Jump to content

Uganda Refinery Holding Company

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Esundiro ly'amafuta erya MOGAS

Uganda Refinery Holding Company (URHC), kampuni yagavumenti ya Uganda nga edukanyizibwa gavumenti okuwa abantu obuwereza obwa kampuni ez'enjawulo, eyo y'emu ku kampuni ezidukannyizibwa Uganda National Oil Company (UNOC) ebitundu 100 ku 100, ng’ekigendererwa kyayo kwe kukwata emigabo mu Uganda Oil Refinery n’ebintu ebikwatagana nabyo, ebirina akakwate ku gavumenti ya Uganda. Kampuni eno yatandikibwawo nga kampuni ey’obwannannyini, wansi w’etteeka ly’amakampuni erya 2012. [1] Kampuni eno ekola kinene mu kitongole ky’amafuta mu Uganda ekikyakula, naddala mu kukulaakulanya n’okuddukanya pulojekiti y’okusunsula amafuta eyasooka mu ggwanga. [1]

Ensengeka y’ekitongole n’obwannannyini

[kyusa | kolera mu edit source]

URHC ekola ng’emu ku kampuni ebbiri eza UNOC ezirina obwannannyini bwonna, wamu n’ekitongole kya National Pipeline Company (Uganda) Limited (NPC). Ekitundu ky'amasekati kidukanyizibwa kampuni bbiri eza UNOC ezirina obwannannyini; Kampuni ya Uganda Refinery Holding Company Limited (URHC) ne kampuni ya National Pipeline Company (Uganda) Limited (NPC). [2]

Wekisingaanibwa

[kyusa | kolera mu edit source]
Ekifo kya MOGAS Terminal

Ekitebe kya UNOC ekikulu kisinganibwa ku mwaliiro ogw'okuna, ku Amber House, 29-33 ku Kampala Road mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene. Endagiriro y'ekitebe kya UNOC ekikulu ze zino: 0°18'48.0"N, 32°34'55.0"E (Latitude:0.313333; Longitude:32.581944). [3]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 Paul Murungi (4 March 2024). "Refinerynomics: Uganda Presses Ahead With Its Oil Refinery Project Amidst Questions On Profitability And Sustainability". CEO Magazine Uganda. Retrieved 22 July 2025.
  2. "Midstream". Uganda National Oil Company. Retrieved 25 June 2025.
  3. Template:Google maps

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]