukulwanyisa mukenenya mu Uganda n'okulabirira abalina obulwadde buno, nga kwekuli n’amawanga amalala mangi. [9] [2] : olupapula 63 Nga bagoberera eky'okulabirako kya Philly Lutaaya, bakasitoma abaali n’ekitone ky’okuyimba, okuzina amazina n'okuzannya katemba, baatandika okuyimba mu bitundu eby'etolodde eggwanga okumannyisa ku bulwadde bwa siriimu n'akawuka ka mukenenya. [10] : olupapula 31 Enkozesa y’ennyimba, amazina ne katemba yakopebwa mu bifo bya TASO eby'enjawulo byonna era n’ekifuuka ekintu ekikulu eky’okukunga abantu n’okubamannyisa. [11] Ku nkomerero ya 1993, TASO yali egaziye okuva ku disitulikiti emu okutuuka ku disitulikiti musanvu mu Uganda. [12]

Beekolagana nabo

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga bali wamu n’ekibiina ekirala ekiyitibwa Traditional and modern Health practitioners Together Against AIDS (THETA), TASO yatandikawo enkolagana n’abasawo b’ekinaansi mu 1992 okubawa obukugu bw'omusingi mu kubudaabuda wamu n’okumanya ebikwata ku bulwadde bwa siriimu. [8] : olupapula 164 

Okuva mu Gwekumiu 1999 okutuuka mu 2007, TASO yakolagana n’ekibiina ky’Abakyala abalina Akawuka ka Siriimu mu ggwanga okuddukanya pulojekiti y’Okuwona Abaana. Pulojekiti eno yamala ddoola 1,000,000 era yayamba abaana 435 okutumbuUla obukugu bwaabwe mu kusoma n’okuwandiika n’okufuna obukugu obwetaagisa okusobola okuwangaala. [13] : olupapula 74  Okuva mu Gwekumi 2000 okutuuka mu 2007, TASO yasa mu nkola enkola y’okutendekebwa mu by’emikono eri abaana abeetaaga okuyambibwaako. Yamala ddoola 926,355, ng’abaana 832 beebaaganyulwaamu nga bayita mu kutendekebwa n'abakugu. [13] : olupapula 75 

Okuva mu 2004 okutuuka mu 2006, TASO yakolagana n’ekitongole ky'Eggwanga Ekikola mu Kunoonyerea ku by'Obulimu mu Uganda okusa mu nkola pulojekiti y'obwekwerinda mu By'emere . Nga bayita munkolagana eno, ebibiina byombi byasobola okukola ku nsonga ezikwata ku bbula ly’emmere mu maka g'omubyalo mu Uganda naddala mu disitulikiti y’e Tororo. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (June 2017)">citation needed</span> ] TASO nayo ekwataganye n’amagye agali mu yunifoomu. [14]

Enteekateeka ya TASO eya 2013 okutuuka 2017 yayita okuvugiriza okusingawo okuva mu ggwanga n'ensi yonna okulabirira obuwereza obwekuusa kunsonga z'Obulwadde bwa siriimu mu Uganda. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (June 2017)">citation needed</span> ] TASO yakolagana n'Ekitongole Ekivinaanyizibwa ku By'okugaba Emere mu Nsi yonna okuwa bakasitoma baayo emere. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (June 2017)">citation needed</span> ] TASO era yakitegeera nti bakasitoma baali beetaaga ensibuko y’okweyimirizaawo era, n’olwekyo, yakolagana ne Pulojekiti y’Enkoko okuwa enkoko eri famire wamu n’ebisolo ebirala ng’embizzi ng’ensibuko evaamu ssente egivaamu ssente. [15]

  • Enteekateeka y'ekizaala gumba [16]
  • Empeereza y'okulabirira awaka [17]
  • Okubudaabudibwa abalwadde b'akawuuka akaleeta mukeneya
    • Okubuulirira nokukeberebwa akawuka ka siriimu mu maka
    • Okubudaabudibwa nga tebannaba kugezesebwa n’oluvannyuma lw’okukeberebwa [18]
  • Okukulaakulanya obusobozi
    • Obujjanjabi bwa TASO obw’okubunyisa amawulire bwaggyibwawo mu 2011 oluvannyuma lw’ensimbi okuva mu kitongole kya USAID okukendeera. [19]
    • Mu 2013, TASO yatandikawo empeereza mu kujjanjaba n’okuzuula yinfenkisoni endala eziweebwa omukisa nga kookolo w’omumwa gwa nabaana n’akafuba. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (June 2017)">citation needed</span> ] Mu mwaka gwe gumu, TASO yagaziya ku mpeereza yaayo n’eyingizaamu okukomolebwa kw’abasajja.
  • Empeereza y’Abavubuka
  • Empeereza eyamba abavubuka
  • Okutangira akawuka ka siriimu
    • TASO ewagidde kaweefube w’okulwanyisa obusosoze mu bafumbo okwongera okukozesa obuweereza obukwata ku siriimu mu Uganda. [20]
  • Ekitundu ky’emmere n’endya
  • Okunoonyereza
    • TASO ebadde yeenyigira mu nteekateeka z’omukitundu eziwerako wamu n’okunoonyereza ku bujjanjabi obukwata ku siriimu n’okugezesa eddagala. [8] : omuko xiv 
    • TASO ekwataganye ne Yunivasite y’e Ottawa ku kunoonyereza ku nsimbi entonotono, okugezesebwa mu malwaliro, n’enyingiza ya bakasitoma abalina akawuka ka siriimu mu Afrika. [21]
  • Ebitabo ebifulumizibwa mu kunoonyereza
    • Good Adherence to HAART and improved survival in a community HIV/AIDS treatment and care programme: the experience of The AIDS Support Organisation (TASO) Kampala, Uganda.. Yafulumizibwa nga 20 Ogwekuminoogumu 2008 aba BMC Health Services Research 2008, 8:241. doi:10 1186/1472-6963/8/241. Abaasa M. Andrew ne banne.
    • Reliability of scored patient generated subjective global assessment for nutritional status among HIV infected adults in TASO, Kampala. Published 2011. Yafulumizibwa 2011 ekitongole aba African Health Sciences 2011; 11(S1): S86 - S92.

Ebifo bya TASO

[kyusa | kolera mu edit source]

TASO etaddewo ebifo 12 okwetoloola eggwanga. [10]

  1. Mulago (yatandikibwawo mu Gwekuminoogumu mu 1987)
  2. Masaka (yatandikibwawo mu Ogwokutaano 1988)
  3. Ekifo ekitendeka abantu ekya TASO (kyatandikibwawo mu Ogwekumi 1988)
  4. Tororo (yatandikibwawo mu Gwekuminoogumu 1988)
  5. Mbarara (yatandikibwawo mu Ogwoluberyeberye 1989)
  6. Mbale (yatandikibwawo mu Ogwokusatu 1990)
  7. Jinja (yatandikibwawo mu Ogwokusatu 1991)
  8. Entebbe (yatandikibwawo mu Gwekuminoogumu 1991)
  9. Gulu (yatandikibwawo mu Ogwoluberyeberye 2004)
  10. Rukungiri (yatandikibwawo mu Ogwomunaana 2004)
  11. Soroti (yatandikibwawo mu Ogwomunaana 2004)
  12. Masindi (yatandikibwawo mu Ogwomunaana 2005)

Pulojekiti ezikolebwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Eziri munkola

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Ekitongole ekiddukanya ensimbi z’obuyambi
  • SCALAP - Karamoja,

Ezaakomekerera

[kyusa | kolera mu edit source]
  • TEACH - (Yatandika mu 2005, okuwagira ebikolebwa okudukirira abalwadde ba Siriimu mu bitundu ebisinganibwa mu Bukiika ddyo bw'eddungu lya Sub Saharan mu Afrika okuzimba obusobozi bwabwe mu kuwa obuweereza obukwata ku siriimu.) [22]
  • SCOT
  • REACH U
  • PrEP
  • OKUBEEZAWO
  • Nu-Hites

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Matovu, Sylvia. "The AIDS Support Organisation (TASO)". www.tasouganda.org. Retrieved 7 May 2015.
  2. 1 2 3 4 Noerine Kaleeba; Sunanda Ray. We Miss You All (3rd ed.). SAFAIDS. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Miss" defined multiple times with different content
  3. Rujumba, Joseph; Neema, S.; Byamugisha, R.; Tylleskär, T.; Tumwine, J. K.; Heggenhougen, H. K. (2012). ""Telling my husband I have HIV is too heavy to come out of my mouth". pregnant women's disclosure experiences and support needs following antenatal HIV testing in Eastern Uganda". Journal of the International AIDS Society. 15 (2) 17429. doi:10.7448/ias.15.2.17429. PMC 3494159. PMID 22905360. Retrieved 13 May 2014.Template:Dead link
  4. The Second Philly Lutaaya Memorial Lecture. Quality Chemicals Ltd. 29 October 2004. p. 8.
  5. Williams, Glen (January 1992). From Fear to Hope. AIDS care and Prevention at Chikankata Hospital, Zambia (Revised ed.). Strategies for Hope. p. 3. ISBN 1-872502-14-8.
  6. 1 2 TASO (1995). Curriculum for HIV/AIDS Counselors (3rd ed.). TASO (U) Ltd.
  7. Susan Kabarwani (2008). "HIV/AIDS in Uganda". Uganda Picks. Archived from the original on 14 January 2015. Retrieved 4 March 2014.
  8. 1 2 3 Elly T. Katabira; Moses R. Kamya; Francis X. Mubiru; Nathan N. Bakyaita (2000). HIV Infection. Diagnostic and treatment strategies for Health Care workers. Kampala: STD/AIDS Control Programme. Ministry of Health. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Strategies" defined multiple times with different content
  9. Noerine Kaleeba; Joyce Namulondo Kadowe; Daniel Kalinaki; Glen Williams (2000). Glen Williams (ed.). Open Secret. People facing up to HIV and AIDS in Uganda. Oxford: ActionAid. pp. 24–25. ISBN 1-872502-55-5.
  10. 1 2 Glen Williams, ed. (2007). UNITED AGAINST AIDS: The Story of TASO. Strategies for Hope Trust. ISBN 978-1-905746-06-4. Cite error: Invalid <ref> tag; name "United" defined multiple times with different content
  11. "TASO Centers". YouTube.
  12. TASO Uganda. The Inside Story. Participatory evaluation of HIV/AIDS counseling, medical and social services 1993-1994. TASO, WHO. 1995. p. viii. hdl:10665/61142. Countless organisations and programmes have already been inspired by the effective model offered by TASO. Dr. M.H. Merson. Executive Director. WHO Global Programme on AIDS
  13. 1 2 USAID Project Profiles: Children Affected by HIV/AIDS. US Agency for International Development. September 2003.
  14. Nakabugo, Goretti (8 April 2013). "Gunning down new infections and scaling up HIV prevention. A case study of the Uganda Uniformed forces in collaboration with TASO Uganda". RATN. Retrieved 25 February 2014.
  15. "congratulations-taso-uganda-on-your-silver-jubilee". Archived from the original on 2014-03-10.
  16. Birungi, Harriet; Mugisha, John Frank; Nyombi, Juliana; Obare, Francis; Evelia, Humphres; Nyinkavu, Hannington (July 2008). Sexual and reproductive health needs of adolescents perinatally infected with HIV in Uganda (PDF). United States Agency for International Development; Ford Foundation; The AIDS Support Organisation; Frontiers in Reproductive Health, Population Council. p. 6. Archived from the original (PDF) on July 25, 2009.
  17. Template:Cite magazine
  18. Rujumba J.; et al. (24 May 2013). "Pregnant women's experiences of routine counseling and testing for HIV in Eastern Uganda: a qualitative study". BMC Health Services Research: 13.
  19. Birungi, Sandra. "TASO faces closure as it closes its outreach clinics". Uganda Picks. Archived from the original on 14 January 2015. Retrieved 25 February 2014.
  20. Okoboi Stephen (2012). "Stigma hinders couples with HIV and AIDS in rural Uganda from accessing services" (PDF). Exchange. pp. 8–9. Archived from the original (PDF) on 14 January 2015. Retrieved 26 February 2014.
  21. Bakanda, Celestin; Birungi, Josephine; Nkoyooyo, Abdallah; Featherstone, Amber; Cooper, Curtis L.; Hogg, Robert S.; Mills, Edward J. (7 March 2011). "Cohort Profile: The TASO-CAN Cohort Collaboration". International Journal of Epidemiology. 41 (4): 946–950. doi:10.1093/ije/dyr033. ISSN 0300-5771. PMID 21382975. Retrieved 7 May 2015.
  22. Okoboi, Stephen. "TASO Experiential Attachment to Combat HIV/AIDS (TEACH)" (PDF). HIV Capacity Forum. Archived from the original (PDF) on 14 January 2015. Retrieved 25 February 2014.

Okweyongerayo mu kusoma

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Weeks, Benjamin (2009). AIDS: The Biological Basis (5th ed.). Malloy Inc. ISBN 978-0-7637-6324-4. Retrieved 7 May 2015.
  • Facts about HIV infection and disease. Kampala: TASO Uganda. 1995.
  • Janie Hampton (1991). Living Positively with AIDS (Revised ed.). ActionAid. ISBN 1-872502-13-X.
  • Living with AIDS in the Community. A book to help people make the best of Life. World Health Organization. 1991. hdl:10665/58366.
  • Katherine Coon; Jessica Ogden; John Odolon; Anthony Obudi-Owor; Charles Otim; James Byakigga; Peter Ssebbanja (2007). Transcending Boundaries to improve the food security of HIV - affected households in Rural Uganda: A Case Study. Population Council.