Jump to content

Thomas Kwoyelo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Thomas Kwoyelo yaliko omuduumizi era koloneeli w'akabinja ka bayeekera akaLord's Resistance Army mu Uganda . [1] Okuva mu 1996, waaliwo emisango 12 n’eggyo egya nagomola 52 egyaggulwa ku Kwoyelo. Yavunaanibwa omusango gw’obuliisa maanyi n’obutemu. [2]

Mu 2009 Kwoyelo yakwatibwa bwe yali mu kulwanagana n'eggye lya Uganda Armed Forces, ono yakubwa amasasi abiri nafuna ebisago. Oluvannyuma lw’okuwona yawambibwa okumala emyezi essatu nga tannavunaanibwa misango gya lutalo, [3] mu kiseera ekyo yatwalibwa mu kkomera eriyingiza abasibe ab'emisango egitali gyamaanyi nnyo mu Uganda. Mu 2011 yalabikako mu kkooti neyegaana emisango egisuka mu 90 egy’obumenyi bw’amateeka mu lutalo omuli okutta n’okutwala abantu mu buwambe. [3] Olw’obunene bw’omusango ogwamuggulwako, [4] Omusango gwa Kwoyelo tegwatandika okumala emyaka egisukka mu 10, era yamala emyaka 14 mu kaduukulu nga tannawozesebwa . Nga 19 omwezi Ogw'oluberyeberye mu 2024, omusango gwa Kwoyelo oluvannyuma gwatandika okuwulirwa.Ono ye muduumizi w'abayeekera ba LRA eyasooka okuvunaanibwa mu Uganda ( Dominic Ongwen gyebuvuddeko yali amaze okuwozesebwa kkooti y’ensi yonna ). [4] [5] [6]

Mu mwezi Ogw'omunaana nga 13, 2024, kkooti ya Uganda yasingisa Thomas Kwoyelo emisango 44 egy’obumenyi bw’amateeka mu lutalo n'emisango gy'okutyoboola embeera z'obuntu. [7] Mu mwezi Ogw'ekkumi n'ogumu nga 25, kkooti yamusingisa emisango 44, omuli okutta, ogwobuliisa maanyi, okuwamba n’okunyaga. Yasalibwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka 40. [8]

Mu mwezi Ogw'ekkumi n'ebbiri nga16, 2024, kkooti ey’enjawulo yalagira gavumenti ya Uganda okusasula ddoola za Amerika eziwera 2,500 eri buli muntu eyakosebwa Thomas Kwoyelo. [9]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Thomas Kwoyelo: Ugandan Lord's Resistance Army rebel commander on trial". BBC News (in British English). 2024-01-19. Retrieved 2024-01-19.
  2. Kersten, Mark (2011-07-12). "Uganda's Controversial First War Crimes Trial: Thomas Kwoyelo". Justice in Conflict (in Lungereza). Retrieved 2024-01-19.
  3. 1 2 "Uganda: Q&A on the trial of Thomas Kwoyelo". Human Rights Watch. 7 July 2011.
  4. 1 2 "Ugandan Lord's Resistance Army rebel commander on trial". The Star. 19 January 2024.
  5. "Kwoyelo to line up 50 witnesses for his defence". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-01-19.
  6. "Court to rule on whether Kwoyelo has case to answer". Monitor (in Lungereza). 2023-12-11. Retrieved 2024-01-19.
  7. "Uganda Former LRA commander Thomas Kwoyelo convicted of war crimes in Uganda". The Guardian (in Lungereza). 2024-08-13. Retrieved 2024-08-13.
  8. "Ex-rebel gets 40-year jail term in landmark Ugandan case". www.bbc.com (in Lungereza). 2024-10-25. Retrieved 2024-10-25.
  9. "Ugandan court asks government to pay LRA war crimes' victims". Voice of America (in Lungereza). 2024-12-17. Retrieved 2024-12-17.