Jump to content

Uganda Road Sector Support Initiative

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Uganda Road Sector Support Initiative nga mu bumpi mpi bakiwandiika URSSI, kibiina mu Uganda ekitali ku musingi gwa kukola ekikola okutumbuula enfuga mu by’entambula, ng'esira liteekeddwa nnyo ku by'entambula y’oku nguudo. Kisinganibwa mu Uganda, ekwata ekifo eky'okusatu mu by'enfuna mu mukago gw'Amawanga agasinganibwa mu Buvanjuba bwa Afrika era erina kyekyuusa ku Mawanga Agali mu Bukiikaddyo bw'Eddungu lya Afrika. [1] [2]

Enkola y'emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

URSSI yatandikibwaawo mu 2010 oluvannyuma lw'okubeera nga waaliwo okusoomoozebwa okuwerako mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo mu Uganda. Olw’okuba ky'ekitongole ekyatandikawo nga kya bwanakyewa ky'ekitongoole ekisookerwako mu by’entambula mu ggwanga, ekikola okunoonyereza, okubunyisa amawulire n’okubunyisa obubaka obukwata ku kitongole kino. [3]

URSSI kitundu ku kibiina ekikola ku by’entambula ekiteesa ku nsonga ezinyigiriza ekitongole kino era nga kyajula amawulire amakulu eri Paalamenti n’abantu bonna okuyamba okulwanyisa enguzi n’okukozesa obubi mu kuzimba enguudo. Emirimu gy’ekitongole kino gitunuulidde okuddamu okutegeka enkyukakyuka mu bibuga n’enkola z’okuteekateeka mu nsi ezikulakulana.

Mu myaka egiyiseewo, URSSI ewagidde Uganda: okwegatta ku Nteekateeka y’Obwerufu mu kitongole ky’Okuzimba (CoST) ; okuyisa n’okusa mu nkola Open Contracting Data Standard (OCDS) ne; okuvuga enkola y'okufuula banaansi Ekintu eky'okulondoola enguudo . URSSI era y'omu ku bamemba eyatandikawo era mu kiseera kino ye mutegesi w’ekibiina kya Civil Society Coalition on Transport in Uganda (CISCOT), omukago gw’ebibiina 25 ebirimu bamemba, ng'ekigendererwa kyayo kukuleetawo enkola enungi, eyeeyagaza etali ya bulabe. [4] [5]

Abatekamu ensimbi n'abavugirizi

[kyusa | kolera mu edit source]

URSSI efuna obuyambi bw’ensimbi n’obulala okuva mu n'ebibiina by’abakungu, omuli bino wamanga: [6]

  1. Baanka y'ensi yonna [7]
  2. Ofiisi y’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ekola ku Biragalalagala n’Obumenyi bw’Amateeka (UNODC)
  3. Omukago gwa UNCAC
  4. CrossRoads, enteekateeka ey’emyaka ena ekola okutumbuula entambula y’enguudo n’amakolero mu Uganda.
  5. Minisitule evunnanyizibwa ku By’emirimu n’Entambula
  6. Ekitongole ekivunaanyizibwa ku Nguudo mu ggwanga ekya Uganda National Roads Authority (UNRA) Archived
  7. Uganda Road Fund Archived
  8. Ekitongole ekivunaanyizibwa kunkola y'emirimu mu Kampala (KCCA)

Enteekateeka enkulu n'emikolo

[kyusa | kolera mu edit source]

URSSI mu biseera ebiyise ebadde yeenyigira mu kuddukanya pulogulaamu zino wamanga: [8]

  • Mu mwaka gwa 2011, URSSI yakola kakuyege mu ggwanga lyonna wansi w’enteekateeka y’Okunyweza Okumanyisa Abantu n’okwetaba mu mateeka agakwata ku kitongole ky’Enguudo okulaajanira banaansi ba Uganda okusa ekitiibwa mu bifo ebyatekebwaawo okulaba kizimbibwaamu enguudo nga balaba ng’okuzimba bituukana n’Etteeka ly’Enguudo n’Etteeka erifuga okutuuka ku nguudo. [9]
  • Buli Gwekumineebiri, URSSI ekwasaganya Okutambula ku Luguudo Mungeri Ey'obuvunaanyizibwa era enungi nga kino kikolebwa buli mwaka okulaajanira abantu okukozesa obulungi enguudo mu biseera by’ennaku enkulu, ekiseera obubenje ku nguudo we bubeera ku ntikko mu Uganda. [10]
  • Mu 2014, URSSI yatandikawo enkola eky’Okulondoola Enguudo ng’eyambibwako Baanka Y'ensi yonna okulungamya ebibiina by’obwannakyewa ne banaansi ba Uganda mu: okugerageranya entegeka n'omutindo gwebibeera bitukiddwaako; okukebera ebirubirirwa ne pulojekiti ez'enjawulo; okuteesa kubiyinza okukomekereza wekibeera kigwanide. [7] [11]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Who we are". URSSI.
  2. "Développement urbain en Ouganda : un examen de la planification des transports et de la mobilité dans les villes [EN]". CODATU. Archived from the original on 2023-01-28. Retrieved 2025-10-16.
  3. "Uganda Road Sector Support Initiative (URSSI)". UNODC. Archived from the original on 2016-03-05. Retrieved 2025-10-16.
  4. "Why Ugandans build in road reserves". The Observer (Uganda). Archived from the original on 2018-10-07. Retrieved 2025-10-16.
  5. "'Contract monitoring coalition' kicks off with World Bank support". OIL IN UGANDA. Archived from the original on 2018-10-06. Retrieved 2025-10-16.
  6. "Uganda: Lack of technical, financial capacity affecting road sector". africaninvestor. Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2025-10-16.
  7. 1 2 "Civil society develops road monitoring tool". New Vision.
  8. "City drivers get new speed limits". New Vision.
  9. "Uganda's road laws outdated". New Vision.
  10. "FATAL ACCIDENT CLAIMS 14 NEAR KAMPALA". East Africa daily.
  11. "Access to Information as a tool for the sustainable development of roads in Uganda". freedominfo.org.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]