Thomas Tayebwa
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Thomas | |
| Yazaalibwa nga | 10 Gwakkuminogumu(Museenene) 1980 | |
| Gy'azaalwa | Mitooma, Mitooma | |
| Omwagalwa | Anita Rukundo Tayebwa | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | munnabyabufuzi, lawyer, legislator | |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda, Chief Cabinet Whip | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Ekibiina kya National Resistance Movement | |
| Okwesiimbawo kwe mu kalulu | Akalulu ka Uganda aka 2026 | |
| Mmemba wa | 12th Parliament of Uganda | |
Thomas Tayebwa Munnayuganda munnamateeka era munnabyabufuzi, aweereza nga Omumyuka wa Sipiika wa Paalamenti ya Uganda okuva mu mwaka gwa 2022.[1] Akiikirira ekitundu kya Ruhinda North County mu Mitooma Disitulikiti mu Paalamenti era yeegattira mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM).[2] Mu mwaka gwa 2025, yalondebwa okuba Pulezidenti w'olukiiko lwa Paalamenti olw’Ekibiina ky’Amawanga ga Afrika, Caribbean ne Pacific (Organisation of Africa, Caribbean and Pacific States Parliamentary Assembly).[3]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Tayebwa yazaalibwa nga 10 Ogwekkuminoogumu 1980 eri Bangirana Daudi ne Abbie Komuhangi ab'oku Kyalo kya Bitereko mu Mitooma Disitulikiti.[4] Yasomera ku Kigarama Primary School, Kigarama Senior Secondary School, Nganwa High School, ne Ruyonza School bwe yali tanneegatta ku Ssettendekero w'e Makerere University, gye yafunira Diguli ye esooka eya Bachelor of Arts in Social Sciences mu mwaka gwa 2005 ne Diguli ye esooka mu Mateeka mu mwaka gwa 2012.[5]
Obuvunaanyizibwa bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Tayebwa aweereza nga ssenkulu wa Cholmat Investments.[6]
Eby'obufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwekkumi, 2015, Tayebwa yeesogga ebyobufuzi ku kkaadi ya NRM, n'awangula akamyufu k'ekibiina n'obululu 15092[7] era n'awangula n'akalulu ka Uganda aka bonna aka 2016 olwo n'afuuka omu ku bakiise ba Paalamenti ya Uganda ey’ekkumi.[8][9] Yaweerezaako nga mmemba ku kakiiko k’ebyenfuna by’eggwanga wamu ne ku Natural Resources Committee.[10]
Nga 25 Ogwokusatu 2022, Tayebwa yalondebwa okuba Omumyuka wa Sipiika wa Paalamenti, oluvannyuma lw’okufa kwa Sipiika Jacob Oulanyah n’okutumbulwa kwa Anita Among okufuuka Sipiika wa Palamenti.[1][11]
Mu Gwokutaano 2026, Tayebwa yeddiza ekifo ky’Omumyuka wa Sipiika wa Paalamenti mu Palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’ebiri (12th Parliament) oluvannyuma lw’okuwangula akalulu k’ababaka akaategekebwa ku Ekisaawe ky'e Kololo ekikolebwamu emikolo.[12][13]
Mu Gwokubiri 2025, Thomas Tayebwa yalondebwa okukulembera Olukiiko lwa Paalamenti olw’Amawanga ga Afrika, Caribbean ne Pacific (OACPS). Okulondebwa kuno kwamuwa n’obuvunaanyizibwa bw’okukolera awamu ng’omukulembeze wa Olukiiko lwa Palamenti olugatta OACPS n’Omukago gwa Bulaaya (EU).[14]
Tayebwa era akiikiridde Uganda mu nkiiko za Paalamenti ez’Omukago gw’Ensi (Inter-Parliamentary Union – IPU) ne mu nkiiko za Paalamenti ez’omu kitundu kya Afrika y’Ebuvanjuba, gy’akubiririzza ku by’obusuubuzi obujjudde obwenkanya, okugatta amawanga g’omukitundu, n’okukuuma obwetwaze bw’amawanga ga Afirika.[15][16]
Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 14 Ogwokubiri 2009, Tayebwa yawasa Anita Rukundo ku St Augustine Chapel e Makerere,Kampala. Balina omwana omu.[17]
Ebimulumirizibwa ebyekuusa ku kubonyaabonya abantu
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 21 Ogwomunaana 2020, amaka ga Tayebwa agasangibwa e Busaabala gakyalibwa omukozi wa Umeme, eyategeerekekwa nga Bukenya Bonny, eyali agenze okusalako amasannyalaze mu maka gano. Okusinziira ku baddukanya ekitongole kya Umeme, Tayebwa yali alemereddwa okusasula ebisale by’ensimbi za masannyalaze emirundi egiwerera ddala, era mu ngeri amateeka yazzangako amasannyalaze agaalinga gasaliddwako ku kizimbe kye. Tayebwa yaloopebwa ku poliisi ekitongole kya Umeme, nga kimulumiriza okutulugunya Bonny ku katambi.[18][19] Mu katambi ako, Tayebwa awulirwa ng’agamba nti: "Ebulayo emiggo emeka? Mumwongereyo emiggo ebiri ng'ennyongeza yange"[20] Nga 29 Ogwomunaana 2020, Tayebwa yavaayo ne yeetondera Bukenya mu lujjudde oluvannyuma lw’akatambi okulaga nga yeenyigira mu luyombo olwo.[21]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "I'll use Deputy Speaker's office to serve Ugandans' interests - Tayebwa". www.monitor.co.ug (in Lungereza). 2022-03-25. Retrieved 2022-03-26.
- ↑ "Members of Parliament | Parliament". mpsdb.parliament.go.ug. Retrieved 2026-05-26.
- ↑ "Tayebwa Elected President of ACP States Joint Parliamentary Assembly". Parliament of Uganda. Retrieved 2026-05-26.
- ↑ Kasyate, Simon. "MP Thomas Tayebwa says networking has propelled him this far". The Observer - Uganda.
- ↑ "Who is who in Deputy Speaker race". Daily Monitor (in Lungereza). Archived from the original on 2021-05-23. Retrieved 2026-05-26.
- ↑ "EXCLUSIVE: Top 10 Richest MPs in the 10th Parliament Named – theinsider.ug". 14 January 2019. Archived from the original on 13 May 2021. Retrieved 11 August 2021.
- ↑ "NRM primaries: List of results". Western Uganda's Biggest radio. October 28, 2015.
- ↑ "Winners and Losers of Uganda Member of Parliament (MPs) elections". Archived from the original on 2018-01-16.
- ↑ "MPs assure Mitooma residents on water, electricity". October 24, 2019.
- ↑ "MP Tayebwa Transfers Shs 20M to Home District". ChimpReports. April 30, 2020.
- ↑ murami (2022-03-25). "Among, Tayebwa to lead 11th Parliament". www.parliament.go.ug (in Lungereza). Retrieved 2022-04-07.
- ↑ "Tayebwa wins second term as deputy speaker as NRM tightens grip on Parliament leadership". Monitor (in Lungereza). 2026-05-25. Retrieved 2026-05-26.
- ↑ Centre, Uganda Media. "Uganda Media Centre". mediacentre.go.ug (in Lungereza). Retrieved 2026-05-26.
- ↑ "Tayebwa Elected President of ACP States Joint Parliamentary Assembly | Parliament of Uganda". www.parliament.go.ug. Retrieved 2026-05-26.
- ↑ "Enhance trade between developing countries and the western world- Tayebwa | Parliament of Uganda". www.parliament.go.ug. Retrieved 2026-05-26.
- ↑ "Tayebwa calls for respect of African sovereignty | Parliament of Uganda". gateway.parliament.go.ug. Retrieved 2026-05-26.
- ↑ "What you missed on MP Thomas Tayebwa's anniversary". March 10, 2019.
- ↑ Reporter, Spy (2020-08-28). "Umeme Opens Up". The Spy (in British English). Retrieved 2022-04-29.
- ↑ "Umeme torture video troubles Ruhinda MP". Mulengera News. 28 August 2020. Archived from the original on 22 September 2022. Retrieved 16 July 2026.
- ↑ "Tayebwa canes UMEME employee". The Informer. Archived from the original on 1 September 2022.
{{cite web}}: CS1 maint: unfit URL (link) - ↑ Independent, The (2020-08-30). "MP Tayebwa apologizes for beating UMEME contractor". The Independent Uganda (in American English). Retrieved 2026-05-26.