User talk:Nzewasajja

Page contents not supported in other languages.
Bisangiddwa ku Wikipedia

Olulyo Lw'Abalangirizi[edit source]

Olulyo Olulangira olumanyiddwa mu Buganda lunonoozebwa mu luse lwa Kabaka Kintu. Wabula ensibuko y'olulyo ennambulukufu etandikira ku Ssekabaka Kimera. Bassekabaka bangi bazze bafuga obugand era n'ebika bingi nebyegata ku Buganda nebufuuka Obwakabaka obwamaanyi mu kitundu ky'obuvanjuba bwa Afrika.

Ku mirembe egy'enjawulo, wazze wabeerawo abantu abazaalibwa n'obubonero wamu n'amaanyi ag'enjawulo ng'abayambako ku bakulembeze okutuukiriza obuvunanyizibwa bwaabwe. Abamu  ku bano baabeerangawo ne bamanyibwa kukoma mu bika byabwe wabula  abalala bafuuka nga baatiikirivu mu bwakabaka bwonna olw'obuweereza bwabwe obw'ebyewuunyo. Abamu ku basiinga okumanyibwa mwemuli; Kibuuka Kyobe,  Kawumpuli, Mukasa nabalala.

Abalangirizi bano baazalibwanga mu nju ez'zabolulyo Olulangira era nga abasinga okumanyika baava mu nju ya Bukulu eyajja ne Kabaka Kintu mu ntandikwa y'okuzimba obwakabaka. Enju ya Bukulu yaaweebwa obuvunaanyizibwa okuwaniriral obukulembeze bw'abuganda naddala mu biseera ebyakazigizigi. Era kino kyalabibwako mu mirembe egy'enjawulo naddala mu ntalo za Buganda ne Bunyolo. Abalangirizi bano baafunanga amaanyi n'obuyinza okuva mu ba Lubaale abakulu aba Buganda okuli; Kiwanuka, Musoke,Musisi, Nabamba,ne Mukasa.