Jump to content

Ugandan Constitutional Conference

Bisangiddwa ku Wikipedia

Olukungaana olwavirako okukolebwa Semateeka wa Uganda, lwategekebwa ku kizimbe kya Lancaster House mu biseera wakati w'ekyeya n'obutiti mu 1961, lwategekebwa Gavumenti ya Bungereza okugulawo ekubo lya Uganda okufuna ameefuga.

Olukungaana lwagulwaawo nga 18 Ogwomwenda mu 1961 [1] era ne lukomekerezebwa nga 9 Ogwekumi. Lwayitibwa okukubaganya ebirowoozo ku Alipoota Uganda Relationships Commission, akaali kaweereddwa omulimu gw'okulowooza ku ngeri ya gavumenti ey'omu maaso esinga okusaanira Uganda ekibuuzo ky'enkolagana wakati wa Gavumenti eya wakati n'aboobuyinza abalala mu Uganda" [2] era nga yali efulumizza lipoota mu Gwomukaaga. [1] Okwongereza ku Baminisita ba Gavumenti ya Bungereza nga mw’otwalidde ne Omuwandiisi Omubeezi Ow'abafuzi b'Amatwale, Ian Macleod, olukung’aana luno lwetabiddwamu abakiise abaali mu gavumenti ya Bungereza eyali efuga ng'ekulirwa Sir Frederick Crawford, mu kiseera ekyo eyali Gavana wa Uganda, Abaganda, ab'ebiina beeby'obufuzi okuli abaali bavudde mu Democratic Party, Uganda People’s Congress (UPC) n’abalala.[3] Milton Obote n'ow'ekitiibwa A. G. Mehta be baali bakikiridde UPC. [4]

Ensonga enkulu eyali eyolekedde olukung’aana luno yali endabika eyali ekyaweebwa ab'obukulembezze ob'enono obw’ebyafaayo obw’enjawulo mu Uganda nadala okusingira Obwakabaka bwa Buganda mu kuwanyisiganya n’okukiriza okubeerawo kw’eggwanga lya Uganda epya, lnga muno mwebaalina okubeerera ekitundu kimu kyokka. Mu kwongerako, Obukama bw'e Bunyoro bwakiriza okwetaba mu Tabamiruka singa embeera eyaliko enkaayana eya "amasaza agaabula" eteesebwaako. Mu Tabamiruka, Macleod bwe yawa amagezi nti akalulu k’ekikungo akaali kalowoozebwa akakiiko k’enkolagana tekuyinza kugenda mu maaso okusinziira ku buwagizi bwa Buganda obutaba na buwagizi, mu kifo ekyo n’ateesa okusaawo akakiiko akalala aka bakansala ab’ekyama akayitibwa Molson Commission, ababaka ba Bunyoro nebafuluma. [5]

Ebiteeso by'olukuŋŋaana luno byavaamu endagaano ya Buganda eya 1961 eyasikira endagaano ya Buganda eya 1955, wamu ne Semateeka wa Uganda eyasooka .

 

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 Onek C. Adyanga (25 May 2011). Modes of British Imperial Control of Africa: A Case Study of Uganda, c.1890-1990. Cambridge Scholars Publishing. pp. 137–139. ISBN 978-1-4438-3035-5.
  2. Apter, David E. (3 April 2013). The Political Kingdom in Uganda: A Study in Bureaucratic Nationalism. Routledge. p. 403. ISBN 978-1-136-30757-7.
  3. Mukholi, David (1995). A Complete Guide to Uganda's Fourth Constitution: History, Politics, and the Law. Fountain Publishers. pp. 10–11, Appendix 1. ISBN 978-9970-02-084-3.
  4. Uganda Constitutional Conference (1961). Uganda: Report of the Uganda Constitutional Conference, 1961 and text of the agreed draft of a new Buganda agreement initialled in London on 9th October, 1961. London: H.M.S.O. OCLC 14210279.
  5. Dumbar, A. R. (1965). "A History of Bunyoro-Kitara" (PDF). Oxford University Press. pp. 189–193. Retrieved 17 June 2017.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]