Jump to content

Uganda Cricket Association

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Ekibiina kya Uganda Cricket Association kye kifuga n'okutegeka engendo zonna n'emipiira egizannyibwa Ttiimu ya Uganda eya cricket ne Ttiimu y'eggwanga eya abakyala ey'omuzannyo gwa cricket . Kye kibiina ekifuga omuzannyo gwa cricket mu Uganda . Ekitebe kyayo ekikulu kiri mu Kampala Uganda . [1] Ekibiina kya Uganda Cricket Association ky'ekikiikirira Uganda mu lukiiko lw'ensi yonna olwa Cricket Council era mmemba omukwanaganya era ebadde mmemba mu kibiina ekyo okuva mu 1998. Era mmemba mu kibiina kya African Cricket Association .

Alan Mugume ye akulira ekibiina kya UCA (Uganda Cricket Association). [2] Davis Turinawe ye Maneja w'enkulaakulana.. [3]

Mu 1939, wiiki y\enpaka za Cricket ez'amasomero ezasooka z'ategekebwa wakati w’amasomero ana mu Uganda. Oluvannyuma mu 1966, Baategeka empaka zaabwe ez'omulundi ogwasooka. Empaka ezasooka ez'abannantameggwa ezatuumibwa East African Championship z'azanyibwa era nga Uganda eyali ezitegese ye yawangula. Mu 1998, Uganda yafuuka mmemba mu lukiiko lwa International Cricket Council ( ICC ).

Obukulembeze bwa Uganda cricket

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Bapulezidenti ne ba Ssentebe ba Uganda Cricket Association
  1. Fred Luswata (1997 – 2000).
  2. Francis Kazinduki (Ogwomukaaga 2000 – 2002)
  3. Ivan Kyayonka (2003 – 2006).
  4. William Kibukamusoke (2007 – Ogwokubiri 2008)
  5. Kato Sebbale (Ogwokubiri 2008 – Ogwokubiri 2012)
  6. Richard Mwami (Ogwokubiri 2012 – Ogwokubiri 2017)
  7. Bashir Badu (Ogwokubiri 2017 – Ogwokusatu 2019)
  8. Michael Nuwagaba (Ogwokusatu 2019 - Kati)
  • Omuwandiisi
  1. Chris Azuba (1999 – Ogwokubiri 2001)
  2. Justine Ligyalingi (Ogwokubiri 2001 – 2006)
  3. Bashir Badu (2007 – 2009).
  4. Jackson Kavuma (2012 – 2016).
  5. Jeremy Kibukamusoke (2016 – Ogwokubiri 2017)
  6. Eric Kamara (Ogwokubiri 2017 – Ogwekkuminebiri 2017) [4]
  7. Michael Nuwagaba (Ogwokubiri 2017 – Ogwokusatu 2019)
  8. Alvin Bagaya Mboijana (Ogwokusatu 2019-okutuusa kati)
  • Abakulira emirimu ne ba dayirekita:
  1. Justine Ligyanlingi (Ogwokuna 2010 – Ogwokusatu 2018)
  2. Martin Ondeko (Ogwokusatu 2018 – Ogwomukaaga 2022)
  3. Alan Mugume (Ogwomusanvu 2022-akyaweereza)
  • Ba Maneja
  1. Rober Kisubi.
  2. Bashir Badu (2009 – 2010).

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://web.archive.org/web/20231218193006/https://www.icc-cricket.com/about/members/africa/associate/156
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2024-05-13. Retrieved 2025-08-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://web.archive.org/web/20161025192418/http://ugandacricket.com/index.php/contact
  4. https://kawowo.com/2017/12/27/eric-kamara-resigns-as-hon-secretary-of-uganda-cricket/


Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:Associate Members of the International Cricket Council