User:Buyondo Musoke/sandbox

Bisangiddwa ku Wikipedia

ABANGE TUSUBWA[kyusa | edit source]

Ggwe abadde yeebuuza nti oganyulwa ki mu kukuguka mu lulimi Oluganda baaba, seetula akaliba ndyoke nkuttottolere enkuyanja y'emigaso egiri mu kukenkuka mu lulimi luno. ye lwaki simenya bumenya nsonga zino, anti bwe nnadda mu kunnyonnyola tuyinza okusulawo. ka nkumenyere egimu ku migaso gino: - Oyiga okuwuliziganya era n'okukwatagana obulungi ne banno naddala abamanyi Oluganda. - Wattu osobola okyiga okuweereza ku laadiyo ne TV! - Waalifuuuka omusomesa w'olulimi luno nga nze, naawe n'ofuna ensibuko y'omukemba ogukweyagaza. - Osobola okufuuka omuwandiisi kayingo, n'ebiwandiiko byo ne bikuyiggra ejjamba ate nga bw'okulaakulanya ensi yo. - Osobola okufuuka eyeebuuzibwakomu nsonga z'ekikugu mu lulimi luno; nakyo ssebo kivaamu ensimbi. - Okenkuka mu kusunsula ebiwandiiko ebitongole nakyo ne kyongera ku nsibuka y'musiraamu Bumaali!!!! - Ensi nga eyagala aboogezi abalungi ku mikolo!!!! Ggwe nno linda ebide, ennusu zinaakuyita mu myagaanya gy'engalo. -Oyiga okuwandiika n'okutegka ebirango mu by'amaguzi mu lulimi luli ssendabaguzi, anti oba mukugu. - Wali owuliddeko nti abakugu mu Luganda banna katemba balungi?? Ggwe tobeegomba??? Kati nno va mu kulonzalonza, dduka oyige Oluganda. - Ebisaawe bingi ebikyajja mu tekinologiya nga byetaaga abakugu mu lulimiOluganda: anti ne bino by'osoma byekuusa ku ekyo kye njogerako. Ate waaliyise wa okufuna obubaka bwange buno? Kale yanguwa ofune obukugu mu lulimi luno. Hhhaaaa.... Obudde bundiiridde ow'Ejjokolera Mpinga. Wabula nnyamba ogaggawaze ekiwandiiko kino n'ensonga endala ze ndeseeeyo kuba zikirako ku bugulu bw'eggongolo mu bungi!