User:Kabareebe Julius
==EMILIMU EGIKOLEBWA MU KYEGEGWA DISITULIKITI==
Kyegegwa Disitulikiti esangibwa mu bungwanjuba bwa Uganda kulugudo lwa Kampala Fortportal. Kyegegwa disitulikiti yasalibwa ku Kyenjojo disitulikiti mu mwaka gwa 2009.Bagituuma Kyegegwa disitulikiti okusinzila ku kibuga kyayo Kyegegwa.
Emilimo egisinga okukolebwa eKyegegwa:
[kyusa | kolera mu edit source]- Okulunda ente,embuzi,endiga,embizzi no obumyu.
- Okulunda ebinyonyi nga enkoko,embaatta,ssekokko.
- Okulima ebilime nga ebijanjaalo,kassooli,amatooke,muwogo,lumonde,obullo nebinyebwa.
- Okusubula ebiilime nebisolo.
- Nobusubuzi bwe byamaduuka.
Enyingiza ya kyegegwa esinga eva mubutale naddala akatale ke lwensasi. Akatale ka Lwensasi kasangibwa mu gombolola ya Ruyonza 12km okuva Kyegegwa.
Akatale kanno katandikibwawo omwami Katuramu George William nga kadukanyizibwa ekibiina kyabalimi [Mpara Farmers Association]mumwaka gwa 1998. Akatale kano katandika oluvanyuma lwakatale akaliwo Nyarubabo okugalwa lwa kilwadde kya kalusu. Ebintu ebitundibwa mukatale ka Lwensasi:
- Ebisolo nga ente,embuzi,endiga.
- Ebinyonyi nga enkoko, embata,ssekokko.
- Ebilime.
- Engoye
- Ebintu bye eduuka.
Akatale Lwensasi kakola lunaku Lwakunna buli wiiki.
8
8
8
]