User:Jjumba Joseph

Bisangiddwa ku Wikipedia

Nze Jjumba Joseph nga nzaalibwa omugenzi Kelementi Kafeero agalamidde e Minyinya mu ggombolola ye Kyannamukaaka. Ndi muzzukulu wa Basajjabalaba, muzzukulu wa Luwembo, muzzukulu wa Mwasabide, muzzukulu wa Kisasa, muzzukulu wa Bakale agalamidde e Minyinya Kyannamukaaka.

Ndi musajja mulimi, mulunzi, ndi mukomazi mu mbeera yaffe ey'obuwangwa era nettanira nnyo okwongera omutindo ku bintu byaffe bye tulima n'addala ku mmwanyi.