Jump to content

User:Ggodfrey male busuulwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Amannya gange nze Godfrey Male Busuulwa nneddira Kkobe akabbiro kaama ndi musajja muganda era nnasomako ekimala. Nnagenda e Makeerere ku yunivaasite ne mpangulayo ddiguli esooka wamu ne dipulooma mu busomesa ate ne ddipulooma mu mawulire. Nnasomesa mu msomero ageenjawulo nga nnasomesa abayizi abatali bamu. nnasoma ebbaluwa ya masters mu lulimi oluganda bwentyo. njagadde nnyo omukutu guno era gunnyanjuliddwa abakyala babiri abeeggwanga lya Sweeden nga be ba Caroline Gunnarsson ne Paulina Bäckström. Bansanze mu woofiisi yange wano ku bulange e Mmengo anti kabaka yampa pmulimu nze nkulira ekitongole ky'amawulire ga laadiyo ye eya CBS. Omukutu guno gujja kunnyamba nnyo mu kusoma olulimi olulimi oluganda nga tukubaganya ebirowoozo ne bannange abatali bamu okuva mu mawanga agatali gamu nga tuluubirira okukuza olulimi oluganda, Abali mu kunoonyereza bagamba nti mu Africa ennini ennansi eziwerera ddala 250 ze zifa buli mwaka oba ze zisaanawo buli mwak kati nno ekissera kituuse abantu baffe buli alina olulimi oluzaaliranwa afube nnyo okulukuuma luleme kusanaawo. Abategeera olulili oluganda tuyamabagane nga tuyita ku mukutu guno tukuume olulimi oluganda. Nja kusanyuka nnyo nga nfunye abantu abaagala okukuuma olulimi. mpandiikira ku gomalwa@yahoo.com.

user:Ggodfreymalebusuulwa/okwabya olumbe