Jump to content

William Gabula

Bisangiddwa ku Wikipedia

William Wilberforce Kadhumbula Gabula Nadiope IV yazaalibwa 1 Ogwekkuminoogumu 1988), Gabula owa Bugabula, ye Kyabazinga wa Busoga akulembera Obwakyabazinga obuli mu ssemateeka mu Uganda eya leero . Ye Kyabazinga owookuna owa Busoga. [1]

Okulinnya ku namulondo

[kyusa | kolera mu edit source]

Gabula yazaalibwa Jinja nga 1 Ogwekkuminoogumu 1988. [2] Mutabani wa Wilson Gabula Nadiope III, eyaliko Minisita w’ebyobulambuzi mu kabineeti ya Uganda, eyafa mu 1991, ne Josephine Nadiope eyafa mu 1993. [3] [2] Jjajjaawe azaala kitaawe ye William Wilberforce Kadhumbula Nadiope II, eyakulembera nga Kyabazinga okuva mu 1949 okutuuka mu 1955 n’okuva mu 1962 okutuuka mu 1966. Nadiope II era yeeyali omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda eyasooka, okuva mu 1962 okutuuka mu 1966. [4]

Gabula Nadiope yalondebwa awatali kuwakanyizibwa na kweyawulamu abaami ba Busoga abalangira ekkumi abaatuula e Bugembe nga 23 Ogwomunaana 2014 n’ekigendererwa eky’okulonda Kyabazinga omuggya. Omulangira Edward Columbus Wambuzi, ow'obwami bwa Busoga obw’ekkumi nemu, naye eyali avuganya ku Nnamulondo, teyakiika mu lukiiko luno. [5] Gabula yakakasibwa olukiiko lwa Busoga (Paalamenti) awatali kuwakanya na kweyawulamu nga 25 Ogwomwenda 2014. [6] Nga wazzeewo okuwawabirwa mu kkooti ku saawa envannyuma okutaavamu bibala, [7] Omulangira William Gabula yatikkirwa engule nga Kyabazinga owokuna owa Busoga e Bugembe ku Lwomukaaga nga 13 Ogwomwenda 2014. Pulezidenti Yoweri Museveni owa Uganda naye yeetaba ku matikkira gano. [8]

Emisomo gye n'emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Gabula yakuzibwa jjajjaawe azaala maamawe mu Jinja . Emisomo gye egya pulayimale yagitandikira ku Victoria Nile, Winston Day and Boarding Primary School Kawempe, oluvannyuma Lohana Academy okuva mu 1995 okutuuka mu 2001.

Mu 2002, yayingira Busoga College Mwiri ku misomo gye egya siniya eyokuna okutuusa mu 2005. Yagenda mu maaso n'emisomo gye egya siniya eyomukaaga ku Kyambogo College School, n’atikkirwa mu 2007.

Yaweebwa ekifo ku yunivasite y’e Kyambogo, n’atikkirwa mu 2011, ne ddiguli esooka mu by'enfuna .

Mu kiseera ky'amatikkira ge, yali akolera mu Minisitule y’amasannyalaze n’eby’obugagga eby’omuttaka mu Uganda . [3] Oluvannyuma yeyongerayo n'okusoma mu Bungereza era n’atikkirwa mu 2015 n’afuna diguli eyookubiri ey'eddaala erisooka mu kuddukanya bizinensi ku yunivasite y'e Coventry. [9]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Jjajja wa Gabula Yosia Nadiope ye taata w’ebyenjigiriza eby’omulembe mu Busoga. Yawa abaminsani ettaka okuzimba essomero li Balangira okusomesa abaami, oluvannyuma eryafuuka Busoga College Mwiri.

Wa nzikiriza ya kikulisitaayo/ kipolotesitante. Era ye mwami ow’ensikirano owa Bugabula, essaza eryetongodde erizingiramu Disitulikiti za leero eya Buyende ne Kamuli . [3] [9]

Nga 18 Ogwekkuminoogumu 2023, Gabula yawasa Inhebantu Jovia Mutesi, omubalirizi w'ebitabo omutendeke era eyaliko omuyizi wa Mount Saint Mary's College Namagunga ku Lutikko ya Christ Cathedral Bugembe, embaga yokka ey'obwakabaka okuva mu 1956. [10]

Abaagalana bano baayaniriza ezadde ly' abalongo ab'obulenzi nga 27 Ogwomunaana 2025. [11]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Mufumba, Isaac (13 September 2015). "A year after Gabula's installation, Prince Wambuzi remains". Daily Monitor (in British English). Retrieved 6 January 2019.
  2. "Mutesi becomes queen in Busoga's first royal wedding since 1956". Monitor (in Lungereza). 2023-11-19. Retrieved 2023-11-20.
  3. "Kyabazinga marries in Busoga's first royal wedding since 1956". Monitor (in Lungereza). 2023-11-19. Retrieved 2023-11-20.
  4. Tom Gwebayanga, and Donald Kiirya (26 August 2014). "Gabula: Kyabazinga Ayise Mu Ttanuulu Y'anaagatta Obusoga (Gabula: The Kyabazinga Who Has Gone Through Fire Will Be The One To Unite Busoga)". Bukedde.co.ug (Luganda). Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 23 March 2015.
  5. Walukamba G, Aldon (5 September 2014). "Double Birthday for Kyabazinga Gabula With September Crowning". Uganda Radio Network. Retrieved 23 March 2015.
  6. Kiirya, Donald (25 August 2014). "Gabula New Busoga Kyabazinga". New Vision (Kampala). Retrieved 23 March 2015.
  7. Kurunda, Abubaker (26 August 2014). "Gabula Endorsed As Busoga King". Daily Monitor (Kampala). Retrieved 23 March 2015.
  8. Gulumaire, Andrew (12 September 2014). "Court Okays Gabula's Coronation". Uganda Radio Network. Retrieved 23 March 2015.
  9. Kizza, Joseph (13 September 2014). "Museveni Vows To Work With New Kyabazinga". New Vision (Kampala). Retrieved 23 March 2015.
  10. Musasizi, Simon (15 September 2014). "To Become Kyabazinga, You Must Be Educated". The Observer (Uganda). Archived from the original on 24 September 2015. Retrieved 23 March 2015.
  11. Vosh Ajuna, David. "Kyabazinga marries in Busoga's first royal wedding since 1956". Monitor. Retrieved 18 November 2023.
  12. Kanyere, Hakim. "BREAKING: Kyabazinga and Inhebantu Welcome Twins". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-09-01.
  1. "Mutesi becomes queen in Busoga's first royal wedding since 1956". Monitor (in Lungereza). 2023-11-19. Retrieved 2023-11-20.
  2. 1 2 "Kyabazinga marries in Busoga's first royal wedding since 1956". Monitor (in Lungereza). 2023-11-19. Retrieved 2023-11-20.
  3. 1 2 3 Tom Gwebayanga, and Donald Kiirya (26 August 2014). "Gabula: Kyabazinga Ayise Mu Ttanuulu Y'anaagatta Obusoga (Gabula: The Kyabazinga Who Has Gone Through Fire Will Be The One To Unite Busoga)". Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 23 March 2015.
  4. Walukamba G, Aldon (5 September 2014). "Double Birthday for Kyabazinga Gabula With September Crowning". Uganda Radio Network. Retrieved 23 March 2015.
  5. Kiirya, Donald (25 August 2014). "Gabula New Busoga Kyabazinga". Retrieved 23 March 2015.
  6. Kurunda, Abubaker (26 August 2014). "Gabula Endorsed As Busoga King". Retrieved 23 March 2015.
  7. Gulumaire, Andrew (12 September 2014). "Court Okays Gabula's Coronation". Uganda Radio Network. Retrieved 23 March 2015.
  8. Kizza, Joseph (13 September 2014). "Museveni Vows To Work With New Kyabazinga". Retrieved 23 March 2015.
  9. 1 2 Musasizi, Simon (15 September 2014). "To Become Kyabazinga, You Must Be Educated". Archived from the original on 24 September 2015. Retrieved 23 March 2015.
  10. Vosh Ajuna, David. "Kyabazinga marries in Busoga's first royal wedding since 1956". Monitor. Retrieved 18 November 2023.
  11. Kanyere, Hakim. "BREAKING: Kyabazinga and Inhebantu Welcome Twins". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-09-01.

Ebijuliziddwa w'abweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:Kyabazinga of Busoga