User talk:ANAKYAGA

Page contents not supported in other languages.
Bisangiddwa ku Wikipedia

Ennyanjula[edit source]

Ttiimu eyabbulwa mu kitongole ekiddukkanya ekibuga kya Uganda ekikulu Kampala, ng'erinnya lyayo lifunzibwa nga "KCCA FC", ttiimu ya mupiira eya Uganda esangibwa mu Kampala ekibuga ekisinga obunene era kye kibuga ekikulu ekya Uganda. Ekitongole ekiddukanya Kampala kyasooka okuyitibwa " Kampala City Council" oluvannyuma ekyakyusibwa okufuuka "Kampala Capital City Authority" era n'erinnya lya ttiimu eyo ligenze likyuka okusinziira ku nkyukakyuka eno.Emikutu mingi n'empapula z'amawulire bikyakozesa erinnya lya ttiimu eno ekkadde erya "Kampala City Council Football Club" erifunzibwa nga "KCC"

Ebyafaayo[edit source]

Ttiimu eno yatandikibwawo omugenzi Samuel Wamala mu mwaka gwa 1963 nga yeeyali akulira ettabi ly’ekitongole erikola ku kazambi mu kitundu kyaba yinginiya mu kitongole kya "Kampala City Council" Ttiimu eno okusooka yali esingamu bakozi abakola mu kitundu ekya kazambi naye oluvannyuma kyagaziyizibwa ne kiyingizibwamu n'amatabi amalala mu kitongole kya "KCC"

Mu mwaka gwa 1965 ttiimu eno yayingira liigi eyali eyitibwa "Kampala and Ditrict Football (KDF) mu kibinja eky'okusatu ng'ekibinja kino kyali kigabanyiziddwamu ebiwayi bibiri, wansi w’ebiragiro by'omutendesi Bidandi ssali wamu ne ssentebe Samuel Wamala era nga kino kyaleetera ttiimu eno okugenda mu maaso.Oluvannyuma lw'okumalira mu kifo eky'omukaaga mu lwetabamu olwasooka, mu mwaka gwa 1966 baasuumusibwa okuva mu kibinja eky'okusatu eky'amaserengeta oluvannyuma lw'okumalira mu kifo eky'okubiri.