Thembo Nyombi
Script error: No such module "Infobox person".
George William Thembo Nyombi (yazaalibwa 31 Ogwomusanvu 1964) Munnayuganda omukugu mu by'enfuna era munnabyabufuzi . Y'akulira ekitongole kya Uganda Communications Commission ekifo kino y'akifuna nga 24 Ogwekkuminogumu 2023 [1] era nga yaliko Minisita omubeezi owa tekinologiya w'amawulire mu kabineti ya Uganda .Yalondebwa mu kifo ekyo nga 27 Ogwokutaano 2011. Y'adda mu bigere bya Alintuma Nsambu, eyagobwa mu kabineti. [2] Ekyo nga tekinnabaawo, yaweerezaako nga Minisita omubeezi owa Luweero Triangle mu ofiisi ya Ssaabaminisita, okuva mu 2009 okutuuka mu 2011. [3] Nyombi Thembo era yaliko omubaka wa Palamenti (MP) owa Kassanda ey'omumaselengeta mu Disitulikiti y'e Mubende . Abadde akiikirira ekitundu kino obutasalako okuva mu 2001. [4]
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa nga 31 Ogwomusanvu 1964 mu Disitulikiti y’e Mubende, nga yazalibwa ne baganda be kkumi na basatu. Kitaawe yali Erisa Zziwa Bosomungho, okuva mu lulyo olulangira Ndomboli e Zenzeka, Boma, mu Democratic Republic of Congo . Maama we yali Eseza Ziribasanga, nga naye yalina obuzaale bwa Congo. Taata ono yasenguka n’ajja mu Uganda mu 1924, olw’obutabanguko obwabalukawo olw'ebyobufuzi mu kitundu kino era okukkakkana ng’asengukidde Kassanda mu Ssaza ly'e Singo, mu Disitulikiti y’e Mubende.
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yasomera ku Lubiri Secondary School mu Kampala, mu A-Levo. Thembo Nyombi yatikkirwa Diguli ye eya Bachelor of Arts okuva mu Yunivasite y’e Makerere, esinga obukadde n’obunene mu yunivasite za gavumenti mu Uganda. Alina Dipulooma mu by’okuteekateeka n’okuddukanya pulojekiti okuva mu Bradford University mu Bungereza ne Dipulooma mu by’okuddukanya eby’ensimbi okuva mu Uganda Martyrs University (UMU) mu Uganda. Diguli ye eya Master of Science mu by’enfuna n'enkulaakulana yagifunira ku UMU.
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Wakati wa 1990 ne 1996, Thembo Nyombi yali musomesa wa by'anfuna mu kiseera ekigere ku Uphill College, essomero lya siniya mu Uganda. Yakolako ng’omukenkufu, omukungu avunaanyizibwa ku nteekateeka mu kitongole ky’eggaali y’omukka ekya Uganda Railways Corporation mu mwaka gwa 1990. Wakati wa 1995 ne 2001, yakola nga Pulojekiti Maneja, mu pulojekiti ya'okutereeza n'okulongoosa mu nkola z'egaali y'omukka, ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala City Council . Yalondebwa mu Palamenti ya Uganda mu 2001, ng’akiikirira Kassanda ey'Omumaseregenta mu Disitulikiti y’e Mubende . Mu mwaka gwe gumu, yalondebwa okuba Minisita w’Ebyenjigiriza n’Ebyemizannyo (ku mutendera gwa Pulayimale). Mu 2006, yaddamu okulondebwa mu Paalamenti era n'aweebwa ekifo kye eky'asembayo mu kabineti. [5]
Ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Thembo Nyombi mmemba mu kibiina ky’ebyobufuzi ekya National Resistance Movement . Yali mufumbo ne Prisca Mashengyero Thembo. Akawungeezi k’Olwomukaaga nga 28 Ogwomusanvu 2012, ku ssaawa nga 10 ez’olweggulo, yafiira mu kabenje k’emmotoka, ng'emmotoka gye yali avuga bwe yatomeregana n'emmotoka endala e Bwebajja, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Entebbe. [6] [7]
Laba ne bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.pmldaily.com/news/2023/11/former-ict-minister-nyombi-thembo-named-ucc-executive-director.html
- ↑ https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
- ↑ https://web.archive.org/web/20150213214754/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/671730
- ↑ http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=t&n=t&details=t&j=263&const=Kassanda+County+South&dist_id=7&distname=Mubende
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-03. Retrieved 2025-07-09.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.newvision.co.ug/news/633534-minister-nyombi-tembo-s-wife-dies-in-accident.html
- ↑ http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=20462:nyombi-thembo-buries-his-sorrow-in-music
Ebijuliziddwamu eby’ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]Lua error: Invalid configuration file.