The Uganda Society

Uganda Society kibiina kya bya buwangwa, ne sayaansi mu Uganda ekyatandikibwaawo mu 1923. Ekibiina kino kyatandikibwaawo okutumbuula okunoonyereza ku byafaayo bya Uganda, obuwangwa, n'ebyafaayo by'obutonde. [1]
Ekibiina kino kirina etterekero ly’ebitabo ne gyebatereka ebiwandiiko eby'enjawulo ebirimu obubaka obukwata ku byafaayo bya Uganda, obuwangwa, n’ebyafaayo by’obutonde. Ekibiina kino era kifulumya ekitabo ekiyitibwa The Uganda Journal.
Ebikikwatako
[kyusa | kolera mu edit source]
Kyatandikiwaawo nga kimannyikiddwa nga Uganda Literary and Scientific Society mu 1923 e Entebbe, mu kiseera ekyo nga Uganda gakyaali matwale agafugibwa Bungereza, kyafuna erinya lyakyo kyeririna kati mu 1933. [2]
Mu myaka etaano egyasooka, ekibiina kino kyali kyenyigira mu kwanjula emisomo egya "saayansi, ebyafaayo, eby'enfuna, oba eddiini" naye kyenganga okusaanawo mu 1928 olw'abo abali bakyenyigiramu okubeera nga baali basaasaanye. [2]
Kyazuukizibwa mu 1933 olw'amaanyi agaali gatekeddwamu Edward James Wayland Omungereza eyali yakuguka ku bikwatagana n'eby'ettaka ne Sir Herbert Ralph Hone eyali Saabawolereza wa Gavumenti mu Uganda eyali efugibwa eggwanga lya Bungereza wakati wa 1937 ne 1943. [3]
Gyekisangibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ekibiina kya Uganda Society kyasengulwa okuva Entebbe, nekitwalibwa ku Kampala Club mu Gwomukaaga mu 1933. Oluvannyuma kyasengulwa nekitwalibwa mu Sikh Barracks, era mu 1960 kyali ku National Cultural Centre mu Kampala. [2]
Ensimbi eza Ford Foundation zaaletera okugaziya kw'ekifo webatereka ebikadde ekimannyikiddwa nga Uganda Museum mu 1963, ekyavirako ekifo ekyaweebwa ekibiina kino mu kuludda lw’eby'enjigiriza mu Uganda museum nga geegabadde amaka gaakyo okuva olwo [2]
Byekikola
[kyusa | kolera mu edit source]Okusinziira ku kiwandiiko kya Library of Congress, omulimu gwayo omukulu gwali gwa "okusoma empapula n'okutuusa emisomo ku miramwa egyekuusa ku Uganda". [4]
Mu 1933, ekibiina kino kyasengula ekitebe kyakyo ekikulu nekikitwaala mu Kampala ne kisalawo okufulumya ekitabo ekya buli kiseera, The Uganda Journal . Ekigendererwa ky'ekitabo kino ekyalangirirwa kyali "kukung'aanya n'okufulumya bubaka obuyinza okwongera ku magezi gafe aga Uganda n'okutereka ebyo ebiyinza okubula mu bbanga eribeera liyiseewo." [5]
Eterekero ly'ebitabo
[kyusa | kolera mu edit source]
Ekibiina kino kikuuma etterekero ly’ebitabo erya Uganda Society Library mu kifo we kiri kati mu Uganda Museum. [6]
Etterekero lino eryatandikibwaawo mu 1920, lirimu " ebika by'ebitako, maapu, ebitabo ebifuluma buli luvannyuma lwa kiseera n'ebifaananyi nga bingi ku byo mu ngeri endala tokyayinza kubisingaana walala wonna mu Uganda". [2] Ekungaaniro lino lirimu ebitabo ebisoba mu 6,000 "zonna nga zikwata ku byafaayo bya Afrika, obuwangwa, eby'obulamu, entambula ne saayansi". [5]
Emboozi z’olukale
[kyusa | kolera mu edit source]Ebitabo ebifulumizibwa
[kyusa | kolera mu edit source]
Ekibiina kya Uganda Society kifulumya ekitabo ekiyitibwa The Uganda Journal . Oluvannyuma lw'okusengulwa okuva e Entebbe ne bagenda e Kampala mu 1933, ekibiina kino kyasalawo okufulumya The Uganda Journal n'okufulumizibwa kwayo okwasooka kwaliwo mu 1934. [2] Kyali kigambibwa nti ekitabo kino kyali kigendererwa "okukung'aanya n'okufulumya obubaka obwali obwongera magezi gaffe nga Uganda n'okutereka ebyo ebiyinza okubula mu bbanga nga ligenze ligenderera." [4]
Ekibiina era kyawagira ebitabo nga "A Guide to the Snakes of Uganda", ekyawandiikibwa Captain CRS Pitman, ne "Uganda Memories", ekyawandiikibwa Sir Albert Cook . [3]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://biosci.kyu.ac.ug/ugssti/about-the-uganda-society/
- 1 2 3 4 5 6 "The Uganda Society". www.africa.upenn.edu. Retrieved 2024-01-30. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content - 1 2 "Uganda Society". Nature (in Lungereza). 164 (4159): 97–97. 1949-07-01. doi:10.1038/164097c0. ISSN 1476-4687. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":4" defined multiple times with different content - 1 2 "The Uganda Journal". Library of Congress, Washington, D.C. 20540 USA. Retrieved 2024-01-30. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":1" defined multiple times with different content - 1 2 "Uganda, The Uganda Society Library". Culture in Crisis (in Lungereza). Retrieved 2024-01-30. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":3" defined multiple times with different content - ↑ "ProdAfrica Business Directory - The Uganda Society - Kampala - Uganda ProdAfrica Business Directory Connecting Business" (in British English). 2017-06-14. Retrieved 2024-01-30.