Wewaawo
EMPANDIIKA Y'OLULIMI OLUGANDA ENTONGOLE
Mu mwezi gwa Mugulansigo (March) 1947 Gavumenti eya wakati n’eya Buganda zakkiriziganya nezissaawo olukiiko olwatereeza empandiika y'Oluganda. Olukiiko olwo lwalimu ababaka abaakiikirira Ekitongole ky'Ebyenjigiriza, Olukiiko Olukulu olw'e Mmengo, ababaka b’enzikiriza eya C.M.S., W.F.M.. n’Abasiraamu okwo gattako abaamawulire.Dr, A.N. Tucker munnannimi (omukugu mu byennimi) eyava mu London School of Oriental and African Studies ye yakulembera mu kuteesa okwo era ye yali omuwi w'amagezi.Ebyateesebwa era ne bisembebwa olukiiko olwo byakakasibwa Gavumenti eya wakati n’eya Buganda. Eyo ye yali entadikwa y’empandiika eno eyitibwa Empandiika y’Oluganda Entongole, era okuva olwo Gavumenti ya Uganda yalagira empandiika eyo y’eba egobererwa mu kuwandiika ebiwandiiko byonna ebikwata ku mirimu gyayo era n'ebitabo byonna ebisomebwa ebikubibwa Gavumenti mu kyapa oba ebifulumizibwa olw’okukozesa mu masomero ne mu byenjigiriza wonna.[1]
- ↑ Empandiika y'olulimi oluganda by Livingston Walusimbi