Umar Kakumba
Umar Kakumba, Munnayuganda omuwi w’amagezi ku nzirukanya y’emirimu, musomesaera mudukanya weby’ensoma okuva nga 15 ogwekuminoogumu mu 2018, akola ng’omumyuka w’amyuka Cansala avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyenjigiriza mu yunivasite e Makerere, eya gavumenti esinga obukadde era obunene mu Uganda . [1]
Ensibuko n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Uganda mu myaka gya 1970. Oluvannyuma lw’okusoma mu masomero ga pulayimale ne siniya mu kitundu, yakkirizibwa mu yunivasite e Makerere, n’atikkirwa diguli esooka eyeby'emikono mu sayansi w'embeera z'abantu (Bachelor of Arts in Social Sciences) . yagigobereza Dipulooma mu by’okudukanya emirimu ne diguli eyookubiri mubyokudukanya emirimu gya gavumenti, byonna okuva mu yunivasite e Makerere. [2]
Diguli ye eya Doctor mu byo'bufirosoofo mu nsonga z'olukale yaweebwa Yunivasite y’e Pretoria mu bukiikaddyo bwa afirika. Mu 2014, yamaliriza diguli eyookubiri mu by’obusawo mu Wolfson College, Cambridge, mu Bungereza. [2]
Obumanyirivu mu mirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Dr Kakumba emirimu gye egy’okusoma egisinga agimaze mu ssomero ly’ebyobusuubuzi, mu ttendekero ly’ebyobusuubuzi n’okuddukanya emirimu (CoBAMS), erya Yunivasite e Makerere. Mu kiseera we yalondebwa ng’omumyuka w’amyuka cansala, yali alinnye ku ddaala ly'omuyambi wa pulofeesa era Diini w’essomero lya bizinensi. [1] [3]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijjulizo
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiyungo eby’ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]- Akakiiko ka MAK Search Committee Kalangirira Prof Bazeyo, Dr. Kakumba Abawanguzi b'empaka za DVC Okuva nga 15 ogw'ekkuminoogumu mu 2018.
- 1 2 Nakayiwa, Brenda (16 November 2018). "Makerere University gets new deputy chancellors". Retrieved 24 November 2018.
- 1 2 MJAP (2018). "Meet the Board: Makerere Joint Aids Program: Dr Umar Kakumba, Board Member". Makerere Joint Aids Program (MJAP). Archived from the original on 25 November 2018. Retrieved 24 November 2018.
- ↑ Ishimwe, Tricia (15 November 2018). "Prof Bazeyo, Dr Umar Kakumba Appointed Makerere Deputy Vice Chancellors". The Tower Post. Retrieved 24 November 2018.