Jump to content

Victoria Mwaka

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Victoria Mwaka munnayuganda pulofeesa w’eby’ettaka, munnabyabufuzi era omulwanirizi w’eddembe ly’abakyala ng’abeera mu disitulikiti y’e Luweero mu Uganda . [1]

Ensibuko n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa Makulubita mu Disitulikiti y'e Luweero . [1] Musomesa, pulofeesa era munnabyabufuzi . Alina diguli eyokusatu mu by'ettaka gye yafuna okuva mu yunivasite e Makerere . [1]

Omulimu gwe nga tanayingira byabufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Yatandika okusomesa mu 1969 era n’afuuka omuyambi w'omusomesa , pulofeesa omuyambi weby'ettaka n’oluvannyuma n’akulira ekitongole ky'ebyettaka mu yunivasite e Makerere emirundi ebiri okuva mu 1975. [2] Yafuuka pulofeesa we by'ettaka mu 1991 ekyamufuula omukyala we by'ettaka eyasooka okubeera ne (PhD) ddiguli eyokusatu. Yakulembera okutandikawo essomero ly’abakyala n’okunoonyereza ku kikula ky’abantu era n’alungamya enteekateeka eno okutuusa lwe yafuuka omumyuka wa Ssentebe w’olukiiko olufuzi wakati wa 1994 ne 1995. [2] Ye yali omunoonyereza omukulu mu kunoonyereza okwakolebwa mu Liberia. [3]

Omulimu gw’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Yeegatta ku byobufuzi mu 1996 bwe yavaayo ng’omuwanguzi ng’omubaka wa palamenti akiikirira abakyala mu Disitulikiti y’e Luweero era n’awummula mu butongole ebyobufuzi ebinyiikivu mu 2011 [4]

Obulamu bw’omuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Yafumbirwa Abel Mwaka eyafa mu 2016. Omulimu gwe gwatandika ng’omusomesa mu 1969 era mu 1993 yatandikawo essomero lya Victoria Model Secondary School mu Luweero Town Council okusobola okuwa omwana omuwala obuyigirize obusoboka . Ono era yasunsulwa okukulira akakiiko akaddukanya amalwaliro mu disitulikiti y’e Luweero era n’akkirizibwa olukiiko lwa disitulikiti y’e Luweero . [1] [2] [5]

  1. 1 2 3 4 Talemwa, Moses. "Female professors tell their long story". The Observer – Uganda (in British English). Archived from the original on 5 October 2023. Retrieved 30 March 2021.
  2. 1 2 3 "Prof. Victoria Mwaka to Head Luweero Hospital Management Committee :". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 30 March 2021.
  3. Liebling-Kalifani, Helen; Mwaka, Victoria; Ojiambo-Ochieng, Ruth; Were-Oguttu, Juliet; Kinyanda, Eugene; Kwekwe, Deddeh; Howard, Lindora; Danuweli, Cecilia (3 January 2013). "Women War Survivors of the 1989–2003 Conflict in Liberia: The Impact of Sexual and Gender-Based Violence". Journal of International Women's Studies. 12 (1): 1–21. ISSN 1539-8706.
  4. Galaxy (7 March 2019). "Women's Day: Here is a list of seven most powerful Ugandan women leaders who broke the gender 'fence' and became the first in their fields". Galaxy FM 100.2 (in American English). Retrieved 30 March 2021.
  5. Mwaka, Victoria Miriam (1996). "Women's Studies in Uganda". Women's Studies Quarterly. 24 (1/2): 449–464. ISSN 0732-1562.