Jump to content

Walter D'Souza

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

 

Walter Luis de Sousa (16 Omwezi ogwekkumineebiri 1920 – 23 Omwezi ogwomunaana 1989) yali muzannyi Omuyindi owomuzannyo gwa hockey ow'omukisaawe.

Walter yazaalibwa Mbale mu Buvanjyuba bwa Afirika kitaawe gye yali akolera gavumenti y'Abangereza. Yaddayo e Buyindi nga omulenzi muto okukkwaza emisomo gye, kye yakola mu Saint Joseph Banglore ,Kyali ng'akyali mulenzi asoma mu Bangalore lwe yatandika okuzannya hockey. Ku ntandikwa y’emyaka gya 1940 yazannyira mu kiraabu eyitibwa Bangalore Blues. Oluvannyuma yagenda e Bombay ne yeegatta Times of India n’abazannyira hockey n’omupiira byombi. Yazzaako okwegata ku ttiimu ya Lusitanians, ttiimu y'Abagoowa (A goan) eya hockey mu myaka egyali egijja yazannyisa abazanyi ba olympics abawerako omuli banne Leo Pinto Maxi Vazi, Reggie Rodrigues ne Amir Kumar .

Yali mmemba wa ttiimu ya Buyindi eya Hockey owomukisaawe eyatwala omudaali gwa zaabu mu mpaka za Olympics eza 1948, okwennnyigira kwa Walter D’Souza mu k mu muzannyo gw'emisinde gwamala emyaka nga amakumi abiri. Mu 1943 yeegatta ku ttiimu ya Lusitanian Hockey n’abayamba okutwala ekikopo ky’amasaza , ekikopo kya Lewis, ekikopo kya Willie Fernandes n’ekifo ekyokubiri mu mpaka z’ekikopo kya hockey owoomukisaawe Ekikopo kya Aga Khan. Omwaka gwe gumu ogwo , n'era yeegatta ku kiraabu ya Young Goans ey'omupiira gw'ebigere era naawangula ekikopo kye ekyasooka ku bikopo ebisatu eby'omuddiringana ebya Nadkarni ne ttiimu . Yaliko kapiteeni wa Lusitanians mu 1944 ne 1945, n’awangula ekikopo kya Aga Khan n'okufuna ekifo ekyokubiri mu kikopo kya Lewis. Mu 1952, yatandika okuzannyira Bombay omupiira era mu 1954 ne 1955 n’abeera kapiteeni wa ttiimu ya hockey owoomukissawe ey'ekibuga. Nga kapiteeni wa liigi y’ebyobuwangwa eya Buyindi, yawangula engabo y’ekibiina ekifuga omupiira mu Buyindi, omulundi ogwasooka ttiimu wabweru wa Calcutta okuwangula ekitiibwa kino. Yava mu Lusitanians mu 1956 okugenda okuzannyira Burma Shell era n'asigala ng'azannyira ttiimu ez'enjawulo nga bwazivaamu nga bwazidda okuyita mu 1968

Emyaka egyaddako n’okufa kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 1976 ye yali omusunsuzi wa ttiimu y'eggwanga lya Buyindi eya Hockey eyawangula ekikopo kyayo ekyasooka (era, okutuuka mu 2006, kyokka) ekikopo ky'ensi yonna ekya Hockey. Obulamu bwe n’amaaso ge byatandika okulemererwa era n’afa mu 1989. Olumbe lw'okumukungubagira lwetabwako abazannyi bangi abamanyiddwa mu muzannyo gwa hockey owoomukisaawe omuli Lawrie Fernandes ne Leo Pinto.

Okukiikirira Buyindi

[kyusa | kolera mu edit source]

1947 – Okulambula kwa East Africa

1948- London Olympics

1949 – Okujaguza kwa Jashan mu Afghanistan

Engule n'ebitiibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Engule Ya Bakshi Bahaddar Jiva Kerkar State Award Olw'okukola obulungi mu mizannyo Gavumenti Ya Goa.

Ekibuga kya Mumbai kyamuwa ekitiibwa bwe kyatandikawo ekifo ekiwummulirwamu ki Walter de Sousa garden okumpi ne Metro Cinema mu 1993.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Walter De Sousa at Sports Reference
  2. Walter De Sousa at Sports Reference
  3. Walter De Sousa at Sports Reference

    Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Template:India FH Squad 1948 Summer Olympics