Jump to content

Uganda Revenue Authority

Bisangiddwa ku Wikipedia
Commissioner General Doris Akol.
Kaminsona General Doris Akol, Yazze mu bigere bya Allen Kagina eyawumula oluvannyuma lw’okumala ebisanja bibiri eby'emyaka etaano eby’omuddiring’anwa ng’akulira URA. Akpol yeegatta ku URA, nga munamateeka 1995

Uganda Revenue Authority ( URA ) kitongole kya gavumenti ekisolooza omusolo ekyatandikibwawo Palamenti ya Uganda. Kikolera wansi wa Minisitule y’Eby'ensimbi, Okuteekateeka n’Enkulaakulana y’Eby'enfuna, URA evunaanyizibwa ku kusa mu nkola, okwekeneenya, okukung’aanya, n’okubala emisolo egy’enjawulo egyateekebwawo mu Uganda . [1]

Wekisingaanibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekitebe kya URA ekikulu kisingaanibwa ku kizimbe kya myaliro 22, ekimanyiddwa nga Uganda Revenue Authority House (URA Tower), kisangibwa ku Plot M 193/4 Kinnawataka Road e Nakawa mu Industrial Area, mu Divizoni y'e Nakawa mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekisinga obunene. [2] Ekifo kino kiriko kiromita 6.5 (4 mi), ng'okozeseza luguudo, mu buvanjuba ng'ova mu kibuga wakati. Endagiriro z'ekitebe ky'ekitongole kino ziri 0°19'48.0"N 32°37'10.0"E (Latitude:0.330000; Longitude:32.619444). [3]

Allen Kagina yaleetawo enkyuukakyuuka nnene mu kulwanyisa obuli bw'enguzi mu URA bwe yalondebwa ng'akulira ekitongole kino 2004. Minisita w'Ebyamawulire Rose Namayanja yagambye nti, "Mu bukulembeze bwa Muky Allen Kagina, tufunye obuwanguzi mu kuyonja URA era n'okusolooza omusolo buli mwaka kulinnye. Embeera si mbi nga bwe yali." Okusinziira ku lupapula lwa Daily Monitor endowooza eno yagabanibwa na pulezidenti wa Uganda . [4]

Engeri gyekizze kikolamu emirimu gyakyo

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 1991, URA bwe yatandikibwaawo, okusolooza omusolo kwali ebitundu 6.8 ku 100 ebya GDP, nga kwali kubalibwaamu obuwuumbi 133. Mu 2015, emisolo egyakunganyizibwa gyali ebitundu 13 ku 100 egya GDP, nga gyali gibalibwaamu obutabalika bwa ssente 11.2 trillion. URA yali egenderera kwongeza okusolooza omusolo okutuuka ku bitundu 16 ku buli 100 egya GDP okutuuka mu 2020. [5]

Enzirukanya y’emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 29 Ogwokusatu 2020, Pulezidenti wa Uganda HE Gen. Yoweri Kaguta Museveni yalonda John Musinguzi Rujoki ku ky'okukulira ekitongole kino. Yadda mu bigere bya munnamateeka Doris Akol eyalondebwa nga 27 Ogwekumi 2014 Minisita w'Ebyensimbi mu Uganda mu kiseera ekyo Maria Kiwanuka . [6] Allen Kagina eyaweereza ku ntikko ya URA okumala ebisanja bibiri eby’omuddiring’anwa eby’emyaka etaano nga Doris Akol tannawumula. [7] Okusobola okulabirira abakozi baakyo abasinga obungi mu kifo ekimu, URA yazimba omunaala ogw’emyaliro 22 nga guliraanye ekitebe kyayo e Nakawa, guno gwagwa mu 2018, [8] era ne gutandika okukola mu butongole mu Ogwolubereberye 2019. [9]

Abazze bakikulembera

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekimeeza wamaagna kiraga abazze bakulembera ekitongole kino okuva lwekyatandikibwaawo mu 1991. [10]

Abazze bakulira ekitongole ekivunaanyizibwa mu kusolooza omusolo okuva lwekyatandikibwaawo mu
Eddaala Eyali akikulira Okuva Mpaka nga Ebiwandiiko
1. 1. Edward Larbi Siaw 1991 1997 [10]
2. 2. Elly Rwakakooko 1997 2000 [10]
3. 3. Stephen Besweri Akabway 2000 2001 Mu busoobozi bw'okukola[10]
4. 4. Annebritt Aslund 2001 2004 [10]
5. 5. Allen Kagina 2004 2014 [10]
6. 6. Doris Akol 2014 2020 [10]
7. 7. John Musinguzi Rujoki 2020 N'okutuusa kati [10]

Olukiiko olufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekitongole kya gavumenti kirabirirwa olukiiko olufuzi olw’abantu musanvu, nga baalondebwa minisita wa Uganda ow’ebyensimbi. [11] Okuva mu Gwomukaaga 2020, ekimeeza wansi kiraga enkola y’olukiiko olufuzi olwa URA.

Abakiise ku lukiiko olufuzi olwa olw'ekitongole Ekiwooza Omusolo mu Uganda
Eddaala Erinnya lye Omugaso Emirimu Emirala Ebiwandiiko
1. 1. Juma Kisaame Ssentebe Eyali akulira bbanka ya DFCU
2. 2. John Musinguzi Rujoki Kamisona genero [12]
3. 3. Patience Tumusiime Rubagumya Omuwandiisi w’olukiiko olufuzi Kamisona wa URA avunaanyizibwa ku by'Amateeka n'Ensonga z'abatuula ku kakiiko [13]
4. 4. Ramatham Ggobi Omuwandiisi w’eggwanika Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyensimbi [11]
5. 5. Helen Awidi Memba [11]
6. 6. Loy Tumusiime Memba [14]
7. 7. Michael Wamibu Memba [11]

Ebijulizidwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Ismail Musa Ladu (7 June 2016). "Uganda revenue collection [[:Template:As written]] by narrow tax base". Retrieved 15 October 2016. {{cite web}}: URL–wikilink conflict (help)
  2. Pat Robert Larubi (5 December 2018). "URA Headquarters To Move Into New Building In January". SoftPower Uganda.
  3. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named LocR
  4. Mugerwa, Yasiin (10 April 2014). "AG unearths graft at URA". Archived from the original on 10 June 2015. Retrieved 9 June 2015.
  5. Jonathan Adengo (7 October 2016). "URA Tasked To Increase Revenue To Shs34 Trillion". Retrieved 15 October 2016.
  6. Monitor, Reporter (27 October 2014). "Doris Akol Appointed Kagina's Replacement At URA". Retrieved 7 February 2015.
  7. Yasiin Mugerwa, and Ismail Musa Ladu (24 July 2014). "URA Boss Kagina Leaves Office This October". Retrieved 7 February 2015.
  8. Bernard Busuulwa (24 September 2016). "High-end office space in high demand in Uganda". Retrieved 24 September 2016.
  9. Paul Ampurire (20 January 2019). "Museveni Commissions Shs139 Billion URA Tower, Talks Tough On Bureaucracy". Softpower Uganda. Retrieved 3 June 2020.
  10. 1 2 3 4 5 6 7 8 "The story of URA and why Doris Akol had to be sacked". 5 April 2020. Retrieved 5 April 2020.
  11. 1 2 3 4 Frederic Musisi (15 January 2017). "Government Doubles Pay for URA Board Members". Retrieved 3 June 2020.
  12. SoftPower Uganda (2 April 2020). "New Era At URA As Musinguzi Rujoki Assumes Office As 6th Commissioner General". SoftPower Uganda. Retrieved 3 June 2020.
  13. Daily Monitor (4 February 2015). "Ms Rubagumya has worked for the Authority for 14 years". Ugandanewsreleases.com Quoting Daily Monitor. Retrieved 3 June 2020.{{cite web}}: CS1 maint: url-status (link)
  14. Uganda Revenue Authority (2016). "Board Members for Financial Year 2016/2017" (PDF). Uganda Revenue Authority. Retrieved 3 June 2020.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]