Toby Sibbick
Toby Peter Sibbick, yazaalibwa nga 23 Ogwokutaano mu 1999, nga muzannyi wa mupiira ogw'ekikugu ng'azannya ng'omuzibizii wa wakati oba omuzibizi w'okuluda lwa ddyo mu kiraabu y'Ekibinja Ekisooka ekya Bunegreza emannyikiddwa nga Burton Albion. Yazaalibwa mu Bungereza, ng'azannyira ttiimu y’eggwanga ey’omupiira eya Uganda .
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Isleworth nga nnyina Munnayuganda ate nga taata we Muzungu, Sibbick yakulira mu kabuga ka Feltham, nga kali mu Bukiikaddyo bwa London. [1]
Yatandika okuzannya omupiira kitaawe bwe yamutwaala okuzannyira ttiimu y'Abavubuka eya Feltham , nga tanaba kwegatta ku Conquest Football Academy. Sibbick yafuna okugezesebwa ku kiraabu ya AFC Wimbledon oluvannyuma lw’okubazannya era nabo ne bamulaba nti amannyi omupiira. [2]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Kiraabu ya AFC Wimbledon n’engeri gyeyatandika
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lw'okulabibwa, Sibbick yateeka omukono kundagaano ye eyasooka ey'ekikugu ng'ali ne kiraabu ya AFC Wimbledon, era n'azannya omupiira gwe ogw'ekikugu ogwasooka nga 17 Ogwokuna mu 2017 mu mupiira gwe gwebaalemagana ne Peterborough United 0-0. [3]
Yateeba ggoolo ze ezaasooka mu kiraabu ya Wimbledon bwe bweyateeba emirundi ebiri mu mpaka za EFL Trophy nga battunka ne Tottenham Hotspur ey'abali wansi w'emyaka 23 nga 3 Ogwekumi mu 2017. [4] Nga 26 Ogwoluberyeberye mu 2019, Sibbick yava ku katebe n'ateeba ggoolo ey'okuna kunga bazannya West Ham United mu mpaka za FA Cup lawuundi ey'okuna n'atekawo obuwanguzi obwebyafaayo obwa AFC Wimbledon obwa 4-2. [5]
Kiraabu ya Barnsley
[kyusa | kolera mu edit source]Sibbick yateeka omukono kundagaano mu kiraabu ya Barnsley mubiseera by'ekyeeya kya 2019. [6] Oluvannyuma n'agenda ku bbanja mu kiraabu ya Scotland emannyikiddwa nga Heart of Midlothian mu Gwoluberyeberye mu 2020. [7] [8]
Nga 4 Ogwomunaana mu 2020, Sibbick yeegatta ku ttiimu ya Bubiriji ey'Ekibinja ekisooka emannyikiddwa nga Oostende ku ddiiru y'ebbanja eyali eya'okumala sizoni enaamba, [9] wabula nga yatuuka nesazibwaamu ku ntandikwa y'Ogwekumineebiri mu 2020 nga Sibbick afunye obuzibu okweyolesa olw'omutindo omulungi ogw'abazibizi abalala abato. [10] [11]
Yateeba ggoolo ye esooka mu Barnsley mu mupiira gwebaalemagana 1-1 ne Cardiff City nga 7 Ogwomunaana mu 2021.[12]
Heart of Midlothian
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 27 Ogwoluberyeberye mu 2022, Sibbick yateeka omukono kundagaano ne kiraabu ya Heart of Midlothian gyeyaliko emabega ku bbanja n'akola nabo ddiiru ya myaka esatu n’ekitundu ku ssente ezitaamanyika. [13] Yazannya omupiira ogwali ogw'omulundi ogw'okubiri ng'ali mu Hearts mu buwanguzi bwa 2-0 nga bali waka webaali bakuba Motherwell oluvannyuma lw'enaku bbiri, ng'ayingira mu kitundu ekisooka nga kiwedde ng'adda mu bigere bya John Souttar eyali afunye obuvune.
Wigan Athletic
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 24 Ogwomusanvu mu 2024, Sibbick yeegatta ku ey'Ekibinja Kyawansi mu Bungereza emannyikiddwa nga Wigan Athletic ku ndagaano ya myaka ebiri ku ssente ezitanamanyikwa. [14] [15]
Burton Albion
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 10 Ogwomusanvu mu 2025, Sibbick yeegatta ku kiraabu y'ekibinja kya EFL League One eyitibwa Burton Albion, n'ateeka omukono ku ndagaano ya myaka ebiri nga mulimu n'akawayiro k'okwongerayo omwaka ku ssente ezitaamanyikwa. [16]
Ku muntendera gw'ensi yonna
[kyusa | kolera mu edit source]Sibbick yayitibwa okuzanyira ttiimu y'eggwanga lya Uganda mu mipiira egy'omukwano mu Gwokusatu 2024. Yasooka kubazannyira mu gwebaakola amaliri ga 2-2 ne Ghana nga 27 Ogwokusatu mu 2024. [17] Oluvannyuma yayitibwa mu okuzannya emipiira egy'okusunsulamu abalizannya World Cup okwali gwebazannya Mozambique ne Guinea Bissau mu Gwokusatu 2025 kyokka nga yali muzannyi atakozesebwa mu mipiira egyo ebiri kuba yasigala ku katebe.
Engeri gy'azannyamu
[kyusa | kolera mu edit source]Sibbick amanyiddwa nnyo olw’okukola ebintu bingi, okupakasa ennyo ku kisaawe, n’omutindo gw’okubeera fiiti, okusinga mu kuzibiriza wamu ne mu kulumba. Asobola okukolera mu bifo ebisinga nadala mu kuzibira kyokka ng’alina n'obusobozi bw’okusamba omupiira ng'agenda mu maaso singa babeera bamwetagayo. Abadde ayogerwaako nga: " Abeera Omukakamu ng'alina omupiira, kuba asobola okwambula n'okukirira ekisaawe mu ngeri ey'amagezi" era "muwanvu, muzannyi wa kiwago era alina obusobozi bw'obutaganya gw'abeera attunka naye okusobola okuzuula mune webali mu ttiimu y'emu". [2]
Ebibalo by’emipira gy'azannye
[kyusa | kolera mu edit source]| Kiraabu | Sizoni | Liigi | National cup[a] | League cup[b] | Mu Bulaaya | Endala | Total | |||||||
|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|
| Ekibinja | Emirundi gyeyabaannyira | Ggoolo z'eteebye | Emirundi gyeyazannya | Ggoolo zeyateeba | Emirundi gyeyazannya | Ggoolo zeyateeba | Emirundi gyeyazannya | Ggoolo zeyateeba | Emirundi gyeyazannya | Ggoolo zeyateeba | Emirundi gyeyazannya | Ggoolo zeyateeba | ||
| AFC Wimbledon | 2016–17[20] | Ekibinja kya Bungereza eky'Okusatu | 2 | 0 | — | — | — | — | 2 | 0 | ||||
| 2017–18[21] | 1 | 0 | — | — | — | 4 | 2 | 5 | 2 | |||||
| 2018–19[22] | 23 | 0 | 2 | 1 | 2 | 0 | — | 3 | 0 | 30 | 1 | |||
| AFC Wimbledon Total | 26 | 0 | 2 | 1 | 2 | 0 | 0 | 7 | 2 | 37 | 3 | |||
| Barnsley | 2019–20[23] | Ekibinja kya Bungereza ek'Okubiri | 18 | 0 | — | — | — | — | 18 | 0 | ||||
| 2020–21[24] | 21 | 0 | 3 | 0 | — | — | 2[d] | 0 | 26 | 0 | ||||
| 2021–22[25] | 12 | 1 | — | — | — | — | 12 | 1 | ||||||
| Omugatte | 51 | 1 | 3 | 0 | 0 | 0 | 0 | 2 | 0 | 56 | 1 | |||
| Heart of Midlothian (Yaliyo ku banja) | 2019–20[26] | Ekibinja kya Scotland ekya Babinyweera | 2 | 0 | — | — | — | — | 2 | 0 | ||||
| Heart of Midlothian | 2021–22[27] | Ekibinja kya Scotland ekya Babinyweera | 14 | 0 | 3 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 17 | 0 |
| 2022–23 | Ekibinja kya Scotland ekya Babinyweera | 32 | 0 | 3 | 1 | 1 | 0 | 5 | 0 | 0 | 0 | 41 | 1 | |
| 2023–24 | Ekibinja kya Scotland ekya Babinyweera | 21 | 0 | 1 | 0 | 2 | 0 | 3 | 0 | 0 | 0 | 27 | 0 | |
| Omugatte | 69 | 0 | 7 | 1 | 3 | 0 | 8 | 0 | 0 | 0 | 86 | 1 | ||
| Wigan Athletic | 2024–25[28] | League One | 31 | 0 | 4 | 0 | 0 | 0 | — | 4 | 0 | 39 | 0 | |
| Burton Albion | 2025–26[29] | Ekibinja kya Bungereza eky'Okusatu | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | — | 0 | 0 | 0 | 0 | |
| Omugatte Gw'ebibalo bye | 176 | 1 | 16 | 2 | 5 | 0 | 8 | 0 | 13 | 2 | 218 | 5 | ||
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Pilcher, Ross (2020-01-24). "Hearts target Toby Sibbick scouted". Daily Record (in Lungereza). Retrieved 2023-01-06.
- 1 2 "Toby signs pro deal". Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content - ↑ "AFC Wimbledon 0–0 Peterborough". BBC Sport. Retrieved 19 April 2017.
- ↑ "Parrett decides Trophy thriller against his old club Spurs". AFC Wimbledon. 3 October 2017. Retrieved 22 January 2018.
- ↑ "AFC Wimbledon 4-2 West Ham in the FA Cup fourth round". BBC Sport. 26 January 2019. Retrieved 16 June 2019.
- ↑ "Toby Sibbick Joins The Reds!". www.barnsleyfc.co.uk (in British English). Retrieved 2022-01-27.
- ↑ "SIBBICK JOINS HEARTS". Heart of Midlothian FC. 24 January 2020. Retrieved 24 January 2020.
- ↑ McLauchlin, Brian (24 January 2020). "Hearts close to Liam Boyce deal as Toby Sibbick joins on loan". BBC Sport. Retrieved 24 January 2020.
- ↑ "Toby Sibbick Joins KV Oostende On Season Long Loan". Barnsley F.C. 4 August 2020. Retrieved 5 August 2020.
- ↑ "Toby Sibbick keert terug naar Barnsley" (in Luholandi). K.V. Oostende. 21 December 2020. Archived from the original on December 21, 2020. Retrieved 2023-05-20.
- ↑ "Toby Sibbick Returns to Oakwell".
- ↑ "Cardiff 1-1 Barnsley". BBC. 7 August 2021. Retrieved 10 August 2021.
- ↑ "Sibbick returns to Hearts | Heart Of Midlothian Football Club". www.heartsfc.co.uk. Retrieved 2022-01-27.
- ↑ "Sibbick leaves for Wigan – Hearts". www.heartsfc.co.uk (in Lungereza). Retrieved 2024-07-24.
- ↑ FC, Wigan Athletic (2024-07-24). "Latics sign Hearts defender Toby Sibbick!". Wigan Athletic FC. Retrieved 2024-07-24.
- ↑ "Toby Sibbick signs for Burton Albion". www.burtonalbionfc.co.uk (in Lungereza). Retrieved 2025-07-10.
- ↑ "Hearts: Sibbick starts in eventful Uganda draw". BBC Sport. 26 March 2024.
- ↑ "Toby Sibbick Profile". Soccerway. Retrieved 8 February 2019.
- ↑ Template:Soccerbase
- ↑ Template:Soccerbase season
- ↑ Template:Soccerbase season
- ↑ Template:Soccerbase season
- ↑ Template:Soccerbase season
- ↑ Template:Soccerbase season
- ↑ Template:Soccerbase season
- ↑ Template:Soccerbase season
- ↑ Template:Soccerbase season
- ↑ Template:Soccerbase season
- ↑ Template:Soccerbase season
Ewalala w'oyinza okubigya
[kyusa | kolera mu edit source]- Toby Sibbick ku Soccerbase