User talk:NAMBATYA

Page contents not supported in other languages.
Bisangiddwa ku Wikipedia

[[Uganda erina emiddo ejijjanjaba endwadde eziwerako naye okusoomozebwa kwetusanze ffe nga ba na Uganda kweekubeera n'amateeka agakontana mu bitongole ebyenjawulo. Etteeka eriyamba obutasaanyaawo butonde bwansi ojja kusanga nga teririna bukuumi bw'abibira nentobazzi mungeri ematiza n'olweekyo abantu nebatema miti n'okusaanyaawo obutonde mungeri eyakyeeyoneenere. Obutabaawo bw'amateeka gamatiza kutumbula kun'onyereza mu butonde bwansi okufunamu ebikulu ebiyinza okulunqamya embeera z'obulamu bwaffe kituzzizza nnyo emabega anti abagwiira abajja kuno okukola emirimu egyenjawulo ffe abamu tubasanga nga bali mukulambula middo gyaffe bweebatya n'ebatunyaga nga tewali akifuddeko era olw'okubulwaawo etteeka erirambika obujjanjabi obwe'ekinnansi. Omugwiira bw'avumbula ky'avumbudde nga'komawo na briefcase kulamuziganya naffe ssente z'etunaagulirako eddagala ate lyeyajja kuno okwaffe.

Abantu baffe bafiira mubulumi olw'obutamanya ntetenkany y'abutonde bwaffe etusobozesa okwejjanjaba nga tufuula emmere eddagala lyaffe. Supermarkets ate zongedde kutubbika nga zijjuza mu madaala eby'okulya ebikaziddwa nga ate bijjudde sukaali ne langi engingirire. Osanga nga akafo akateekedwaamu ebiramu ebiva mu nimiro nga kakusike era bwooba tofuddeeyo tokalaba nakukalaba. Ffe no abali m kisaawe ky'okunoonyereza enkizo tugitadde kukusomesa ba nnansi bwe'batyo basobole okukola okulondawo ku biki byebaba bakozesa nga bayita mukusooka okusiima egeri obutonde gyebuyinza okutwaala embeera zaffe ez'obulamu ku ntikko. Olwo bweban'atandika okwettanira endya ennungi eva munkozesa y'obutonde olwo n'akatale k'bintu ebiramu kajja kutumbuka]]