Jump to content

Uganda Dental Association

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Enkambi eyali ekubiddwa aba Uganda Dental health Association

Uganda Dental Association (UDA) kibiina ekiwandiise naye nga tekidukanyizibwa gavumenti ekikungaanua n'ekyegatibwaamu abasawo abalongoosa amannyo nga balina ebisaanyizo abaawummula n'abakyakola mu Uganda. [1] Ekitebe kyabwe ekikulu kisinganibwa mu kibuga kya Uganda ekikulu ekimannyikiddwa nga Kampala, UDA eweereza bamemba baayo n’abantu bonna nga kidukanya ensonga enkulu ezikwata ku bulamu bw’omu kamwa ku lwabwe n’okukwasaganya enteekateeka z’okumanyisa abantu ku bulamu bw’amannyo okwetoloola eggwanga. [2] [3] [4]

Ekigendererwa ekikulu ekya UDA kwe kutumbula enkyuukakyuuka mu by’amannyo nga bayita mu kuwaanyisiganya ebirowoozo mu basawo abalongoosa amannyo, mu Uganda n’ensi yonna. Ekibiina kino kikozesa omulimu gwakyo ogw’obukulembeze okulaba ng’eddembe n’enkizo z'abamemba binyumirwa bonna era kikola nga kalabalaba w'okulung’amya omulimu gw’obusawo bw’amannyo mu Uganda. Ekibiina kino era kikakasa abantu byebasuubira bituukirira era nga kyenyigira nnyo mu nteekateeka z’okulwanirira n’okubunyisa amawulire. [5]

UDA efulumya akatabo buli mwaka nga koogera ku biwandiiko ebikwata ku mannyo akayitibwa UDA Journal. Buli Gwakuminagumu, ekibiina kya UDA kikuza wiiki y’Eby'obulamu Bw’amannyo nga kirimu kampeyini z’emikutu gy’amawulire, okwekeneenya n’okujjanjaba endwadde z’amannyo n’okusomesa ku bulamu bw’amannyo nga bayita mu kutuuka mu bantu abatalina buyambi. [6] [5] Nga 20 Ogwokusatu buli mwaka, UDA yeegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’obulamu bw’omu kamwa mu nsi yonna (WOHD) ng’etegeka kakuyege ow’enjawulo ez’okumanyisa abantu n’obulwaliro. [7] [8]

UDA yatandikibwawo mu myaka gya 1960 abasawo b’amannyo bataano okuli; Dr.Jack Barlow, Dr. Bisase Arnold, Dr.Aliker Okello, Dr. Amooti Rwamirimo Nkurukenda ne Dr. William B. Nganwa. Mu myaka gya 1970 ku mulembe gw'obukulembezze bwa Pulezidenti Idi Amin, ekibiina kyalekeraawo okukola olwa Dr.Jack Barlow.okubeera nga yali atiddwa pulezidenti Amin Oluvannyuma kyadamu okukola mu myaka gya 1980 nga kidukanyizibwa Dr. George W. Ssamula ng'ali wamu ne Dr. William B. Nganwa ne Dr. JF Tiromwe. Webwatuukira mu 2014, UDA yali erina bamemba abasoba mu 280. Mu 2010 UDA yafulumya ekitabo kya UDA Journal ekyasooka. Ofiisi ya UDA eyasooka yali mu Ddwaaliro ly'e Mulago . Ekitebe kya UDA ekikulu ekiriwo kati kyagulwaawo ku Kitongole Ekivunaanyizibwa ku By'amannyo ekisinganibwa ku Makerere University, mu 2013.

Ekibiina kiwa bamemba baakyo emisomo egikwatagana ku mannyo nga bayita mu misomo, Enkiiko za UDA eza buli mwezi n’ebitabo bya UDA. [9] UDA egaba omukutu eri abasawo b’amannyo okukolagana mu ggwanga n’ensi yonna. Ekibiina kino kiyamba abasawo b’amannyo okwenyigira mu nteekateeka z’okubunyisa amawulire n’emikolo egiganyula ekitundu neba memba. UDA ewa obwesige n'okwekiririzaamu okw’enjawulo eri abasawo b’amannyo Uganda.

Era, ekibiina ky’abasawo b’amannyo kisalira ku muwendo gwa ssente ezisasulwa ba memba baakyo; okugeza Obukugu Bw'ekibiina Obutafiirwa oba Okukuumibwa okuva eri ebuzibu bweonna okusibuka ku by'Ensiimbi. N’ekisembayo, ekibiina kino kiwola bamemba baakyo ebitabo ne n'Obutaambi bw'okumayinja ga DVD. [9]

Okulondoola abasawo b’amannyo

[kyusa | kolera mu edit source]

UDA ekola ng’ekibiina ekirondoola emirimu gy’abasawo b'amannyo mu Uganda nga kiri wamu n’ekitongole kya Uganda Medical & Dental Practitioners Council (UMDPC) ekyaweebwa obuyinza Minisitule y’Eby'obulamu mu Uganda okulondoola Ab'eby'obulamu abakugu n’abasawo Abalongoosa Amannyo abakugu mu ggwanga. [5] UDA erina omukiise ku lukiiko lwa UMDPC nga bwe kiri mu teeka erifuga abeenyigira mu By'obulamu n’Abasawo b’amannyo erya 1998. [10] [11]

Ekibiina kirimu Abasawo Abalongoosa Amannyo, Bamemba abalina Ekitiibwa ne bamemba b'ebisaanyizo era/oba abalina akakwate ak’ekikugu n’obusawo bw’amannyo mu Uganda. Abasawo b’amannyo abalina ebisaanyizo balina okuwandiisibwa mu kibiina, n’oluvannyuma mu lukiiko olutwala Ab'eb y'obulamu n'Abeenyigira mu By'okujanjaba Amannyo nga basasudde ssente eziba zeetagisa era Abakugu abatali basawo b’amannyo ng'emirimu gyabwe gyekuusa ku bujjanjabi bw’amannyo bayinza okusaba obwamemba mu kibiina. [12]

UDA memba w’ebibiina by’ensi yonna eby’enjawulo okuli FDI n’ekibiina ekigatta abasawo b’amannyo, n'ekibiina ekigatta Abasawo b'Amannyo abava mu mawanga Agalu mu Luse olumu ne Bungereza, ekya Commonwealth Dental Association (CDA).

Ekibiina kirina enkolagana ey'enjawulo era ey'obuyiiya ne Wrigleys. UDA etumbuula obuyonjo bw'omukamwana obulungi n'enkola y'omubitundu okwetoloola Uganda nga kiyita mu nteekateeka ya The Wrigley Oral Healthcare Program . Colgate ne GlaxoSmithKline (GSK) zitera okuwagira enteekateeka n'emirimu gya UDA mu ggwanga lyonna. [13] [8]

Ebitabo byebafulumya

[kyusa | kolera mu edit source]

UDA efulumya ebitabo ebikwata ku mannyo buli kiseera,gamba nga UDA Journal. Mu Gwokuna mu 2021, UDA yafulumya lipoota yaabwe ku lunaku lw’obulamu nga lukwatagana n'ebyobulamu by'omukamwa nga mulimu n'emirimu gye baakola mu Gwokusatu nga 20, 2021. Ebitabo eby’emabega ne lipoota ya WOHD bisobola okuwanulibwa ku mukutu gwabwe ogwa yintaneeti, www.ugadent.org. [6]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Over 150 local National Dental Associations are supporting us". FDI Global Caries Initiative.
  2. "ASSOCIATIONS WORLDWIDE". SUVISION. Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2025-10-09.
  3. "Useful Links". The Commonwealth Dental Association.
  4. "Uganda: Insufficient Dentists As Dental Cases Escalate". allAfrica.
  5. 1 2 3 "Oral health should be given priority". New Vision.
  6. 1 2 "UDA Journal". UDA.
  7. "Uganda celebrates WOHD 2014". FDI: World Dental Federation. Archived from the original on 2015-03-11. Retrieved 2025-10-09.
  8. 1 2 "Uganda celebrates healthy smiles on World Oral Health Day". The UDA.
  9. 1 2 "Services". UDA. Archived from the original on 2021-01-18. Retrieved 2025-10-09.
  10. "Welcome to Uganda Medical & Dental Practitioners Council". UMDPC.
  11. "Medical and Dental Practitioners Act 1998". ULII.
  12. "Member Composition". UDA. Archived from the original on 2015-01-15. Retrieved 2025-10-09.
  13. "Colgate launches new brand". UNICAF. Archived from the original on 2014-10-18. Retrieved 2025-10-09.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]