Wilberforce Kisamba Mugerwa
Wilberforce Kisamba Mugerwa, era Wilberforce Kisamba-Mugerwa, (5 ogwomusanvu1945- 7 ogwolubereberye 2021) yali munnayuganda omukugu mu by’enfuna by’obulimi, munnabyabufuzi era muyivu, eyaweereza nga ssentebe w’ekitongole kya Uganda ekiwagira ensimbi entonotono ''Microfinance Support Center", kkampuni ya gavumenti eyatandikibwawo mu 2001, eddukanya enteekateeka z’okuwola ssente entonotono mu Uganda, nga ziweebwa ssente okuva mu banka yenkulakulana ya Afirika ,eyobusiraamu,ne gavumenti ya Uganda . [1] Amangu ddala nga tannatuuka ku kifo kye ekyasembayo, okumala emyaka kkumi wakati wa 2008 ne 2018, yaweereza nga ssentebe w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nteekateeka z’eggwanga ekya Uganda . [1] [2]
Ensibuko n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Mugerwa yazaalibwa nga 5 ogwomusanvu 1945, mu ssaza ly’e Bamunanika, mu Disitulikiti y’e Luwero, mu kitundu kya Buganda . Yasomera mu ssomero lya Muyembe Tree Nursery School e Bamunanika, n’eddirirwa Wampeewo Junior Primary School. Oluvannyuma yakyusibwa n’agenda mu ssomero lya Mukono Bishop’s Senior Secondary School gye yamalira emisomo gye egya siniya eyookuna. Oluvannyuma yamaliriza emisomo gye egya siniya eyoomukaga ku Kololo High School e Kololo, Kampala, n’atikkirwa dipulooma ya siniya . [3]
Mu 1968 Mugerwa yayingira mu kiseera ekyo eyali eyitibwa Makerere College, kati Makerere yunivasite, eya gavumenti esinga obukadde n'obunene mu Uganda . Ekitundu kye yalonda okusoma kyali kya byanfuna eby'obyobulimi . Yafuna diguli esooka eya sayansi , n’eddirirwa diguli eyokubiri mu ssomo lino. Oluvannyuma yaweebwa diguli eyokusatu mu ssomo lye limu, nga nayo eva Makerere. [3]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lwa diguli esooka, Mugerwa yeegatta ku bakozi ba gavumenti mu Uganda. Okutandika mu 1971, yaweereza ng’omukungu omukulu mu by’obulimi mu buvanjuba bwa Mengo, mu bugwanjuba bwa Uganda. Oluvannyuma yakuzibwa n’afuulibwa omukugu omukulu muby'enfuna by'ebyobulimi mu ssaza lyonna. [3]
Mu 1980, yayingira ebyobufuzi bya Uganda eby’okulonda, n’aweerezayo okutuusa lwe yalekulira mu 2004, bwe yakkiriza omulimu mu kitongole ky’ensi yonna ekinoonyereza ku nkola y’emmere (IFPRI), nga Dayirekita w’ekitongole ekipya ekya IFPRI, International Service for National Agricultural Research (ISNAR), ekisangibwa mu Addis Ababa, Ethiopia. [4]
Mu 2008, yalondebwa okuba Ssentebe w’ekitongole ekivunanyizibwa ku kutegeka eggwanga ekya Uganda, ekifo kye yakuuma okumala emyaka kkumi egyaddirira. Bwe yali eyo, yavunaanyizibwa ku kuteekawo enteekateeka ya Uganda Vision 2040 n’enteekateeka z’enkulaakulana y’eggwanga ebbiri, (NDP I ne NDP II). [5]
Omulimu gw’ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1980, Mugerwa yavuganya ku bubaka bwa palamenti , ku tikiti y’ebyobufuzi eya Democratic Party (Uganda), okukiikirira Luweero bukiika kkono buvanjuba . Empaka ezo yaziwangula, wadde nga yakubwa amasasi mu mukono mu lumu ku nkungaana ze eza kampeyini. Yaweereza ekisanja kye (1980–1985). Ekibiina kya National Resistance Movement bwe kyatwala gavumenti mu 1986, Kisamba Mugerwa yakola bulungi nga ssentebe wa Local Council 5 eyasooka okulondebwa ku Disitulikiti y’e Luweero (1986–1991). Olwo n'alondebwa ng'omubaka wa Palamenti ng'akiikirira essaza lya Bamunanika , okutandika mu 1991. [3]
Mu bbanga ly'emyaka13 okuva mu 1991 okutuuka mu 2004, Kisamba Mugerwa yaweereza ng'omubaka wa kabineti ya Uganda, ku mitendera egy'enjawulo, omuli nga Minisita atalina Portfolio mu ofiisi ya Ssaabaminisita, Minisita w'eggwanga ow'ebyensimbi n'okuteekateeka ebyenfuna, era nga Minisita w'ebyobulimi, amakolero g'ebisolo, n'obuvubi. Yalekulira okutwala omulimu gw'ensi yonna ebweru wa Uganda mu 2004. [3]
Ebirala by’olina okulowoozaako
[kyusa | kolera mu edit source]Mugerwa yaliko omukugu omuyambi mukunonyereza mukitongole kya Makerere ekikola kukunonyereza ku mbeera z'abantu , ku yunivasite e Makerere, mu Kampala. Mu kiseera we yafiira yali Cansala wa Ndejje University, yunivasite ey’obwannannyini ey’Abakristaayo ng’esangibwa mu Disitulikiti y’e Luweero; disitulikiti ey’ewaabwe. Yalina ffaamu y’ebyobulimi ebitabuddwamu eby’obusuubuzi (ebirime n’ebisolo by’awaka) ku kyalo Kikonda, gombolola ye Bamunanika mu Disitulikiti y’e Luweero, mu kitundu kya Buganda ekiri mu Uganda. [1] [3]
Okufa
[kyusa | kolera mu edit source]Mugerwa yafa olw'ebizibu ebyava mu COVID-19 mu ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital nga 7 ogw'olubereberye mu 2021, mu kiseera kyekirwadde kya COVID-19 mu Uganda . [6] [7] [8]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Cabinet of Uganda – Ugandan ministry cabinet
- Parliament of Uganda – Unicameral legislature of Uganda
- Luweero Triangle
Ebijulizo
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiyungo eby’ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]- NPA Elabye Kisamba Mugerwa Mu Sitayiro Nga 13 ogwomunaana 2018.
- Empisa Embi Ensimbi N’okukulembeza Ebikosa Enkula Ya Uganda – Kisamba Mugerwa Okuva nga 21 ogwomusanvu mu 2018.
- 1 2 3 Tajuba, Paul (21 February 2018). "Kisamba-Mugerwa appointed Microfinance Support Centre boss". Retrieved 6 April 2019.
- ↑ Kwesiga, Pascal; Nakandi, Subaiha (15 August 2018). "Outgoing NPA Chairman Mugerwa Hands Over Office". Retrieved 6 April 2019.
- 1 2 3 4 5 6 Wandera, Dan (20 July 2015). "Kisamba Mugerwa: the family man, politician and economist". Retrieved 7 April 2019.
- ↑ Kiwawulo, Chris; Wasike, Alfred (15 July 2004). "Uganda: Kisamba Mugerwa to Step Down". Retrieved 7 April 2019.
- ↑ Bwambale, Taddeo (11 August 2018). "Kisamba Mugerwa Ends Term As Planning Authority Boss". Retrieved 7 April 2019.
- ↑ Wandera, Dan (8 January 2021). "Luweero mourns former minister Kisamba Mugerwa". Daily Monitor.
- ↑ Etukuri, Charles (7 January 2021). "Former minister Kisamba Mugerwa succumbs to COVID-19". New Vision.
- ↑ Etukuri, Charles (7 January 2021). "Kisamba Mugerwa died before receiving award for his book". New Vision.