User talk:41.84.196.234
Tandikawo emboozi endalaEMPANDIIKA Y'OLUGANDA ENTONGOLE
[kolera mu edit source]Mu lulimi oluganda tulina amateeka agagobererwa okuluwandiika okwo ssaako n'okuwa enjatula y'ebigambo entuufu
Mu lulimi oluganda tulina ennukuta z'abika bibiri ez'eyambisibwa mu kuluwandiika era ze zino wammanga:
ENNUKUTA EMPEEREZI
Ennukuta zino ziwerekera ensirifu olwo ne zituyamba okukola amakulu n'enjatula mu bigambo era ze zino wammanga
a e i o u
ENNUKUTA ENSIRIFU
Ennukuta zino ziyitibwa ensirifu olwensonga nti tezisobola kuyimirirawo zokka ne zikola makulu era ze zino wammanga:
B P V F M
D T R L N
W Y C H ...
Z S J G K NY
OKUWANGAALA MU LULIMI OLUGANDA
Mu lulimi oluganda singa ekigambo kibeeramu embeeramu ey'okuwangaala olwo nno tuwandiika empeerezi bbiri ku nnyingo eyo
Eby'okulabirako
1. Omugaati......................gaa
2. Empandiika....................ndii
3. Emboozi.......................mboo
OKUGGUMIRA MU LULIMI OLUGANDA
Mu lulimi oluganda ennyingo bwe baamu embeera ey'okuggumira tuwandiika ensirifu bbiri
Eby'okulabirako;
Eddoboozi.......................ddo
Eggaali........................ggaa
Emmere.......................mme
Eggwaatiro..................ggwaa
Olupapula olw'emboozi luno lukoledwawo at'eyanjula atakolera mu akawunti ya ku wiki eno.
Kino kitwetaagisizza okumwawulira ku ndagiriro ya IP kwe yayimidde.
Abantu bangi basobola okukozesa endagiriro eya IP y'emu.
Bw'obanga naawe okola ng'at'eyanjudde nga owulira nti ebimu ku birowozo ebikwolekezedwa wano
tebiggirawo oba tebikwatagana naawe, funa akawunti oba yingira baleme okukutabula n'abalala abakola ng'abat'eyanjudde.