William Frederick Blick, omuwandiisi w’ebitabo


Okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Blick yasomera mu Greenwich School of Business Management Center mu Great Britain mu 1994 era n’afuna diguli ya Bachelor of Science mu Business Management okuva mu University of Hull [1]mu Sports Organization Management okuva mu Université Catholique de Louvain mu Belgium, gye yafuna mu 2014. [3]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Blick abadde Dayirekita wa Speedway Quickfix Engineering okuva mu mwaka gwa 2005. Mu mwaka gwa 2013, yafuuka omuwabuzi ku lukiiko olufuzi olwa Gems Cambridge International School Uganda . Abadde musomesa era omwogezi w’okukubiriza okuva mu mwaka gwa 2017, wamu n’okuwabula ku by’emizannyo. Blick yafuuka omulimi mu bibira n’ebintu ebiva mu bulimi [1] mu mwaka gwa 2018, ate mu mwaka gwa 2019 akoze mu by’amayumba (Real Estate) (Housing). [3]
Omulimu gw’ebyemizannyo
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva mu mwaka gwa 2006 okutuuka mu mwaka gwa 2013, Blick yali Ssentebe w’ekibiina kya Uganda Rugby Union . Okuva mu mwaka gwa 2010 okutuuka mu mwaka gwa 2014, yali mmemba ku lukiiko olufuzi olwa Confederation of African Rugby . Okuva mu mwaka 2012, Blick abadde Pulezidenti w’akakiiko ka Uganda Olympic Committee n’ekibiina ekigatta emizannyo gya Commonwealth . [4] Mu mwaka gwa 2016, yafuuka ekitundu ku lukiiko olufuzi olwa Commonwealth Games Federation. Okuva mu mwaka gwa 2017, Blick abadde Pulezidenti w’ekibiina ekigatta obukiiko bwa Olympics mu Afrika (ANOCA) Zooni 5, [1] mmemba ku lukiiko olufuzi olwa ANOCA, nga kwotadde ne, omumyuka wa ssentebe w’akakiiko akakwasaganya emizannyo gya ANOCA. [3]
Engule
[kyusa | kolera mu edit source]Blick yalondebwa ng'omuzannyi wa Rugby mu ggwanga 1992 ekibiina ekigatta bannamawulire mu mizannyo ekya Uganda Sports Press Association. Mu mwaka gwa 2006, yali Nnantameggwa wa National Clubman Rally, ate mu mwaka gwa 2019 yafuna engule ya Order of the Star of Italy . Mu mwaka gwa 2020, Blick yafuna engule y’obulungi okuva mu kitongole kya ANOCA. [1] [3]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 Kalyango, Fredrick. "William Blick; A sports role model in his final days as UOC president (VIDEO)". Watchdog Uganda. Retrieved 26 April 2022.Kalyango, Fredrick. "William Blick; A sports role model in his final days as UOC president (VIDEO)". Watchdog Uganda. Retrieved 26 April 2022. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Uganda8" defined multiple times with different content - ↑ "Blick hopeful Uganda will benefit from his new 'big' IOC position". Monitor. 22 July 2020. Retrieved 26 April 2022.
- 1 2 3 4 "Mr William Frederick Blick". The International Olympic Committee. Retrieved 6 May 2022."Mr William Frederick Blick". The International Olympic Committee. Retrieved 6 May 2022. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "sport2" defined multiple times with different content - ↑ Muziransa, Makhtum (20 February 2021). "Blick leaves UOC studious after years of turmoil". Monitor. Retrieved 26 April 2022.