Jump to content

Tress Bucyanayandi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Tress Bucyanayandi Munnayuganda eyeenyigira mu by'obulimu era munnabyabufuzi. Yaliko Minisita w’Eby'obulimi, Okulunda ebisolo n’Obuvubi mu Kabineti ya Uganda . Yalondebwa ku kifo ekyo nga 27 Ogwokutaano mu 2011. [1] Yadda mu bigere bya Hope Mwesigye, eyagibwa okuva mu kabineti, [2] n'asikizibwa nga 6 Ogwomukaaga 2016. [3] Era ye Mubaka omulonde owa Paalamenti (MP) ku akiikirira Bufumbira County South parliamentary constituency, mu Disitulikiti y'e Kisoro, mu Paalamenti ya Uganda . [4]

Obuvo n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Kisoro ey’omulembe guno nga 1 Ogwoluberyeberye mu 1938. Mu kiseera ekyo, ekitundu kino kyali kimanyiddwa nga Disitulikiti y’e Kigezi. Yasomera mu Bukalasa Agricultural College, n’atikkirwa Dipuloma mu by’Obulimi, mu 1964. Yaweebwa basale y'okusomera obwereere okweyongerayo n'emisomo gye ebweru w’eggwanga. Yayingira West Virginia University, n’afuna Diguli ya Sayaansi mu By’obulimi mu 1966. Yeeyongerayo n’agenda mu University of Wisconsin–Madison, gye yafunira Diguli Ey'okubiri ya Sayaansi mu By'obulimu mu 1970. [4]

Oluvannyuma lw’okusomera mu Amerika, yaddayo mu Uganda n’alondebwa okubeera nga yeeyali Akulira ba Maneja mu kampuni ya Kinyara Sugar Works Limited, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1974. Okuva e Kinyara, yavaayo n’agenda ku kitebe kya Minisitule y’Eby'obulimi, ng'Omumyuuka wa Kamisona, n’aweereza mu kifo ekyo okumala emyaka 10 egyaddirira okutuusa mu 1985. Mu 1985, yakuzibwa n’afuuka Omumyuuka wa Kamisona mu By'obulimi, n'awereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1990. Mu 1990, yafuna okukuzibwa okulala n’afuuka Eyali Akulira Eby'obulimi, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1993. Mu 1993, yava mu Minisitule y’Eby'obulimi bwe yalondebwa okubeera nga y'Akulira ba Maneja mu kitongole kya Uganda Coffee Development Authority, ekitongole kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku kulungamya, okulondoola n’okuwagira amakolero ga kaawa mu ggwanga, n’aweerezayo okutuusa 2000. Yayingira eby'obufuzi by’eggwanga mu 2006, bwe yavuganya bulungi ng’omubaka wa palamenti mu Bufumbira County South mu Disitulikiti y’e Kisoro. Yaddamu okulondebwa mu 2011. [4] Mu Gwokutaano 2011, yalondebwa nga Minisita w’Eby'obulimi. [1]

Ebijulizidwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 Mukasa, Henry (28 Gwakutaano(Muzigo) 2011). "Museveni Names New Cabinet". Archived from the original on 11 Gwakkuminebiri(Ntenvu) 2014. Retrieved 9 Gwakusatu(Mugulansigo) 2015. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Cabinet" defined multiple times with different content
  2. "Comprehensive List of New Cabinet Appointments & Dropped Ministers". Uganda State House. 27 May 2011. Retrieved 9 March 2015.
  3. "Museveni appoints his wife to key ministry in new cabinet". Africanews (in Lungereza). 7 June 2016. Retrieved 28 August 2022.
  4. 1 2 3 "Profile of Tress Bucyanayandi, Member of Parliament, Bufumbira County South, Kisoro District". Parliament of Uganda (POU). 2011. Retrieved 9 March 2015. Cite error: Invalid <ref> tag; name "About" defined multiple times with different content

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]