User:Soodawabakyala/OBWAKABAKA
Endabika
Obwakabaka kigambo ekiraga ekitiibwa ekiweebwa omuntu akulembera abantu ab'olusse olumu naddala abasangibwa mu massekkati g'ensi Uganda. Uganda kiviira ddala mu kigambo Buganda nga kirowoozebwa nti oluvannyuma lwa Bakyeruppe okulemererwa okwatula ennukuta /B/ bbo kwekusalawo baatule Uganda naguno gujwa ly'erinnya Yuganda. Ekigambo Kabaka kyo kiva mu kikolwa ky'okubaka nga okubaka kwe kukwata ekintu ekiva waggulu n'amaanyi wamu n'obuyinza nga na bwekityo Kabaka muntu wamaanyi nnyo naddala eri abantu bonna abasaangibwa mu Buganda nga bamussaamu amaanyi n'ekitiibwa ng'era ky'ayogera tekiddibwamu.