Jump to content

Victoria Walusansa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Victoria Walusanasa-Abaliwano (amanyikiddwa nga Victoria Walisansa), munnayuganda omusawo w'obulwadde bwa kookolo, akola ng'omumyuka w'akulira ekitongole kya Uganda Cancer Institute (UCI), ekitongole ekijjanjaba wamu n'okunonyereza ku kookolo, ekisangibwa mu Kampala, Uganda era ekiweereza ensi za African Great Lakes area.[1][2][3]

Obulamu obw'obuto n'ebyenjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

Walusansa yazaalibwa mu masekkati ga Uganda mu 1972. Mu 1992 yaweebwa ekifo mu Makerere University School of Medicine, n'afuna ddiguli mu Bachelor of Medicine and Surgery (MBChB) mu 1997. Oluvnnyuma lw'emyaka ena, yakomawo ku Makerere University n'afuna ddiguli ey'okubiri eya Master of Medicine (MMed) mu Internal Medicine. Oluvannyuma, olwebanga lya myezi 14, okuva mu July wa 2007 okutuusa mu August wa 2008,yatendekebwa ng'omukugu mu kujjanjaba obulwadde bwa kookolo, ku Fred Hutchinson Cancer Research Center, mu Seattle, Washington, USA.[4]

Mu 2004, oluvannyuma lw'okufuna ddiguli eyokubiri ku Makerere, Walusansa yatandika okukola mu Uganda Cancer Institute, ng'akola wamu n'okusoma ng'ayambibwako omukulu wa Institute, Dr. Jackson Orem, eyali omukugu yekka mu kujjanjaba kookolo mu kiseera ekyo ku UCI. Orem yali yaakalondebwa ng'omukulu wa Institute era ng'alina eby'okukola bingi, n'olwekyo Walusansa yali kululwe ebiseera ebisinga.[5]

Mu 2017, yafuna omukisa okutendekebwa ng'omusawo wa kookolo kubwerere ku Fred Hutch Cancer Resaerch Center mu Washington state. Omukisa guno yagutwala, nga ayambibwako famira ye ne mukama we. Ye munnayuganda eyasooka okusoma obusawo bwa kookolo okuva ku Fred Hutch. Mu August wa 2014, bannayuganda 16 be baali batendekeddwa mu kujjanjaba kookolo.[5]

Okuva November wa 2017, Walusansa ye mmumyuka w'akulira emirimu gy'obujjanjabi ku UCI. Era yakola ng'omusomesa mu Department of Medicine, ku Makerere University College of Heath Sciences (MUCHS),[6] okutuusa lwe yawumula mu May wa 2011.[7]

Nga 25 May 2022, yalondebwa gavumenti ya Uganda ng'omusawo omuwabuzi omukulu ku ndwadde ya kookolo, ekitiibwa kyalina wa mu n'ekyokuwereza ng'omumyuka w'akulira Uganda Cancer Institute mu kiseera ky'ekimu.[8][9]

Mufumbo eri Mark Abaliwano, omusawo w'amannyo, era wamu baliina abawala basatu.[5]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. http://www.monitor.co.ug/News/National/Three-patients-die-daily-as-cancer-drugs-run-out/688334-2200772-mrcc3k/index.html
  2. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1465883/uganda-cancer-institute-benefit-us-training
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2019-02-14. Retrieved 2025-04-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://www.linkedin.com/in/victoria-walusansa-abaliwano-a48bb56/?trk=public-profile-join-page
  5. 1 2 3 https://www.fredhutch.org/en/news/center-news/2014/08/Mothers-wrenching-choice-Ugandan-doctor-seattle-oncology.html
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2017-12-01. Retrieved 2025-04-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2023-12-28. Retrieved 2025-04-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://www.newvision.co.ug/category/news/court-blocks-cancer-institute-bid-to-replace-NV_195675
  9. https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Radio_Network