Jump to content

User:Solomon Suubi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Solomon Suubi musomesa Munnayuganda omukugu mu kubala ne Physics, taata, mufumbo ate nga musunsuzi wa Wikipedia. Yazaalibwa nga 14 Ogwomusanvu 1994.

Ekigendererwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ndi mmemba wa Wikimedia Community User Group Uganda ng'omusunsuzi ku Luganda Wikipedia, Wikidata, ne English Wikipedia. Njagala nnyo okuyiga nsobole okuyambako mu kukula kw’emikutu gwa Wikipedia egw’enjawulo nga amawulire naddala agakwata ku Uganda gasobola okufunibwa buli muntu mu ddembe naddala mu lulimi Oluganda.

Nkoze ne Wikipedia okuva mu 2022, nga mpita mu kampeyini ez’enjawulo naddala ku Luganda Wikipedia mu kaweefube w’okwongera ku muwendo gw’ebiwandiiko ebifunibwa mu Luganda ku Wikipedia.

Nnyumirwa nnyo okuyimba, n'okuyigiriza abalala.