Jump to content

Uganda National Bureau of Standards

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ekitongole kya Uganda National Bureau of Standards (UNBS) kitongole kya gavumenti, ekyatandikibwawo etteeka lya Palamenti ya Uganda, .

UNBS eri wansi wa Minisitule y’ebyobusuubuzi, amakolero n'ebibiina by'obwegassi nga yatandikibwawo etteeka lya UNBS Act Cap 327 era nga yatandika okukola mu 1989. Efugibwa olukiiko lw’omutindo mu ggwanga era nga ekulemberwa Executive Director avunaanyizibwa ku mirimu gya UNBS egya buli lunaku.

UNBS evunaanyizibwa ku kuteekawo, okutumbula enkozesa y'okussa mu nkola emitendera gy'okukuuma obutonde bw’ensi, ebyobulamu by’abantu n’obukuumi. [1]

Omulimu gwa UNBS gwe guno:

  • Okukola n’okutumbula enkozesa y’omutindo;
  • Okussa mu nkola emitendera mu kukuuma ebyobulamu n’obukuumi bw’abantu n’obutonde bw’ensi okuva ku bintu eby’obulabe era ebitali bya mutindo;
  • Okukakasa obwenkanya mu by’obusuubuzi n’obutuufu mu makolero nga tuyita mu nkola ezeesigika ez’okupima,
  • Okunyweza ebyenfuna bya Uganda nga tukakasa omutindo gw’ebintu ebikolebwa mu ggwanga okutumbula okuvuganya kw’ebyamaguzi ebifulumizibwa ebweru w’eggwanga mu butale bw’omu kitundu n’ensi yonna.

Ekifo we kisangibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekitebe kya UNBS kisangibwa mu Standards House, mu "Bweyogerere Industrial Park", ku Plot 2–12 Kyaliwajala Road, mu kabuga k'e Kira, mu Disitulikiti y'e Wakiso, nga kali kirometer 13(8 mi), ku nguudo, mu bukiikakkono bw’obuvanjuba bw'amasekkati ga Kampala, ekibuga ekikulu era ekibuga ekisinga obunene mu Uganda. [2] Ensengeka z'ebitundu by'ekitebe kya UNBS ze zino mu lulimi lwa Geography: 0°22'06.0"N, 32°39'43.0"E (Latitude:0.368333; Longitude:32.661944). [3]

Okulambika okutwaliza awamu

[kyusa | kolera mu edit source]

Emirimu emikulu egy’ekitongole kya Uganda National Bureau of Standards (a) okukola n’okutumbula enkozesa y’omutindo gw’eggwanga ne (b) okukola enkola z’okulondoola omutindo n’okukakasa omutindo. Ekigendererwa kwe kuwa obukuumi bw’abakozesa, okunyweza obukuumi n’ebyobulamu by’abantu, okutumbula enkulaakulana y’ebyobusuubuzi n’amakolero n’okutumbula eby’obusuubuzi by’ensi yonna. UNBS erina omulimu gw'okukukola n’okutumbula omutindo, okukakasa omutindo, okukebera mu laboratory n’okupima . [4]

UNBS, ng’eri wamu n’ebitongole bya gavumenti ebirala batandise kaweefube w’okugezaako okumalawo ebintu ebitali ku mutindo ku katale ka Uganda. [5] Mu July 2017, ekitongole kino kyasaanyaawo ebintu ebibalirirwamu obukadde bwa USh900 (nga doola za Amerika 253,000), ebyakakasibwa nti tebyali bya mutindo. [6] Mu Gwokubiri gwa 2016, UNBS yawera okutunda ebintu eby’okwewunda ebirimu mercury ne hydroquinone . [7]

Enzirukanya y’emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekitongole kino kifugibwa olukiiko lw’omutindo mu ggwanga olulimu abantu mwenda. [8] Emirimu gya buli lunaku egy’ekitongole kino gilabirirwa ttiimu y’abaddukanya emirimu egy’abantu 18, nga ekulemberwa Ben Manyindo. [9]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://en.wikipedia.org/wiki/International_Organization_for_Standardization
  2. https://distancecalculator.globefeed.com/Uganda_Distance_Result.asp?fromplace=Post%20Office%20Building%2C%20Kampala%20Road%2C%20Kampala%2C%20Uganda&toplace=UNBS%20Headquarters%2C%20Kampala%2C%20Uganda%2C&dt1=ChIJXyfX9IC8fRcRorrkbY-nufI&dt2=ChIJO6vzTM-5fRcRG7tk8zx25vU
  3. https://www.google.com/maps/place/0%C2%B022'06.0%22N+32%C2%B039'43.0%22E/@0.3683333,32.6597611,451m/data=!3m2!1e3!4b1!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.3683333!4d32.6619444
  4. http://www.eac-quality.net/the-sqmt-community/national-bodies/uganda-unbs.html
  5. http://www.monitor.co.ug/Business/Markets/UNBS-starts-consumer-protection-campaign/688606-3952336-9m2u2vz/index.html
  6. http://www.monitor.co.ug/Business/UNBS-destroys-Shs900m-substandard-products/688322-4035024-ja1mog/index.html
  7. http://www.monitor.co.ug/Business/Markets/UNBS-orders-harmful-cosmetics-off-market/688606-3083634-8gje5ez/index.html
  8. https://www.unbs.go.ug/profiles.php?pg=council
  9. https://www.unbs.go.ug/profiles.php?pg=management