Jump to content

The Uganda Scouts Association

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ekibiina kya Uganda Scouts Association kye kibiina ky'abasikawutu mu Uganda . Ekibiina kino kyafuna obwamemba bw’ekibiina ky'ensi yonna ekya World Organization of the Scout Movement mu 1964. Kiweereza bamemba ba Scout abawera obukadde 3 (okuva mu 2022). [1]

Obusikawutu bwatandikibwawo mu kitundu kya Bungereza ekyaali kukuuma Uganda mu 1915. Omuminsani w'ekanisa Rev. Canon HM Grace yasindikibwa mu Ankole mu bugwanjuba bwa Uganda okutandika esomero lya Mbarara High School . Era yatandika n’eggye eyasooka mu Uganda. Ekibiina kino kyatwala ekiseera okusaasaana mu ggwanga lino mu kiseera kya Sematalo eyasooka, ng’abantu balowooza nti Obusikawutu bwali bwa magye nnyo. Mu 1918, Rev. Grace yakyusibwa n’atwalibwa e Namirembe, gye yatandikira eggye ery’okubiri erya Basikawutu.

Mu kiseera kya Sematalo o'wokubiri, Abasikawutu baaweereza ng'ebitundu byabwe nga bali mu ofiisi ewatukira ebitereko n'ebaluwa wamu n'okusunsula amabaluwa, nga balagirira entambula y'ebiduka n’emirimu emirala egy’amakulu.

Okutuusa mu 1971, obusikawutu bwagenda bwakula nebumannyikwa nnyo mu Uganda era obwammemba ne butuuka n'okubuna eggwanga lyonna. Bino byonna byatuuka nebiyimiriramu wakati wa 1971 ne 1981, olw’embeera y’eby'obufuzi mu Uganda. Obusikawutu bwaddamu okubonaabona mu 1985 olw’entalo n’obutali butebenkevu mu ggwanga.

Mu 1986, obusikawutu bwaddamu okulabikako, era Minisitule y’Eby'enjigiriza n’efuuka omulabirizi wabwo mu butongole w’ekibiina ekigatta abasikawutu mu Uganda . Wadde nga ng'obusikawutu kibiina ekitadukanyizibwa gavumenti, gavumenti ya Uganda efunye nnyo okwagala kw'ekibiina kino. Okwawukanako n’amawanga amalala, gavumenti ya Uganda etaddewo omukozi omujjuvu mu buli disitulikiti, ng'amannyikiddwa ng'akulira eby'emirimu mu buli disitulikiti, okukwasaganya emirimu gy’Abasikawutu, ng’esiima omulimu omunene ennyo ekibiina kino kye gukola era kyegusobola okukola mu kusomesa eby'enjigiriza by’abavubuka ebweru w’ekibiina.

Nga wayise emyaka mitono, ndowooza ga kiva ku puleesa ey'eby'enfuna, Gavumenti yalekeraawo okuteekayo ssente ezaali zisasula eri abakulira Emirimu mu Disitulikiti, era nebifuuka bifo byabwanakyeewa .

Ekibiina kya UK Uganda Network ekyatandikibwawo mu 1994 ekyasooka okuyitibwa UNITE Network kyavaamu enkolagana ey’okulusegere wakati w’Abasikawutu mu Bungereza n’abo abaali mu Uganda. Kino kyavaamu pulojekiti ez'awamu nnyingi n’okukyalira ngana [ okujuliza kwetaagisa ]

Omubala gwa Cub Scout guli "kola ky'osobola" ("do your best"). Omubala gw'abasikawutu abato guli " Beera Mwetegefu'' (''Be Prepared"); omubala gwa Venture Scout guli "Tunula n'enkaliriza'' (''Look wide''), era Omubala gwa Rover Scout gwe "Buwereza'' (''Service"). Omubala gw'Abasikawutu guli Uwe Tayari mu Luswayiri, naye nga kiri Beera Mwetegefu, (Be Prepared) Weetegeke mu Luswayiri .

Akabonero k'abasikawutu ak'ekibiina ekyegatibwaamu abasikawutu mu Uganda kaliko engaali erina engule eyakikuusikuusi, akabonero akakozeseddwa okuva Uganda bwe yali etabi ly'abasikawutu b'e Bungereza ery'amatwale .

UK Uganda Scout Network

[kyusa | kolera mu edit source]

UK Uganda Scout Network nsisinkano y'abamemba b’ekibiina kya The Scout Association abagala okutumbula obusikawutu mu nsi yonna n’okusingira ddala abalina obwagazi obw’enjawulo okuzimba emikwano n’abantu ba Uganda. Ekigendererwa kyakyo kwe kugata bamemba b’ekibiina ekigata abasikawutu abalina obwagazi mu Afrika okusingira ddala Uganda, abaagala okufuna amagezi n'okumanya , okuwanyisiganya ebirowoozo n’okugabana bye bayitamu.

Ekibiina kya UK Uganda Scout Network kiwa omukisa gw'okugaziya obusikawutu mu nsi yonna nga bamanyisa abantu n’okutumbula emirimu egy’okuwagira ebirowoozo ne pulojekiti mu Bungereza eri bammemba b’ekibiina ekigatta abasikawutu mu Uganda n’ebitundu byabwe.

N’okutuusa kati, Abasikawutu bazimbye ekifo ekipya eky’okutendekebwaamu nga webasinziira mu ggwanga ekya National Campsite ekisinganibwa e Kaazi. Aba Venture Scouts bakoze pulojekiti ey’emyaka kkumi okukulaakulanya poloti y'e ttaka e Buwenda, nga bazimba ekifo eky’okutendekebwaamu n’ewebasinziira, ekimanyiddwa nga Baden-Powell Training Center and Campsite, Buwenda, okuliraana Jinja . Abasikawutu b’e Bungereza beetanira esomero mu bitundu by’omugoteko mu Kampala e Bwaise, nga barizimbira ebibiina eby'enkalakalira n'okusasulira eby'enjigiriza by'abaana. Abasikawutu baakung'aanya ne batambuza konteyina ejjudde ebikozesebwa mu kusomesa ekyasobozesa okuteekebwawo eterekero ly'ebitabo mu somero erimu e Iganga . Ekibinja ky’Abasikawutu aba abalambula okuva e Leicestershire baazimba, nga bakolagana n’Abasikawutu b’omu kitundu, ensulo bbiri ezikuumibwa mu disitulikiti y’e Busia, okuddiŋŋana kw'okukyala okw’engeri eno kutegekeddwa.

 


Ebijulizidwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Triennial review: Census as at 1 December 2010" (PDF). World Organization of the Scout Movement. Archived from the original (PDF) on 8 May 2012. Retrieved 2011-01-13.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]