Upper Mulago Regiona; Referral Hospital
Eddwaliro lya Upper Mulago Regional Referral Hospital erimanyiddwa nga Old Mulago Regional Referral Hospital eddwaliro ekulu mu Uganda . [1] Bwe lyandikibwawo, lyasuubirwa okukola ng’eddwaliro ly’ekitundu eri abantu mu Kampala yenna, nga muno mulimu ekibuga ekikulu Kampala (2014 omuwendo gw’abantu: 1,507,080) [2] ne Disitulikiti y’e Wakiso egyetooloddewo (2014 pop: 1,997,418). [3]
Ekifo
[kyusa | kolera mu edit source]Eddwaaliro lya Mulago oba Mulago omukadde lisangibwa ku kasozi Mulago, amangu ddala mu bukiikakkono n’obuvanjuba bw’eddwaliro lya Mulago National Referral Hospital eryaakalongosebwa, kilomiita 5 (3 mi) mu bukiikakkono bw’ekitundu ky’ebyobusuubuzi wakati mu Kampala. [4] Ensengeka za Mulago ogw'engulu ziri 0°20'27.0"N, 32°34'33.0"E (Latitude:0.340835; Longitude:32.575823). [5]
Okutwalira awamu
[kyusa | kolera mu edit source]Eddwaaliro lya Mulago omukadde lyatandikibwawo mu 1913. Eddwaliro lya Mulago omupya oba Mulago owoowansi yatandikibwawo mu 1962. Gombi awamu gakola "Mulago owawaamu" nga kuliko ebitanda 1,790 ebikola ng'eddwaliro ly'eggwanga eriweebwa abantu n'eddwaliro ewasomerwa abayizi ba Makerere gamba Makerere University College of Health Sciences . [6] Mulago owa wansi ali mu kulongoosebwa n’okuddaabirizibwa okusobola okufuuka ekitongole ekyamaanyi mu kujanjaba n’okusomesa. [7] Ekitegekeddwa kwe kulongoosa Mulago owa wansi okufuuka ekifo eky’ebitanda 900, omuli n’eddwaliro ly’abakyala n’abaana abazaalibwa mu Mulago ery’ebitanda 400 . Olwo Mulago owoowaggulu egenda kufuulibwa eddwaaliro ly’ebitanda 600, eddwaliro lye kitundu mu kibuga Kampala, kubanga temuli eddwaaliro lya kika ekyo. [1]
Omuwendo gw’abantu oguluubirirwa
[kyusa | kolera mu edit source]Eddwaaliro lino ligendereddwa okukola ng'eddwaliro ly'ekitundu eriweebwa abantu mu Kampala owaawamu, ng'ekimu ku bigenda okukolebwa mu ddwaliro lino "kwe kutumbula eby'obulamu mu kubuga Kampala", enteekateeka eno evvujirirwa African Development Bank . [8]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Ainebyoona, Emmanuel (1 July 2016). "Mulago split to create Kampala referral". Retrieved 2 July 2016.
- ↑ UBOS (27 August 2014). "The Population of The Regions of the Republic of Uganda And All Cities And Towns of More Than 15,000 Inhabitants". Citypopulation.de Quoting Uganda Bureau of Statistics (UBOS). Retrieved 2 July 2016.
- ↑ UBOS (27 August 2014). "Population of Wakiso District As of 27 August 2014". Citypopulation.de Quoting Uganda Bureau of Statistics (UBOS). Retrieved 2 July 2016.
- ↑ Globefeed.com (2 July 2016). "Distance between Post Office Building, Kampala Road, Kampala, Central Region, Uganda and Mulago Hospital Assessment Center, Kampala, Central Region, Uganda". Globefeed.com. Retrieved 2 July 2016.
- ↑ Template:Google maps
- ↑ Obore, Chris (20 January 2013). "Time bomb: The inside story of Mulago hospital's troubles". Archived from the original on 11 April 2020. Retrieved 2 June 2016.
- ↑ Ayebazibwe, Agatha (11 October 2014). "Mulago Hospital renovation starts". Retrieved 2 July 2016.
- ↑ AfDB (January 2009). "Improvement of Health Services At Mulago National Referral Hospital And The City Of Kampala" (PDF). African Development Bank (AfDB). Retrieved 2 June 2016.