Jump to content

Veronica Sentongo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Veronica Sentongo (yazaalibwa mu 1993), yinginiya w'ebyempuliziganya n'amasanyannyale enzalwa ya Uganda. Yatandika omulimu gwe mu January wa 2021. Nga tanneegatta ku DFCU Bank, yali akulira ekitongole kya Digital Innovation mu kkampuni ya ICEA Lion Insurance e Nairobi, Kenya.[1]

Obulamu obw'obutu n'ebyanjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

Veronica yazzalibwa abazadde abannayuganda mu Mbebane, Eswatini, mu myaka gya 1990. Yasomera ku Mount Saint Mary's College Namagunga gye yasomera A-Level. Alina ddiguli mu by'amasannyalaze okuva mu yunivasite y'e Cape Town. Ddiguli ye ey'okubiri mu tekinologiya w'amasannyalaze, n'obukugu mu by'empuliziganya okuva ku yunivasite yemu. Yasomera ddiguli ye ey'okubiri ku sikaala eyamuwebwa ekitongole kya Council fo Scientific and Industrial Research (SCIR), ekisangibwa mu Pretoria, South Africa.[1][2]

yatendekebwa mu bw'obukulembeze mu matendekero ag'enjawulo okumala emyaka. " Mukugu omudendekeke mu technical project". era mukugu eyakkirizibwa mu bya Microfinance, Financial inclusion and Digital money.[3][4]

Omulimu gwa Veronica gutandikirila ddala okuva mu 2004. Omulimu gwe ogwasooka gwali gwabutendesi mu Multi-Konsults Engineering Consultancy, mu Kampala, Uganda. Oluvannyuma yeegatta ku MTN Uganda gye yakola mu kitongole kya Network Switch Planning Unit. Mu ngeri y'emu, yakolako ng'akulira ebyenfuna bya Digiital Banking Stanbic Bank Uganda Limited.[3] Era yakolako mu bifo eby'enjawulo mu bitongole by'ebyenfuna mu South Africa, mu kiseera ky'oluvannyuma lw'okusoma.[2]

Ebirala ebirowoozebwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu kifo kye ekya Chief Change & Innovation officer, Veronica Sentogo mmemba ku bakulira aka kakiiko bbanka ya DFCU.[2][4]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 https://www.pmldaily.com/business/2021/01/dfcu-bank-appoints-veronica-sentongo-as-chief-change-innovation-officer.html
  2. 1 2 3 https://chimpreports.com/challenge-establishments-that-discourage-you-dfcus-veronica-sentongo/
  3. 1 2 https://kampalapost.com/content/dfcu-bank-appoints-veronica-sentongo-chief-change-innovation-officer
  4. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2022-02-10. Retrieved 2025-04-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)