Jump to content

Walumbe

Bisangiddwa ku Wikipedia

Walumbe muntu mu lufumo lwa baganda, olugero lwa Kintu. Mutabani wa Ggulu era muganda wa Nambi. Erinnya lye mu Luganda litegeeza obulwadde oba okufa era y'avunanyizimwa ku kufa ku nsi okuzinziira ku nfumo z'Abaganda.

location of Uganda

Mu nsibuko y'enfumo, Kintu omusajja eyasooka mu Buganda, asisinkana Nambi, muwala wa Ggulu omusambwa ogw'omu ggulu (era amanyiddwa nga Magulu). Nga okubeerawo kwa Kintu kutegerekese, Ggulu alagira batabani be okubba ente ya Kintu. Nambi kino tekywmusanyusa era asalawo okutwala Kintu mu ggulu. Kintu olwo n'aweebwa ebigezo bingi okuva ewa Ggulu. Oluvaanyuma lwa Kintu okuyita ebigezo byona okuva ewa Ggula, Ggulu yamukwasa muwala we wamu nebirabo ebirala okomawo nabyo ku nsi. Abawa e bimera by'enva endirwa ebiwerako, enkoko n'obumu kubulo .[1] Abalabula okwanguwa batere badde ku nsi okwewala okufaayo kwa muganda wa Nambi walumbe gweyali asindise ku mulimu okumulemesa okusisinkana Kintu.[2] Abakatiira obutadda mabega kukima kintu kyonna, naye mu lugendo lwo'kutuuka ku nsi, Kintu ne Nambi bategeera nti beerabira okuleeta obulo. Oluvannyuma lw'okukaayana ennyo, omu kubo akima obulo. Nga bakyali mu ggulu, Walumbe ayolekagana ne Kintu era n'asaba okumuwerekerako ku nsi. Oluvannyuma lw'okuteesa ennyo, Kintu ne Nambi bakkiriza Walumbe okubawerekerako ku nsi.[3]

Okusinziira ku buwangwa bw'Abaganda, Walumbe, nga muganda womugole, yagabana omu ku baana ba Kintu nga owuwe. Kintu agaana Walumbe byayogera era akyagenda mu maaso n'okukikola emyaka gyonna. Walumbe yetamwa olwo n'atandika okutta omwana omu bulu lunaku. Oluvanyuma lw'okwogera ne Ggulu, Kayikuuziasindikibwa okuyamba Kintu okuzza Walumbe mu ggulu.[4] Oluvanyuma lw'okugaana okuwerekera Kayikuuzi okudda mu ggulu, Walumbe adda emabega nga yekweka mu njatika gyatonda ng'asamba n'ekigere kye. Kino kigambibwa nti kye kyatonda ebinnya bya 240 ebya Walumbe Tanda mu kibira okumpi ne Mityana; Ebinnya kati bikola nga ekifo eky'ebyedda era bikyalibwa ng'amasabo agassa ekitiibwa mu nzikiriza z'ennono.[5] Kayikuuzi mu banga ttono akoowa okugoberera Walumbe nasaaba abantu bonna okusirika okumala ennaku bbiri okusikiriza Walumbe okufuluma. Walumbe wamaliriza okuvaayo,abaana ba Kintu bakaaba nga bamulabye era n'addamu neyebutikiira mu nsi. Kintu byagobebwa, Kayikuuzi olwo n'adda ewa Ggulu n'amunyonnyola embeera. Ggulu bwawulira kino, akkiriza Walumbe okusigala ku nsi.[6]

Walumbe nolwekyo anenyezebwa ku lw'okufa ku nsi. Newankubadde nga buli muzzukulu wa Kintu atuuka ekiseera nagabanibwa Walumbe, Kintu akyagenda mu maaso n'okulwanyisa Walumbe mukubeera n'abazzukulu abangi okusinga Walumbe basobola okubba.[7] Olugero luno luzannyibwa mu Kyazze Tekizzikayo , firimu eya musical eyakolebwa Kaz Kasozi mu 2007.[8]

Mpoobe asisinkanye Walumbe

[kyusa | kolera mu edit source]

Olutalo olutazikira wakati wa Walumbe ne bazzukulu ba Kintu lweyolekera nnyo mu mboozi y'Abanganda omuli omuyizzi ayitibwa Mpoome, asisinkana Walumbe mubutanwa.

Abb'agoberera embwa ye enjizzi nga ayita mu kinnya ekinene mu ttaka, Mpoobe yesitala ku kyalo ekimu era okukkakkana ng'asisinkanye Walumbe. Oluvanyuma lw'okutegeeza Mpoobe ku ndagamuntu ye, Walumbe omukiriza okugenda oluvanyuma lw'okumusuubiza obutabuulira muntu yenne ku byalabye. Mpoobe mugeri ey'ekisa akkiriza okukuuma ekyama , naye oluvanyuma oyogera kubikwata ku nsisinkana eno eri nnyina. Walumbe kino akitegeera era ajja nanona obulamu bwa Mpoobe. Mpoobe yegayirira nti asooka kulya bintu bye byonna nga tannafa, Walumbe ky'akkiriza. Mpoobe ageezako okwewala okufa nga wawanvuya enkola eno okumala emyaka mingi;naye lwaddaki Walumbe yamala n'atwala obulamu bwe.[9]

  1. https://archive.org/details/introductiontomy0000thur_n3w6/page/n9/mode/2up
  2. https://archive.org/details/irishecclesiast01unkngoog/page/202/mode/2up
  3. https://archive.org/details/introductiontomy0000thur_n3w6/page/n9/mode/2up
  4. https://archive.org/details/introductiontomy0000thur_n3w6/page/n9/mode/2up
  5. https://web.archive.org/web/20220513145546/https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/tanda-pits-the-legend-of-walumbe-3299274
  6. https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/978-0-7864-4015-3
  7. https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/978-0-7864-4015-3
  8. https://web.archive.org/web/20140506090708/https://www.portobellofilmfestival.com/image/2008pics/programme08.pdf
  9. https://archive.org/details/dictionaryofafri00sche/page/256