User:Mbazzivillage/endowooza y'omuntu

Bisangiddwa ku Wikipedia

Mu bulamu bw'omuntu yenna, endowooza ye kintu kikulu nnyo. Omuntu abeera ekyo kyali lwa ndowooza ye mu bwongo bwe. Ebirowoozo bye bitambuza obulamu bwa buli muntu. Ekyo ekijjula mu muntu ne kimumaamira obwongo, kye kimusindika okweyisa nga bwe yeyisa. Omuntu yenna alina obuyinza ku ndowooza ye. Kikakata ku buli mutonde yenna okufuga ebyo ebiyingira mu mutwe gwe. Wabula singa tofaayo kufuga ebyo byotekako assira mu bulamu bwo, buli kasasiro yenna agenda kweyingirira mu mutwe gwo awatali amukuba ku mukono. Kino kiba kya bulabe nnyo. Anti olwo, oba tokyefuga mu ndowooza yo. Embeera eno eba ya mutawana nnyo. Kiba kirungi singa buli muntu omulamu afuba okufuga ebirowoozo bye. Enkulakulana y'omuntu omulamu esinzira ku ndowooza ye ng'omuntu.[1]


  1. Napoleon Hill, Think and Grow Rich