Jump to content

Theopista Sekitto Ntale

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

 

Theopista Sekitto Ntale, (née Theopista Sekitto ), Munnayuganda, mukozi wa bbanka, omusuubuzi w’embyenfuna era omukozi w'emirimu gy'obwannakyewa, aweereza omubaka wa Global Banking Alliance for Women, ku lukalu lwa Africa . Era mu kiseera kye kimu akola nga Dayilekita w'ekitongole kya New Faces New Voices mu Uganda, ekitongole ky’ensi yonna ekitali kya magoba, ekigenderera okutumbula abakyala mu Africa n’okutumbula embeera yaabwe mu by’enfuna n’embeera ez’abulijjo. [1] [2]

Obuto bwe n’emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Theopista yazaalibwa mu Buganda ekya Uganda. Mu 1992, yafuna diguli mu by'obufuzi eya Bachelor of Arts in Political science n’okuddukanya emirimu gya gavumenti, okuva mu National University of Lesotho . Oluvannyuma, yaweebwa diguli ey'okubiri mu kikula ky'abantu eya Master of Arts in Gender Studies, okuva mu Ssettendekero wa Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde mu Uganda era esinga obunene . [3]

Mu Gwokubiri 2003, Ssekitto Ntale yaweebwa omulimu mu Standard Chartered Uganda,nga yaweerezaayo okumala emyaka etaano okutuuka mu Gwomwenda 2007. Mu Gwekkumi 2007, yakyusa ne yegatta ku DFCU Bank, gye yaweerereza kumpi okumala emyaka musanvu era n'asuumusibwa okufuuka omukulu wabakitunzi ba bbanka n'oluvannyuma nalinyisibwa ku ddaala lya omumyuka wa pulezidenti ow'okuntikko.[3][4]

Okutandika mu Gwokuna 2010, Theopista yaweerezaako nga dayilekita w'ekitongole kya New Faces New Voices,mu Uganda ekibiina ekitali kya magoba ekiwagira abakyala, ekyatandikibwawo Graca Machel . [3] [5]

Ebikwata ku famire ye

[kyusa | kolera mu edit source]

Theopista, (nga ayitibwa Theo eri mikwano gye egy’oku lusegere), mulwadde wa akawuka ka siriimu, akatta abantu musanvu ab’oku lusegere, nga mwe muli ne kitaawe omugenzi mu 1990. Atambula ensi yonna okugabana ku by’ayitamu n’okuwa amagezi ku ngeri y’okukwasaganyamu endwadde eno. [6]

Ebirala ebikulu

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2013, Theopista Sekitto Ntale yalondebwa ng'omu ku "2013 World of Difference 100". Era aweereza ku bukiiko obuwerako mu ggwanga n’ensi yonna omuli ekibiina ekigatta abakyala abasomesa mu Africa ekya Federation of African Women Educationists (Uganda) (FAWE Uganda). [7]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. http://www.gbaforwomen.org/news-events/new-faces-new-voices-conference-features-theopista-sekitto-as-speaker/
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2019-04-21. Retrieved 2026-03-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. 1 2 3 https://www.linkedin.com/in/theopista-ntale-sekitto-9387248b/
  4. https://www.voanews.com/a/global-banking-alliance-empowers-women-to-lead-in-business-106083888/159992.html
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2018-11-11. Retrieved 2026-03-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.thestar.com.my/opinion/letters/2004/06/27/banking-on-aids-awareness/
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2018-11-11. Retrieved 2026-03-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)