User talk:Soodawabakyala
Tandikawo emboozi endalaOBUNTU BULAMU!!
[kolera mu edit source]Abaffe; twebuuze nti obuntu bulamu kye ki? Obuntu bulamu kkiriza oba gaana y'embeera n'enneeyisa okkaanyizibwako abantu abooluse olumu era nga ekuweesa ekitiibwa n'okukkirizibwa okubeera mu bantu abo!! Embeera ey'engeri eno ebeera mu bikolwa byaffe n'enneeyisa.
Nnazzikuno nga bajjajjaffe buli kikolebwa bakikolera wamu mu ngeri emu oba endala ojja kukkaanya nange nti oba olyawo n'enjogera egamba nti Abataka abaagalana be balima akambugu kwesibuka songa n'egamba nti omulirwano gwokya bbiri nga mwagalana byoleka obukulu bw'okukolagana n'amakulu g'okunyweza obumu n'obukolaganyi!!
Omwana olwatonyanga ku nsi bwati nga guba mulimu gwa buli muntu okulaba ng'omwana oyo akulira mu kkubo eggolokofu!!Wano tetuteekeddwa kwerabira nti engunjula y'omwana liringa ddiba lya mbogo terizingwa omu!! Bajjajjaffe baabudaabudanga bantu bannaabwe mu mbeera eya buli ngeri: mu ssanyu n'ennaku!! Mu mbeera ey'ennaku baabudaabudanga abo abaabanga baviiriddwako munnaabwe nga akkiridde ewa Ssenkaaba eyo ku lukuusi e Kalannamo etagenda badda!! Wano baabalabanga mu lubuto nga babawa akokuzza eri omumwa;
Oli otya?
[kolera mu edit source]Hello. :-) I'm happy to see you here on the Luganda Wikipedia. If you have any questions, feel free to ask me on my talk page. I was wondering if you were going to write some articles here. The Ganda Wikipedia really needs some help, as it has very few articles. Thank you. PiRSquared17 (talk) 04:43, 4 Gwakubiri 2014 (UTC)