Jump to content

Vice President of Uganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Omumyuka wa pulezidenti wa Uganda y'akwata ekifo ekyokubiri eky'enkizo mu gavumenti ya Uganda. Omumyuka wa pulezidenti alondebwa pulezidenti.

Abamyuka ba pulezidenti ba Uganda

[kyusa | kolera mu edit source]

[1]

Erinnya Okutongozebwa Yava mu ofiisi Omukulu w'eggwanga Ebitonotono
William Wilberforce Kadhumbula Nadiope III Ogwekkumi 1963 Ogwokuna 1966 Edward Mutesa Yaggyibwa mu ntebe mu kiseera ky’akatyabaga ka Mengo Crisis
John Babiiha Ogwokuna 1966 Ogwokutaano 1971 Milton Obote Yaggyibwa mu ntebe mu kuwamba gavumenti mu 1971
Ekifo kyali kikalu Ogwoluberyeberye 1971 Ogwoluberyeberye 1977
Mustafa Adrisi Ogwoluberyeberye 1977 Kibuusibwabusibwa; Ogwokuna 1978 Idi Amin Adrisi mu butuufu yaggyibwako obuyinza Pulezidenti Idi Amin mu Gwokuna 1978, kyokka n’agaana okukkiriza okugobwa kwe ku bumyuka bwa Pulezidenti. Yasigala mu Uganda okutuusa mu makkati ga 1979, nga talina kifo kyokka ng’akyagamba nti ye mumyuka wa Pulezidenti.[2] Amin bwe yawambibwa mu lutalo lwa Uganda ne Tanzania, Adrisi yaddukira mu buwanganguse gye yasigala nga yeefuula ng'omumyuka wa Pulezidenti.[3]
Kibuusibwabusibwa; Mustafa Adrisi agamba ye yakirimu Ogwekkuminoogumu 1978 Ogwekkumineebiri 1980
Paulo Muwanga Ogwekkumineebiri 1980 Ogwomusanvu 1985 Milton Obote Yaggyibwa mu ntebe mu kuwamba gavumenti mu 1985
Kifo kikalu Ogwomusanvu 1985 Ogwoluberyeberye 22, 1991
Samson Kisekka Ogwoluberyeberye 22, 1991 Ogwekkuminoogumu1994 Yoweri Museveni
Specioza Kazibwe Ogwekkuminoogumu 18, 1994 Ogwokutaano 21, 2003 Omukyala eyasooka mu Africa okubeera mu kifo ky’omumyuka wa pulezidenti w’eggwanga eryetongodde.
Gilbert Bukenya Ogwokutaano 23, 2003 Ogwokutaano 23, 2011
Edward Ssekandi Ogwokutaano 24, 2011 Ogwomukaaga 21, 2021
Jessica Alupo Ogwomukaaga 21, 2021 mpaka kati Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda omukyala owookubiri.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Mwakikagile, Godfrey (1 February 2013). Uganda: A Nation in Transition : Post-colonial Analysis. New Africa Press. ISBN 9789987160358. Retrieved 21 September 2017 – via Google Books.
  2. Avirgan & Honey 1983, pp. 49–50.
  3. Reid 2017, p. 71

Ebitabo ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Avirgan, Tony; Honey, Martha (1983). War in Uganda: The Legacy of Idi Amin. Dar es Salaam: Tanzania Publishing House. ISBN 978-9976-1-0056-3.
  • Reid, Richard J. (2017). A History of Modern Uganda. Cambridge: Cambridge University Press. ISBN 978-1-107-06720-2.