Timothy Wangusa
Timothy Wangusa (yazaalibwa mu mwaka 1942)munnayuganda omutontomi era.omuwandiisi w'ebitadbo. . Wangusa yali ssentebe w'ekibiina ekigatta abawandiisi ba Uganda era nga ye pulezidenti eyatandikawo International PEN Uganda Centre.
Obulamu obuto n’okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Wangusa waggwanga lya Mumasaba, yazaalibwa Bugisu, mu buvanjuba bwa Uganda . Yasomera Olungereza mu yunivasite e Makerere oluvannyuma n’aweereza kusomero, ne Yunivasite y’e Leeds (Bungereza). Yawandiika diguli ye esooka eya MA neyokusatu PhD kubitontome by’Abangereza n’eby’Afirika.
Wangusa yatandika okukola mu yunivasite e Makerere mu 1969. Yalondebwa ku bwa Pulofeesa mu 1981 (eyasooka okuva e Bugisu). Mu kwogera kwe okw’okukkiriza ‘Ensi Etaliimu bigambo,’ yatunuulira engeri ebigambo gye byali bitandise okubulwa amakulu era nga waliwo enkyukakyuka egenda mu maaso okuva ku bigambo n’okwogera. Oluvannyuma Wangusa yaweereza ng’akulira ekitongole ky’ebiwandiiko era nga ye Dean w’ekitongole ky’ebyemikono. Era yaliko Minisita w’ebyenjigiriza mu Gavumenti ya Uganda (1985–86) era nga mubaka wa Palamenti (1989–96). Mu kiseera kino, akola ng 'omuwabuzi omukulu Mu gavumenti ya Museveni. Wangusa yakola kinene nnyo mu kutandikawo ekitongole ky’ennimi n’ebiwandiiko mu Uganda Christian University, Yunivasite y'abakulisitaayo e Mukono.
Okuwandiika
[kyusa | kolera mu edit source]Ekitabo kye eky’ebitontome : okulamusa ebitontome 1965-1975 (1977), ekyaddamu okufulumizibwa n’ebitontome ebirala ng'omusono gw'enfuufu; ebitontome ebirondeddwa 1965-1990 (1994), kiraga ensibuko ye ey’omu byalo. Ekitabo ekiyitibwa ku lusozi luno (1989) kyogera ku lugero lwa Mwambu, ng'amaliridde okukwata ku ggulu, era kyogera ku lugendo lwe olw’okutuuka mu bukulu. [1] Omuzannyo guno gugatta enfumo n'engero z'Afirika n'obubonero bw'Ekikristaayo . Omulamwa gwayo omukulu gwe gw’okukulira mu mbeera z’abantu mu Uganda n’okusoomoozebwa ki okujja n’okukulira mu mbeera y’ennono. Omulimu gwa Wangusa gubadde gufulumira ku mukutu gw'ebitontome ogw'amawanga ga Afrika gonna ogwa Badilisha Poetry Radio .
Ebitabo ebifulumizibwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Okulamusa: Ebitontome 1965-1975 (1977)
- Ku lusozi luno (1989) .
- Omusono gw’enfuufu: Ebitontome Ebirondeddwa 1965-1990 (1994)
- Oluyimba lwa Afrika(1995)
- Abaana ba Afrika abapya(2006) .
- "Omuvuzi wa takisi ku kufa kwe."
Ebijjulizo
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Wangusa, Timothy (1989). Upon this Mountain. Heinemann. ISBN 9780435905422.
- Ebitontome ebikwata ku bulamu bwa Africa Biographies - olupapula 6 Ekifo eky'obuyiiya, Durban, Yunivasite y'e Kwazulu Natal