Jump to content

Uganda Airlines (1976-2001)

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku Uganda Airlines)
Uganda Airlines
airline
Inception1976 Kyusa
End of work period2001 Kyusa
EgwangaYuganda Kyusa
Airline hubEntebbe International Airport Kyusa
Location of formationEntebbe Kyusa
Headquarters locationEntebbe Kyusa
Dissolved, abolished or demolished dateGwakutaano(Muzigo) 2001 Kyusa
Official websitehttp://www.swiftuganda.com/~uac/quhom.htm Kyusa
IATA airline designatorQU Kyusa
ICAO airline designatorUGA Kyusa

Ku kampuni y’ennyonyi ey’erinnya lye limu eyatandikibwawo mu mwaka gwa 2018, laba Uganda Airlines.

Uganda Airlines, mu mateeka emanyiddwa nga Uganda Airlines Corporation, ye yali kampuni y’ennyonyi eyali ekiikirira Fulaaga ya Uganda.[1] Kampuni eno yateekebwawo mu Gwokutaano 1976, era n’etandika emirimu gyayo mu mwaka gwa 1977. Ekitebe ekikulu kyali kiteekeddwa Entebbe, mu Disitulikiti y'e Wakiso, Uganda, era yakoleranga okuva ku kifo kyayo ekikulu eky’emirimu mu Kisaawe ky’Ennyonyi eky’Ensi yonna ekya Entebbe.[2]

Gavumenti ya Uganda yagezaako okuguliza kampuni eno abantu oba amakampuni ag’obwannannyini okugifuula ey’obwannannyini, naye bonna abaali boolekedde okugigula baava mu nkola eyo. Kino kyaviirako Uganda Airlines Corporation okuggalwa n’okumalibwawo ddala mu Gwokutaano 2001. Oluvannyuma, kampuni y’ennyonyi eno yazzibwawo era n’etandika nate okukola engendo z’ennyonyi mu mwaka gwa 2019 n’erinnya lyerimu erya Uganda Airlines. [3]

Ennyonyi ya Uganda Airlines ekika kya Boeing 707-320C ku kisaawe kya Euroairport mu 1980.

Uganda Airlines yatandikibwawo mu mwezi gwa May 1976 nga kampuni etwalibwa nga e ttabi ly’ekitongole kya Gavumenti ekyali kimanyiddwa nga Uganda Development Corporation (UDC), okusikira empeereza eyali esooka okuweebwa kampuni ya East African Airways.[4] Yatandika emirimu gyayo mu 1977, nga mu kiseera ekyo Uganda Aviation Services (UAS), eyatandikibwawo kampuni ya British United Airways mu 1965 kyokka ebiseera ebyo eyali kampuni ya UDC, n'eyingizibwa mu Uganda Airlines, n'etwala omukutu gw'amakubo ga UAS.[4][5][6]Oluvannyuma lw’okutuusibwa kw'enyonyi y'ekika kya Boeing 707-320C eyasooka ku nkomerero y’emyaka gya 1970 nga giggwaako, amakubo amapya agad genda e Brussels, London ne Rome gaatongozebwa. Ennyonyi ey'okubiri ey'ekika kya Boeing 707-320C yayingira mu zaali zikozesebwa mu 1981. Omwaka ogwo, amakubo amapya agagenda e Cairo, Cologne ne Dubai gaatongozebwa, ne gagobererwa ag'e Dar es Salaam, Kilimanjaro ne Nairobi mu myaka egyaddirira.[5]

We bwatuukira mu Gwokusatu mu 1990 ebika byennyonyi byebaali bakozesa mwalimu ekika kya Boeing 707-320C kimu, Fokker F27-600 biri, Lockheed L-100-30 emu,Twin Otter emu ne BN Trislander emu. Ennyonyi ekika kya Boeing 737 yapangisibwa okuva mu Air Zimbabwe mu 1994 okuweereza Bujumbura ne Kigali, wamu n'ebifo ebiri mu South Afrika. Tel Aviv yayongerwa ku mukutu gw’amakubo mu 1995, era wetwatuukira mu 1998 amakubo gonna ag'omu Bulaaya gaayimirizibwa.[5]

Olw’okutondawo kampuni ya Alliance Air ku nkomerero ya 1994 —oluvannyuma eyamanyibwa nga SA Alliance —ekitongole ekyali kitwalibwa gavumenti ya Tanzania ne Uganda, Air Tanzania ne Uganda Airlines, awamu ne South African Airways (SAA), Tanzania ne Uganda zaawa kampuni empya eddembe ly’okukola emirimu egy’ewala.[6][7][8] Endagaano eno yali egenderera okuliisa emirimu gya Alliance Air n’empeereza zombi eza Air Tanzania ne Uganda Airlines ez’omunda n’ez’omu kitundu.[6][9] Kyokka kampuni z’ennyonyi zombi ez’omu kitundu zaakula kitono okusinga bwe kyali kisuubirwa, era olw'okuba yakulakulana kitono. Uganda Airlines kye yakunganya kyaleetera Gavumenti ya Uganda okusalawo oba egenda kusazaamu kampuni eno oba okugitwala mu bwannannyini.[6]

Okugezaako okugifuula ey’obwannannyini n’okuggalwa kwayo.

[kyusa | kolera mu edit source]

Ku nkomerero y’emyaka gya 1990, kampuni eno yali mu mbeera ya ssente ezaali teziyingira bulungi olw’enzirukanya embi,[10] Gavumenti ya Uganda bwe yateekateeka okutwala kampuni y’ennyonyi eno eyali mu mabanja mu bwannannyini, ng’enoonya omusigansimbi okukuuma kampuni eno ng’ekola. Mu kusooka kampuni eziwerako zaalina obwagazi bw'okutwala kkampuni y’ennyonyi eya Uganda Airlines. SA Alliance/ SAA, Air Mauritius, British Airways, Johannesburg -ewasinganibwa Inter Air, Kenya Airways, ne Sabena, bonna baali balabika ng'abaali baagala okugula mu ntandikwa, [10][11][12] naye okukakkana n'eteekayo okusaba kwabwe, okuggyako SAA eyasigala nga ye yokka etaddeyo okusaba kwayo okw'okugula kuntandikwa ya 1999.[13][14] SAA yandibadde yalina okwetaba mu kampuni eno ebitundu 49%;[13] wadde kyali kityo, oluvannyuma yasuula okusaba kwayo oluvannyuma lw’okusanga okuvuganyizibwa okw’amaanyi mu lukiiko lw’ababaka.[6][15] Olw’okuba tewaali awaayo ssente ng'ayagala kugula kampuni eno, Gavumenti ya Uganda yasazaamu kampuni y’ennyonyi eno mu Gwokutaano mu 2001.[16][17]

Ebifo ennyonyi gy’etambulira oba gy’etuuka.

[kyusa | kolera mu edit source]

Okuva ku kifo kyayo ekikulu mu kisaawe ky’ennyonyi Entebbe International Airport, mu kiseera kyayo bweyabeerera ey'amaanyi, kampuni eno yali ekola enteekateeka z’okugenda mu bifo ebiri munda mu Afirika, Bulaaya ne Middle East. Wammanga lwe lukalala lw’ebifo Uganda Airlines bye yaweereza mu byafaayo byayo byonna:

Eggwanga Ekibuga Ekisaawe ky'enyonyi Ebiwandiike Ebijjuliziddwaamu
Belgium Brussels Brussels Airport [7]
Burundi Bujumbura Bujumbura International Airport
Democratic Republic of the Congo Goma Goma International Airport [8]
Kinshasa N'djili Airport [8]
Germany Cologne Cologne Bonn Airport [9]
Israel Tel Aviv Ben Gurion Airport
Italy Rome Rome Fiumicino Airport [9]
Kenya Mombasa Moi International Airport [10]
Nairobi Jomo Kenyatta International Airport [9]
Rwanda Kigali Kigali International Airport [11]
South Africa Johannesburg O. R. Tambo International Airport [11]
Tanzania Dar-es-Salaam Julius Nyerere International Airport [9]
Kilimanjaro Kilimanjaro International Airport [9]
Mwanza Mwanza Airport [12]
Uganda Arua Arua Airport [9]
Entebbe/Kampala Entebbe International AirportTemplate:Airline hub [9]
Gulu Gulu Airport [9]
Kasese Kasese Airport [9]
Mbarara Mbarara Airport [9]
Soroti Soroti Airport [13]
Tororo Tororo Airport [13]
United Arab Emirates Dubai Dubai International Airport [9]
United Kingdom London Gatwick Airport [9]
Stansted Airport [14]
Zambia Lusaka Lusaka International Airport [11]
Zimbabwe Harare Harare International Airport [11]

Endagaano z’okukolagana mu kukozesa koodi z’ennyonyi.

[kyusa | kolera mu edit source]

Wammanga kuliko olukalala lwa amakampuni g’ennyonyi Uganda Airlines ge yali yakola nago endagaano mu nkolagana z’okukozesa koodi z’ennyonyi mu kiseera we yaggalibwa; engendo z’ennyonyi zaali zikolebwa ddala Uganda Airlines:

  • Air Tanzania, Dar-es-Salaam ne Johannesburg okugenda/okuva Entebbe
  • Emirates, Dubai okutuuka/okuva Entebbe
  • Kenya Airways, Nairobi okutuuka/okuva Entebbe

Ebibinja by'ennyonyi

[kyusa | kolera mu edit source]

Obubenje n'ebyagwawo

[kyusa | kolera mu edit source]
Ennyonyi ekika kya 5X-UBC, eya Uganda Airlines Boeing 707-320C, yarabibwaako ku kisaawe ky’ennyonyi Fiumicino mu 1983. Ennyonyi eno yennyini yagwa ku kisaawe kye kimu nga 17 Ogwekumi mu 1988.

 Okusinziira ku Aviation Safety Network, kampuni eno yafuna obubenje/embeera embi yamirundi esatu mu byafaayo byaayo byonna; naye kimu kyokka ku byo kye kyaviirako okufa kw’abantu. [2] Obubenje obwaviirako ennyonyi okwonooneka okutuuka nga tebakyasobola gitereeza bulagiddwa wansi.

  • Nga 1 Ogwokuna mu 1979: Ennyonyi y'ekika kya Boeing 707-320C, eyali ewandisiddwa nga 5X-UAL, eyali eyimiridde ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe, yasaanyizibwawo amagye ga Tanzania mu lutalo olwali wakati wa Uganda ne Tanzania . Tewali muntu yenna yafulumizibwa nti yali afudde.
  • Nga 17 Ogwekkumi mu 1988: Ennyonyi 775 yali nnyonyi ya nsi yonna eyali etegekeddwa okusaabaza abantu okuva e London-GatwickRome-Fiumicino –Entebbe empeereza y’ennyonyi etambuza abasaabaze eyagwa olw’obutalaba bulungi mu kaseera k’okusembera ku kisaawe mu kitundu ekyasembayo eky’olugendo lwayo olusooka, nga esembera ku Kisaawe ky’Ennyonyi ekya Leonardo da Vinci-Fiumicino. Ennyonyi eno yali etambulira ku nnyonyi ya Boeing 707-320C, eyalina enamba 5X-UBC ku mukira gwayo. Ennyonyi eno yamenyeka oluvannyuma lw’okutomera akasolya k’ekizimbe, n’ekwata omuliro. Ku bantu 52 abaali mu nnyonyi, abantu 33 beebaafa, ate bangi abaasimattuka ne balumizibwa nnyo. [16] [17]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Uganda plans to relaunch Uganda Airlines and invest USD400 million in airport developments". Centre for Aviation. 1 August 2013. Archived from the original on 12 August 2013.
  2. 1 2 Tentena, Paul (16 July 2013). "Uganda Ponders Airline Revival". Allafrica.com. East African Business Week.
  3. Nensel, Mark (18 July 2018). "Revived Uganda flag carrier orders CRJ900s, A330neos". Aviation Week Network. Retrieved 15 July 2025.
  4. 1 2 "World Airline Directory – Uganda Airlines". Flight International: 129. 30 March 1985. Archived from the original (PDF) on 5 November 2012. Retrieved 14 July 2012.
  5. 1 2 3 https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
  6. 1 2 3 4 5 "World airline directory – Uganda Aviation Services (UAS)". Flight International: 61. 21 March 1974. Retrieved 20 January 2012.
  7. 1 2 "Uganda Airlines Summer Schedules (Effective 1 April 1982[[:Template:Spaced ndash]]31 October 1982)[[:Template:--]]European services". Airline Timetable Images. Archived from the original on 19 August 2013. {{cite web}}: URL–wikilink conflict (help)
  8. 1 2 3 "World Airline Directory – Uganda Airlines" (PDF). Flight International: 91. 1–7 April 1998. Retrieved 20 January 2012.
  9. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 "Uganda Airlines Timetable (Effective 30 March 1986[[:Template:Spaced ndash]]25 October 1986)". Airline Timetable Images. Retrieved 20 January 2012. {{cite web}}: URL–wikilink conflict (help)
  10. 1 2 3 "World Airline Directory – Uganda Airlines" (PDF). Flight International: 84. 3–9 April 1996. Retrieved 20 January 2012.
  11. 1 2 3 4 5 "World Airline Directory – Uganda Airlines" (pdf). Flight International: 106. 31 March – 6 April 1999. Retrieved 25 March 2011.
  12. 1 2 "Uganda Airlines Summer Schedules (Effective 1 April 1982[[:Template:Spaced ndash]]31 October 1982)—International services: Tanzania/Kenya/Uganda". Airline Timetable Images. Retrieved 20 January 2012. {{cite web}}: URL–wikilink conflict (help)
  13. 1 2 3 4 "Uganda Airlines Summer Schedules (Effective 1 April 1982[[:Template:Spaced ndash]]31 October 1982)—Domestic services: East/Northern". Airline Timetable Images. Retrieved 20 January 2012. {{cite web}}: URL–wikilink conflict (help)
  14. 1 2 "Amin cargo flights banned by Britain" (PDF). Flight International: 815. 17 March 1979. Retrieved 12 May 2011. Uganda Airlines' regular cargo flights between Stansted and Entebbe have been stopped by the British Government, although there is no embargo on return services.
  15. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named ":8".
  16. 1 2 https://aviation-safety.net/database/record.php?id=19881017-0
  17. 1 2 "COMMERCIAL FLIGHT SAFETY – FATAL ACCIDENTS: SCHEDULED PASSENGER FLIGHTS" (pdf). Flight International: 51. 21 January 1989. Retrieved 19 July 2011.
  18. 1 2 3 4 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named "FI1990".
  19. 1 2 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named "FI1985".
  20. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named "Uganda slashes services ahead of SAA takeover".
  21. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named "Uganda eyes foreign cash".
  22. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named "Pressure mounts for Uganda Airlines".
  23. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named "Serving Africa".
  24. 1 2 3 4 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named "FI1979".

Guttery, Ben R. (1998). Encyclopedia of African Airlines. Jefferson, NC: McFarland & Company. ISBN 0-7864-0495-7.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Media related to Uganda Airlines (1976-2001) at Wikimedia Commons