Jump to content

Tumusiime Rushedge

Bisangiddwa ku Wikipedia

Tumusiime Rushedge (1 Omwezi ogwokusatu 1941 – 2008) yali musawo munnayuganda eyalongoosa, omuvuzi w'ennyonyi, omuwandiisi w'obutabo bw'engero ezisomwa (Novelist) , mukubi wa katuuni era omuwandiisi w'emiko mu mpapula z'amawulire. Yali amanyiddwa nga "Tom Rush". Yawandiikanga omuko buli wiiki mu Sunday Vision, oguyitibwa "Old Fox". Yeeyali obwongo emabega w'ekifaananyi kya katuuni eyitibwa lwa "Ekanya", ekyafulumizibwanga buli lunaku mu New Vision . Katuuni zino zaali zeetooloolera ku neeyisa y'Ekanya ey'ekitaamiivu ne mukyala we Rosie omulafuubanyi ,era nga zibadde zimanyiddwa okuva ku ntandikwa y’emyaka gya 1970. [1] Ye muwandiisi w'akatabo k'olugero, The Corrupt, the Quick and the Dead . [2] [3]

Obuvo bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Tumusiime yazaalibwa nga 1 Omwezi ogwokusatu 1941 mu ssaza ly’e Buhweju mu Disitulikiti y’e Bushenyi . Yeeyali omuggulanda (First born) mu baana musanvu, abaazaalibwa Rev. Andereya Rushedge ne Eseza Bantu. Yakulira mu maka amakulisiaayo era mu buto bwe, yeenyigira nnyo mu kkanisa ya Emmanuel Church Kabwohe ng’omukubi w’engoma ayita abasinza mu kusaba kwa Ssande.

Yasomera mu Kibubura Boys Primary School e Ibanda, ku misomo gye egya pulayimale. Ku misomo gya siniya, yagenda ku ssomero lya Mbarara High School (1954–1957) ne Ntare School (1958–1960). Yayiiya nakuba akabonero k’essomero lya Ntare bweyali omuyizi eyo. Yasoma Obusawo ku yunivasite y’e Makerere mu 1961. Eyo, n'era yasukkuluma era mu 1966 n’atikkirwa n’eddiguli esooka , n’agenda mu maaso okukuguka mu kujanjaba amatu, ennyindo n’emimiro (ENT). Yafuna dipulooma eya waggulu eddirira ddiguli esooka (Postgraduate diploma) ku bbanguliro ly’abasawo. Yagenda okwongera okusoma mu Amerika n’afuna ddiguli eyookubiri mu kulongoosa abalwadde mu kibuga Chicago. Olw’ebyo bye yakola mu bisaawe by'obusawo obw'obujanjabi bw’amatu ,ennyindo n'emimiro ( ENT) n'endwadde z'obwongo n'olukizi, yaweebwa obwa pulofeesa. [4]

Emirimu egifulumiziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  • The Corrupt, the Quick and the Dead. Fountain Publishers. 2012. ISBN 978-9970-25-129-2.
  • Ekanya 25: Selected cartoon and story highlights of EKANYA since his inception in 1969 AD /Tumusiime-Rushedge. TAI-PAN Publication. 1994.
  • Ekanya: The Side Splitter. Uganda Publishing House. 1973.
  • The bull's horn. Oxford University Press. 1972.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Talemwa, Moses (9 July 2008). "Death rushes Old Fox". The Observer. Retrieved 15 December 2014.
  2. "The Corrupt, the Quick and the Dead (by Tumusiime Rushegye)". Retrieved 15 December 2014.
  3. "With cops on your side, the law is yours to break". Archived from the original on 3 March 2016. Retrieved 15 December 2014.
  4. Ahimbisibwe, Chris (25 June 2008). "Tom Rush: A comet of 100 years". The New Vision. Archived from the original on 2 August 2020. Retrieved 15 December 2014.

Talemwa, Moses (9 July 2008). "Death rushes Old Fox". The Observer. Retrieved 15 December 2014.

  1. "The Corrupt, the Quick and the Dead (by Tumusiime Rushegye)". Retrieved 15 December 2014.
  2. "With cops on your side, the law is yours to break". Archived from the original on 3 March 2016. Retrieved 15 December 2014.
  3. Ahimbisibwe, Chris (25 June 2008). "Tom Rush: A comet of 100 years". The New Vision. Archived from the original on 2 August 2020. Retrieved 15 December 2014.

Lua error: Invalid configuration file.