Tom Butime
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Tom | |
| Yazaalibwa nga | 1947 | |
| Gy'azaalwa | Kyenjojo | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza, Tooro, Oluswayiri | |
| Omulimu | munnabyabufuzi, Minisita, legislator | |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda, Minister of Foreign Affairs of Uganda, Minister of Tourism, Wildlife and Antiquities, Ex officio member of Parliament of Uganda | |
| Gyabeera | Kampala | |
| Ebbanga ly'akoledde (okutandika) | 1980 | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Ekibiina kya National Resistance Movement | |
| Okwesiimbawo kwe mu kalulu | Akalulu ka Uganda aka 2026 | |
| Mmemba wa | 12th Parliament of Uganda | |
Tom Butime Munnayuganda munnabyabufuzi.[1] Ye Minisita w'ebyobulambuzi, ebisolo by'omu nsiko n'ebintu eby'edda mu kabineeti ya Uganda.[2] Yaweerezaako ng’omubaka omulonde akiikirira Eggombolola ly'e Mwenge mu Disitulikiti y'e Kyenjojo, mu Paalamenti ya Uganda ey’ekkumi n'ey'ekkumineemu (2016–2021) naye yawangulwa Apuuli Kasukaali Methusela ow'ekibiina kya NRM mu kulonda kwa 2026 Ogwolubereberye.[3][4] Kyaddaaki yasigazibwa ku bwa Minisita w'ebyobulambuzi, ebisolo by'omu nsiko n'ebintu eby'edda mu kabineeti ya Museveni mu kisanja kye ekya 2026-2030.[5]
Yaweerezaako nga Minisita omubeezi ow’ebyempuliziganya okuva nga 13 Ogwolubereberye 2005 okutuuka mu Gwokubiri 2006. Oluvannyuma lw’okulonda kwa bonna mu Gwokubiri 2006, yalondebwa okubeera Minisita omubeezi ow’ensonga z’e Karamoja, ekifo kye yagaana okutwala.[6] Mu 2011, Butime yavuganya ku kifo ky'omubaka w'Essaza ly'e Mwenge ey'Obukiikakkono, kyokka n'awangulwa David Muhumuza.[7]
Emabegako, Butime yaliko Minisita w’ensonga z’omunda okuva nga 6 Ogwomusanvu 1996 okutuuka mu Gwomusanvu 2001, era mu kiseera ekyo yaliko Minisita omubeezi ow'abanoonyi b'obubudamu n’okwetegekera obutyabaga. Okuva mu 2001 okutuuka 2005 mu mwezi Ogwolubereberye, mu kiseera ky'okukola enkyukakyuka mu kabineeti, Butime yaweereza nga Minisita omubeezi ow’enkolagana y’ensi yonna era n’aweereza nga Minisita w’ensonga z’ebweru okuva mu Gwokusatu 2004 okutuuka mu Gwolubereberye 2006.[6][8]
Anyumirwa nnyo okulima.[8]
Laba ne bino
[kyusa | kolera mu edit source]- Kabineeti ya Uganda
- Paalamenti ya Uganda
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Parliament of Uganda". www.parliament.go.ug. Retrieved 2020-10-14.
- ↑ Uganda State House (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list At 6 June 2016" (PDF). Daily Monitor. Kampala. Archived from the original (PDF) on 7 October 2016. Retrieved 13 June 2016.
- ↑ Parliament of Uganda (14 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 2016). "Members of Parliament: 101. Butime Tom, Representative for Mwenge County Central, Kyenjojo District". Kampala: Parliament of Uganda. Archived from the original on 27 Gwakutaano(Muzigo) 2016. Retrieved 14 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 2016.
- ↑ "Voters oust MPs, ministers, shake up parliament". New Vision. January 2026.
- ↑ "Museveni unveils new Cabinet, retains Nabbanja, Alupo and Janet in key reshuffle". Daily Monitor. 26 May 2026.
- 1 2 "Karamoja job was an insult - Tom Butime". Kampala: The Observer (Uganda). 8 July 2010. Archived from the original on 16 November 2016. Retrieved 14 June 2016.
- ↑ Bath, Tony (21 May 2012). "MP David Muhumuza Wins Election Petition". Kampala: Uganda Radio Network. Retrieved 14 June 2016.
- 1 2 Basiime, Felix; Amanyire, Edison (5 July 2015). "NRM has improved but also has weaknesses, says Colonel Butime". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 14 June 2016.