Jump to content

Urban Tibamanya

Bisangiddwa ku Wikipedia
Minisita w’Eggwanga Omubeezi Ow’enkulaakulana y’Ebibuga mu Uganda Mw.Urban Tibamanya ng’ali ne Minisita w’Eggwanga Omubeezi Ow’eggaali Z’omukka, Shri KH Muniyappa, mu kibuga New Delhi mu Gwomusanvu 15, 2009

  Urban Tibamanya Munnamateeka era munnabyabufuzi Omunnayuganda. Yaliko Minisita Omubeezi Ow’eggwanga Ow’enkulaakulana y’Ebibuga mu kabineti ya Uganda okuva mu 2006 okutuusa mu 2011. [1] Wadde ng'enkyukakyuka mu kabineti ya 2009 teyakosa kifo kye mu kabineti, [2] enkyukakyuka mu kabineti eyakolebwa nga 27 Ogwokutaano 2011 yamuleetera okugibwaawo, nebamusikiza Justine Lumumba Kasule. [3] Era yaweereza nga omubaka wa Palamenti eyalondebwa owa Kashari County mu Disitulikiti y'e Mbarara, okuva mu 2006 okutuuka mu 2011. Mu kiseera ky'okulonda kw'eggwanga okwa 2011, yawangulwa Wilberforce Rutashokwa Yaguma mu kamyuufu k'ebibiina ky'eby'obufuzi National Resistance Movement (NRM). Oluvannyuma yeesimbawo nga talina kibiina kyeyali agiddemu,wabula era n'awangulwa Yaguma, akyali omubaka eyaddamu n'alondebwa ku ky'Omubaka wa konsitituweensi eyo. [4]

Ebimukwatako n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Mbarara nga 9 Ogwomwenda mu 1949. Diguli gy'alina mu Mateeka n'ey'Okubiri mu Mateeka yazigya ku Makerere University, yunivasite esinga obukadde mu Uganda. Alina ne Dipuloma mu by'Okwenyigira mu Mateeka okuva mutendekero Erikulakulanya Amateeka, nga lisinganibwa mu Kampala.

Obumanyirivu mu mirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebimukwatako mu by’emirimu nga Tibamanya biwanvu era byawukana okuviira ddala mu 1976 bwe yakola nga Saabawaabi wa Gavumenti mu Minisitule y’Eby'amateeka mu Kampala, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1982. Mu kiseera ekyo, era yaweerezaako nga Omuwandiisi Adukanya Emirimu ku Kakiiko Akeebuzibwaako ku nsonga za Makerere University,gyeyawereza okuva mu 1976 okutuuka mu 1978.

Okuva mu 1982 okutuuka mu 1984, yakola nga Munamateeka Ow'okuntiko mu kampuni ya bannamateeka e Nairobi emannyikiddwa nga Kamere & Kamere Advocates. Oluvannyuma yagenda e London neyeenyigira by’obusuubuzi by’obwannannyini mutendera gw'ensi yonna okuva mu 1985 okutuuka mu 1986. Yakola nga eyali akulira kampuni ya Stem Limited, okuva mu 1986 okutuuka mu 1988. Mu 1988, yaddayo mu Uganda n’atandika kampuni eyiye eyeenyigira mu by'amateeka, eyali emannyikiddwa nga Tibamanya Urban Advocates n'awereza nga munywaanyi waayo eyali agikulira okuva mu 1988 okutuuka mu 2006.

Okuva mu 1993 okutuuka mu 1995, yaweereza ng’Omubaka w’essaza ly’e Kashari, mu Disitulikiti y’e Mbarara, mu Lukiiko olulambika Semateeka olwakola Semateeka wa Uganda mu 1995. Okuva mu 1998 okutuuka mu 1999, yawerezaako nga Kaminsona ku kakiiko Akeebuzibwaako kunsonga z'Enguzi mu Poliisi ya Uganda. Okuva mu 2003, abadde awereza nga ssentebe w’Olukiiko Olufuzi olw’essomero lya St. Andrews Senior Secondary School e Rubindi mu Kashari County mu Disitulikiti y'e Mbarara. Yalondebwa ku kifo kye ekyasembayo mu kabineti nga 1 Ogwomukaaga 2006. [1]

Ebikwata ng'omuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Tibamanya mufumbo ng'era alina abaana bana ab’obuwala. Ono wa kibiina kya byabufuzi ekya NRM. Ebintu by’asinga okwagala mulimu okusoma, okuwandiika, okutambula n’okuwuga mu nnyanja gagadde.

Ebijiliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 Mukasa, Henry (2 June 2006). "Cabinet Ministries Allocated". Archived from the original on 11 December 2014. Retrieved 9 March 2015. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Allocate" defined multiple times with different content
  2. "Full Cabinet List As At 18 February 2009". 18 February 2009. Archived from the original on 13 February 2015. Retrieved 9 March 2015.
  3. "Comprehensive List of New Cabinet Appointments & Dropped Ministers". 27 May 2011. Retrieved 9 March 2015 via Facebook.
  4. Asiimwe, Ntegye (5 December 2010). "Tibamanya, Must You Be An MP To Serve Uganda?". Retrieved 9 March 2015.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]