Jump to content

User:Nabukeera Dorothy/AK 47 Mayanja

Bisangiddwa ku Wikipedia

  AK 47, Akay 47, Ak Fortyseven, AkayFourtyseven erinnya ly'obuzaale Emmanuel Mayanja (October 29, 1990 March 16, 2015) yali muyimbi wa Uganda mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Dancehall Dancehall] ne [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Kidandali Kidandali], [1] yasituka n'ettutumu mu 2012 n'oluyimba lwe "Champion". Kigambibwa nti y’omu ku bayimbi abasinga okuyimba mu dancehall Uganda beyali ebadde nabo. Yafa 16 March 2015 munfa etategerekeka. [2]

Ak 47 yazaalibwa Gerald Mayanja, enzaalwa y’e Busato Mityana kyokka ng’abeera Seguku Kampala, yali muganda wa bayimbi ba Uganda abatutumufu Chameleone, Pallaso ne Weasel aba Goodlyfe Crew.[3]

Ebyenjigiriza Ensibuko

[kyusa | kolera mu edit source]

AK yasomera Kisubi high school gye yamalira siniya

AK47 yatandika okuyimba mu 2008, mu kiseera ekyo erinnya lye erya siteegi lyali Hammatone. Oluyimba lwe olwasooka ddala lwakolebwa ku Studio One era vidiyo yakolebwa munnayuganda omututunufu DJ Erycom. Yatandika okuyimbira mu kibiina kya Leone Island ekiddukanyizibwa muganda we Chameleone n'oluyimba lwe olwasooka Usiende mu 2008 [4] wabula oluyimba luno terwafuna mpewo emala ku leediyo ne TV za Uganda, yamanyikwa mu 2011 bwe yaddamu oluyimba lwa Bayuda ne muganda we Jose Chameleone . [5] Kino kyamuwa obututunufu n’abawagizi bangi mu Uganda. Okuva olwo y’agenda mu maaso n’ennyimba endala ennungi nga Mbeera ya nsi ne Champion ezaakulembedde mu mboozi z’ennyimba za Uganda okumala ebbanga eddene, Kidandali, Kaleba ne muganda we Chameleone, Musajja watu ne King Saha n’endala nnyingi. Mu 2014 yeegatta ku kibiina kya Team No Sleep ekiddukanyizibwa era nga kyannannyini Jeff Kiwa. Mu 2012, AK 47 yawasa mukyala we Maggie Mayanja ne bazaala abaana babiri (abalongo). [6]

Byonna wamu nga eby'okuwandiika, okuyimba, okufulumya ennyimba

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Usiende
  • Bayunda Remix omuyimbi. Chameleone
  • Nnantameggwa
  • Kidandali
  • Mbara ya nsi
  • Mussajja watu ne Ssekabaka Saha
  • Ndi Mulokole

? AK 47

AK47 yali yakafulumya oluyimba lwe olupya ddala Ndi Mulokole, Nga 16 March, olunaku lwe olwasembayo, yagenda mu maaso n'ateeka ku mukutu gwe ogwa Facebook ng'agamba nti "Nze Ndi Mulokole Nafuuka Mulokole AK Mulokole Naawe Fuuka Mulokole In God we trust" (nalokoka, nenunulwa, AK mulokole, naawe fuuka mulokole tukirize Mu Katonda) [7] Teyamanya nti kyekyali ekiwandiiko kye ekisembayo eri abantu. Ku ssaawa nga bbiri ezekiro, AK 47 yagenda mu bbaala ya maneja we Jeff Kiwa, eyitibwa Denjavu esangibwa mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Kabalagala Kampala], gye yatandikira okunywamu ne mikwano gye. Ku ssaawa nga nya ezekiro, AK 47 yasangibbwa ng’agalamidde wansi mu binaabiro ng’avaamu omusaayi mu nnyindo ate ng’alina ekyoovu mu kamwa. Kyagambibwa nti yazirika. Yatwalibbwa mu kalwaliro akaali okumpi okufuna obujjanjabi obusookerwako naye nebalemererwa okukola ku mbeera enzibu era ne bamusindika mu ddwaaliro eddene. Baatuuka [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Nsambya_Hospital mu ddwaaliro e Nsambya] era abasawo ne basanga nga tekisoboka kuwonya buzibu bwe. Yalangiribbwa nti afudde nga wayise eddakiika ttaano ng’abakatuuka mu ddwaaliro.

Baakubira baganda be Chameleone ne Pallaso abaatuuka mu bwangu. Bategeeza bannamawulire era ku ssaawa nga taano ezekiro amawulire gaali gatandise okutambula ku mikutu gya yintaneeti gyonna. Abasawo baategekka omulambo gwe ne bagutwala mu ggwanika.

Emboozi ez’enjawulo zaava mu bajulizi abaali beetoolodde ebbaala ya Dejavu ekiro ekyo. Okusinziira ku muwala omu, AK 47 yafuna obutakkaanya ne maneja we Jeff Kiwa obwava ku laptop: AK 47 yali ayagala okuzanya oluyimba lwe olupya Ndi Mulokole (I am saved), ekintu Jeff Kiwa kye yali tayagala, ng'awoza nti laptop yali terina bbaatule . Oluvannyuma lw’okuwanyisiganya ebigambo ebimu, AK 47 yagenda mu kinaabiro; Kanyama yalabibwa ng’agoberera AK 47 paka mu kinaabiro. Oluvannyuma lw’eddakiika ntono bouncer w’ebbaala yalabibbwa ng’ava mu kinaabiro era bwe batasobola kulaba AK 47 ng’afuluma, ne baasalawo okukebera kwekukebera era nebamusanga ng’agalamidde wansi ng’azirise; balowooza nti yakubibwa era n’attibwa kanyama.

Abalala baagamba nti AK 47 yava mu bbaala n’afuluma ebweru okulinnya emmotoka ye agende eweka. Kyokka yalabibbwaako n'omusaayi mu nnyindo kye balowooza nti yali akubidwa kanyama emabegako; oluvannyuma n’agenda mu kinaabiro okweyonja omusaayi. Era Kanyama n’addamu okumugoberera eyo era oluvannyuma nafulumayo mu kinaabiro, bwe baakebera mu kinaabiro oluvannyuma lw’eddakiika eziwera, baasanga AK 47 ng’egalamidde ku kinaabiro nga awedumu amaanyi. Abajulizi bombi bakirizza nti oluvannyuma lw’okuyingira mu kinaabiro, yagobererwa kanyama, Kale kikirizibwa nti Kanyama ye yamutta. Bangi bakiriza nti Kanyama ono yali akolera ku biragiro by’omuntu eyali waggulu we.

Emboozi Endala

Amangu ddala nga amaze okufa, amawulire agamu, gajja nga gagamba nti gwe [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Ghost muzimu] gwa Karamaji gwe gwatugga AK 47 n’afa, [8] Karamaji mulenzi eyali afudde mu 2012 era okufa kwe kwalina akakwate ku Famire ya Mayanja okuva lwe yayokebwa n’afa mu lujja lw'ennyumba ya muganda wa AK 47 wabula, ebigambo bino poliisi yabigobye okuva lwe byali tebirina nsibuko na bukakafu.

Ekibinja ekirala ekyawoza nti kyava mu Illuminati kyagamba nti kye kyavunaanyizibwa ku kutwala famire ya AK 47, okusinziira ku bo, AK 47 yali amaze ebbanga ddene nga ali mu kibinja kyaabwe era nti baali bamuyambye okufuna ettutumu n’obuganzi era nti yali abalyamu olukwe nga balangirira nti alokose, mu kiwandiiko kye ekyasembyeyo ku Facebook, kale nga balina okumubonereza. Wabula poliisi nayo egobye ebigambibwa nti egezaako okukyusa n’okukyusa okunoonyereza kwa poliisi ku kituufu ekyaviirako AK 47 okufa.

Oluvannyuma lw'okufa kwa AK 47, amawulire gasaasaana buli wamu ku mikutu gya yintaneeti. [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Facebook Facebook] ne [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Twitter Twitter] mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda Uganda] byali bijjudde obubaka bw’okukubagiza, leediyo ne TV ez’ettutumu mu Uganda ne zisalako enteekateeka zaabwe eza bulijjo okubika amawulire ag’ennaku ku muzira eyagudde. Ebikumi n’ebikumi by’abawagizi baali baatuuse dda mu kifo we yafiiridde, nga bakungubagira wamu ne baganda be Chameleone ne Pallaso n’abayimbi ab’enjawulo okuli Bebe Cool, Diamond Oscar, Sheebah Karungi n’abalala bangi. Bebe Cool yateeka obubaka obw’okusaasira ku mukutu gwe ogwa Facebook, n’addirirwa Chameleone ne Pallaso. Oluvannyuma bassereebu abalala bangi mu Uganda ne social bloggers baateeka obubaka bwabwe obw’okusaasira okwali Eddy Kenzo, Juliana Kanyomozi, Bobi Wine, Sheebah Karungi, Nobert Mao n’abalala bangi. Davido naye yateekako obubaka obw’okusaasira, bassereebu ab’enjawulo mu Kenya ne Tanzania nabo bateekako obubaka bwabwe obw’okusaasira.

Bobi Wine yali mu kutalaaga South Afrika kyokka n’asazaamu ebivvulu byonna ebyali bisigaddeyo era n’adda mu Uganda.

Okufa kwe bakw'enkanyankanya n'okufa kw'abayimbi abakulu mu Uganda nga Philly Lutaaya, Paulo Kafeero ne Elly Wamala .

Diamond Oscar ne Dj Bobby abaali bakolera mu bbaala ya Dejavu bakwatibbwa okuyambako poliisi mu kunoonyereza wabula baayimbulwa olunaku olwadako oluvannyuma lw’okukola sitetimenti eri poliisi. Jeff Kiwa ne Sheebah Karungi nabo baakola sitetimenti zaabwe eri poliisi. Kanyama w’ebbaala eno yabula era n’ayonja ebbaala ateeberezebwa okuba nga ye yalaba okufa kwa AK 47 naye yabulawo.

Chameleone yayiiya oluyimba, olw'okusiima muganda we eyaffa, lwe yatuuma "Tubasonyiwe" (Lets forgive them). Oluvannyuma ekibinja ky'abayimbi okuva mu Uganda kyayiiya oluyimba nga akasiimo eri AK 47 olwatumibbwa ''wu mula mirembe AK 47'' (Rest in Peace AK 47) mwalimu Eddy Kenzo, Young Mulo, Big Eye, Lyto Boss, Denis Bitone, Spice Diana, ne Aziz Azion . Kino kyagobererwa akasiimo okuva eri muganda we Pallaso akatumibbwa Mubambazanga.

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Howwelimited, Archive (2 July 2014). "AK 47 Biography". Howwe Limited. Retrieved 1 April 2015.
  2. Redpepper, Archive (17 March 2015). "AK 47 dead". Redpepper. Retrieved 1 April 2015.
  3. https://chimpreports.com/author/christopher (2023-03-23). "Mayanjas, Music Industry Remember AK-47". ChimpReports (in American English). Retrieved 2023-07-05. {{cite web}}: |last= has generic name (help); External link in |last= (help)
  4. MySpace, Archive (1 July 2008). "Usiende AK 47". MySpace. Retrieved 1 April 2015.
  5. Hipipo, Archive (16 April 2014). "Ak remixes Bayuda". Hipipo. Archived from the original on April 2, 2015. Retrieved 1 April 2015.
  6. "Mayanja's welcome family and friends in memorial mass for the late AK47". NTV Uganda (in Lungereza). 2023-03-23. Retrieved 2023-07-05.
  7. Facebook, Archive (16 March 2015). "Ndi Mulokole". Facebook. Retrieved 2 April 2015. {{cite web}}: |last= has generic name (help)
  8. Dailymonitor, Archive (17 March 2015). "What people talked about AK 47 death". Daily Monitor. Archived from the original on March 20, 2015. Retrieved 2 April 2015.