Jump to content

Vincent Otti

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Vincent Otti ( c. 1946. 1946 – 2 Ogwekkumi 2007) [1] yali Munnayuganda omuyeekera eyaweereza ng'omumyuka w'omukulembeze w'eggye ly'abayeekera erya Lord's Resistance Army (LRA), eggye ly'abayeekera eryali lirwanira mu Bukiikakkono bwa Uganda n'Obukiikaddyo bwa Sudan . Yali omu ku bantu abataano kkooti y'ensi yonna (ICC) be yasookerako ddala okufulumiza ebiragiro by'okukwatibwa nga 8 Ogwomusanvu 2005 mu kunoonyereza kwe yakola mu Uganda . Olugambo lw’okufa kwe lwatandika okusaasaana mu Gwekkumi 2007 ne lunywezebwa mu Gusooka 2008. Nga 17 Ogwekkuminogumu 2023, ICC yasazaamu emisango egyali yamuggulako. [2]

Otti yazaalibwa nga mu mwaka gwa 1946 mu kitundu ky’e Atiak mu Disitulikiti y’e Gulu mu Uganda, [3] era bazadde be baafa ng’akyali muto. [4] Yali atunda mu duuka mu Kampala bwe yeegatta ku ggye lya bayeekera erya Lord's Resistance Army mu 1987. [5]

Eggye lya Lord's Resistance Army

[kyusa | kolera mu edit source]

  Vincent Otti yeegatta ku ggye lya Lord’s Resistance Army bwe lyatandikibwawo mu 1987. Yakuzibwa n’atuuka ku ddaala lya Lieutenant General era yafuulibwa omumyuka wa ssentebe wa LRA, era gw'akubiri mu kuduumira owa Joseph Kony . [5] Kigambibwa nti yali mmemba wa "Control Altar", ekibiina ky'obukulembeze ekikulu ekiyiiya enteekateeka za LRA. [5]

Mu 1994, aba LRA balumbagana aba Atiak, ekyalo Otti gy’azaalibwa ne batta abantu abasoba mu 200. [4] Kigambibwa nti baganda ba Otti baddukira mu kyalo oluvannyuma lwa famire ye okuvunanibwa olw'okubudamya "omutemu". [4] Kigambibwa nti ye yakulembera ekittabantu Barlonyo mu Gwokubiri 2004, omwali abatuuze b’oku kyalo abasoba mu 300 abaakubwa amasasi, okutemebwatemebwa n’okwokebwa ne bafa.

Mu nteeseganya z’emirembe e Juba, ezaatandika mu Gwomusanvu 2006, Otti yavaayo ng’omwogezi omukulu ow’eggye ly'abayeekera erya LRA. Okusinziira ku Sunday Otto eyava mu LRA, Otti era ye yali asinga okulwanirira LRA okwegatta ku nteeseganya z’emirembe. Otti yassamu amaanyi mu kuteesagana okukomekkereza obukuubagano bwavaako okusika omuguwa ne Kony n’enjawukana okweyongera mu LRA. [6]

Okuvunaanibwa aba ICC

[kyusa | kolera mu edit source]

  Nga 8 Ogwomusanvu 2005, olukiiko olusooka okuwozesa mu kkooti y’ensi yonna lw'akizuula nti waliwo ensonga ezitegerekeka okukkiriza nti Otti yazza ebikolobero by’olutalo n’ebikolobero n'emisango eri abantu babulijjo, era ne kifulumya ekiragiro okukwatibwa. [7] ] [8] ] .​ yavunaanibwa emisango 21 omwali ( obutemu, okuwamba, ogw'obuliisa maanyi, okuyingisa abaana abato mu buyeekera ku mpaka, okulumbagana abantu babulijjo, n'okuyisa abantu mu ngeri etasaana) n'emisango emirala 11 omwali ( obutemu, okukabasanya abakazi n'ebikolwa ebitali bya buntu eby'okutuusa obuvune obw'amaanyi ku mibiri n'okubonaabona) [7] [8]

Mu Gwekkumi 2007, ezimu ku nsonda ez'esigika mu magye ga Uganda zaategeeza nti "Otti yattibwa nga 8 Ogwekkumi 2007 mu lukiiko lw'abaduumizi abakulu Kony lwe yayita mu nkambi ye mu Garamba ", oluvannyuma lw'obutakkaanya obwabalukawo ne Kony ku nteekateeka y'okuzza emirembe. [9] [10] Sunday Otto omuyeekera eyeyawula ku LRA alumiriza nti okubaawo mu kaseera k'okuttibwa kwe agamba nti Otti yattibwa nga 2 Ogwekkumi wamu n'abasirikale be abalala babiri era nga Otti ye yali ateekamu amanyi mu mu nteesagana z'okuleetawo emirembe [11] [12] endowooza ewagirwa Lawrence Anthony mu katabo ke eka The Last Rhinos (2012). Anthony awandiika nti ng’ebula ennaku ntono Otti attibwe, Anthony yali akyalidde Otti mu nsiko okunyweza endagaano nti Anthony yandiyambye okumanyisa ensonga za LRA mu nteeseganya z’emirembe ezaaliwo mu 2005, ng’awaanyisiganya ekitongole kya LRA okukuuma ebika by’envubu mu Congo. [13] Omwogezi wa LRA Martin Ojul azze yeegaana enfunda eziwera nti Otti yattibwa era n'agamba nti Otti yali mulwadde wa kkolera . [14] Nga 7 Ogwekkuminogumu 2007, Kony yategeeza ssentebe wa Disitulikiti y'e Gulu Norbert Mao nti Otti yali akyali mulamu era yali akwatiddwa olw'okuluka olukwe lw'okutta Kony ne "okwekobaana n'abalabe ba LRA". [14] Kony era yategeeza nti Otti tajja kukkirizibwa kwogera na muntu yenna okutuusa nga LRA esazeewo nti kisaanidde. [14]

Pulezidenti wa Southern Sudan, Salva Kiir Mayardit, yategeeza nga 7 Ogwekkuminogumu 2007 nti embeera ya Otti tennategeerekeka bulungi. [15] Gavumenti ya Southern Sudan yasindika ttiimu ku nsalo ya Congo okunoonyereza ku ntuuko ya Otti.

Olupapula lwa gavumenti olwa New Vision lwategeeza nga 22 Ogwekkuminogumu nga lwesigamiziddwa ku bigambo okuva mu bavudde mu LRA, nti Otti yattibwa mu ngeri y'okukubwa amasasi, wamu "n'abalala bangi", nga 2 Ogwekkumi. Abaava LRA bagamba nti yali yasabye Kony amukkirize okwogera ne mutabani we nga tannattibwa. "Okunyweza omwoyo gwa Kony", omulambo gwa Otti kigambibwa nti tegwaziikibwa okumala ennaku ssatu oluvannyuma lw'okufa. [16] Abava mu kibiina kino era baagamba nti Otti yattibwa olw’okulemera ennyo ku ky'okuleetawo emirembe, bwe kityo ne kireetawo ebibuuzo ku kwewaayo kwa Kony mu nteeseganya z’emirembe. Nga 21 Ogwekkuminebiri 2007 olukiiko lw'abakungu lwagamba nti Otti yattibwa nga 2 Ogwekkumi 2007 mu maka ga Kony. Okusinziira ku mboozi eno, Otti bwe yatuukayo yasanga ng’amaka gano gazingiddwa abakuumi ba Kony, era nga tannayingira yakubira Kony essimu olw’okweraliikirira kwe ku nsonga eno, kyokka Kony n’amugumya. Kyokka munda mu nnyumba, abaduumizi ba LRA baakwata Otti nga bamutaddeko emmundu ne bamutegeeza nga bwe yali akwatiddwa; olwo n’asibibwa, n’atekebwa ekiwero ku maaso n’atwalibwa ebweru, gye yakubibwa amasasi, wadde nga yali yeegayirira okusaasirwa. Oluvannyuma Kony yategeezezza nti Otti yali afunye ssente okuva mu mawanga g'ebwero ng’agezaako okumutta. [17] Nga 23 Ogusooka 2008, Kony yategeeza nti Otti yali afudde, nga tawadde bikwata ku nsonga eno. [18]

Nga 17 Ogwekkuminogumu 2023, ICC yasazaamu emisango egyali gimugguddwako. [2]

Ebiwandiiko n’ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Joseph_Kony
  2. 1 2 https://www.icc-cpi.int/sites/default/files/CourtRecords/CR2023_01724.PDF
  3. https://web.archive.org/web/20071109171320/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/595693
  4. 1 2 3 http://allafrica.com/stories/200711100024.html
  5. 1 2 3 http://news.bbc.co.uk/2/hi/africa/7083311.stm
  6. https://www.reuters.com/article/us-uganda-rebels-idUSL3055222220071130
  7. 1 2 https://web.archive.org/web/20051016115507/http://www.icc-cpi.int/library/cases/ICC-02-04-01-05-54_English.pdf
  8. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2015-10-18. Retrieved 2025-08-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. http://www.newvision.co.ug/D/8/12/595842
  10. http://news.bbc.co.uk/2/hi/africa/7082437.stm
  11. http://www.newvision.co.ug/D/120/130/601064/How%20Vincent%20Otti%20was%20Killed
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2007-11-12. Retrieved 2025-08-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2013-12-12. Retrieved 2025-08-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. 1 2 3 http://www.newvision.co.ug/D/8/12/596244
  15. "Archive copy". Archived from the original on 2007-11-09. Retrieved 2025-08-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  16. http://www.int.iol.co.za/index.php?set_id=1&click_id=136&art_id=nw20071122093708307C380387
  17. http://news.bbc.co.uk/2/hi/africa/7156284.stm
  18. http://www.newvision.co.ug/D/8/13/608136

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:ICC indictees (NavBox)