Uganda Martyrs University (UMU) Yunivasite ya bwannannyini eyeegattira mu kkanisa ya Roman Catholic Church mu Uganda . Yunivasite eno ya b'olukiiko lwa ba Episcopal Conference of the Catholic Bishops of Uganda. [1] Lirina layisinsi okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku misomo gy'awaggule ekya Uganda National Council for Higher Education . [2] UMU erimu amabanguliro musanvu, amattendekero abbiri, Kampasi mukaaga, Dipaatimenti mwenda, n’amasomero asatu. Bwe ly'atuukira mu Gwokusatu 2022, abayizi bonna awamu bali 4,632. [3] Ku bano, abayizi nga 1,500 baali basula okumpi, ate kumpi abayizi 3,000 baali bawandiisiddwa mu pulogulaamu za UMU ez’okuyigira ewala. Omuwendo gw’abakozi gwali gusukka mu 400.
Ekibangirizi kya UMU ekikulu kiri Nkozi mu Disitulikiti y’e Mpigi, mu kitundu ky'Omumasekkati ga Uganda kilommita 85 (53 mi) okuva ku luguudo mu Bukiikaddyobwobuggwanjuba bwa Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu ggwanga eryo. [4] Ebibalo by'endagiriro za Kampusi eno biri 0°00'13.0"N, 32°00'52.0"E (Latitude:0.003611; Longitude:32.014444). [5]
UMU yatandikibwawo mu Gwekkumi 1993 nga yatandiika n'abayizi 84 ne dipaatienti z’ebyenjigiriza bibiri: Institute of Ethics & Development Studies ne Faculty of Business Administration & Management. [6]
Ku matikkira ga yunivasite eno og’omulundi ogwa 24 nga 8 Ogwekkuminogumu 2018, abayizi 2040 be batikkiddwa mu satifikeeti, dipuloma, diguli, diguli ey'okubiri ne PhD. Omumyuka wa Cansala yategeeza abo abaaliwo nti emisomo emipya 17 gye gyali gitandikiddwawo, okwali Bachelor of Journalism ne Bachelor of Inclusive Education, nga gino gyaweze omuwendo gw’amasomo agasomesebwa 136. Ebbanguliro ly'aba yinginiya mu kampasi y'e Fort Portal, mu Buggwanjuba bwa Uganda, nalyo lyalangirirwa nti lugguddwa. [7]
Raphael p'Mony Wokorach ye Ssentebe omuggya ow'olukiiko olufuzi olwa UMU ng'adda mu bigere bya Sanctus Lino Wanok eyaweereza okumala emyaka 8. Mu Gwomukaaga 2023, yalangirirwa mu lujjudde ku Pope Paul Memorial Hotel e Rubaga . [8]
Okuva mu Gwekkuminogumu 2018, UMU yasobola okubeezaawo kampasi mu bifo bino wammanga:
Kampasi enkulu: Eri Nkozi kilommita 82 (51 mi) mu Bukiikaddyobwobuggwanjuba bwa Kampala, ku luguudo wakati wa Kampala ne Masaka. Kampasi eno erimu ebizimbe ebisulwamu omuli Onyango, Haflet, Carabine, Mukasa n'ebirala.
Masaka Kampasi: Mu kibuga Masaka, Kilommita 119 (74 mi) ku luguudo oluva mu Bukiikaddyobwobuggwanjuba bwa Kampala. Yatandikibwa mu 2005 ng’ekifo ekikwanaganya pulogulaamu za UMU ez’okusomesa abayizi abasomera ewala kyokka ne kifuulibwa kampasi mu 2007. [9]
Lubaga Kampasi: E Lubaga, mu Divizoni y'e Lubaga ku nsalo z’ekibuga Kampala ku yiika 3 (1.2 ha) ez’ettaka. Kampasi eno erimu essomero lya Diplomacy. [10]